Amawulire
Azuukukidde wa neyiba
Omusajja eyanywedde n’agangayira kimuweddeko bw’azuukuse nga yeebase na Muntu gw’atamanyi Omusajja onno atuukidde mu maka gatali gage era poliisi n’eyitibwa mbagirawo Omusajja ono basoose kumwegayirira afulume n’agaana ng’alumiriza nti ali wa nyina era neyesogga obuliri neyebaka Omusajja ono abasirikale bamukutte nebamutwala mu kaduukulu era agenze […]
Gavumenti yetondedde Turinawe olw’okumunyiga ebbeere
Gavumenti yetondedde akulira abakyaala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olwabaserikale ba poliisi abaamunyiga ebbeere. Poliisi yanyiga Turinawe ebbeere n’okwonona emmotokaye bwebaali bamukwata mu April wa 2012 wali e Nansana. Munnamateeka wa gavumenti George Kalemeera ategezezza kkooti enkulu nga ekikolwa kino bwekyali ekibi […]
Katikiro ajjukiza ku biteeso ebitatekebwa mu nkola
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye olukiiko lwa Buganda okutandika okwekenenya ebituukiddwako okuva omwaka oguwedde mu alipoota namutayiika gyeyalangirira eri obuganda. Gyebuvuddeko Ssabasajja azze akubiriza olukiiko obutayisa buyisa biteeso wabula byonna bitekebwe mu nkola. Mayiga era asabye poliisi okwongera amaanyi mu kunonyereza ku ttemu […]
Misiri ekungubagidde abajaasi
Gavumenti ya Misiri erangiridde akaseera akakasigizigi mu ssaza lye Sinai oluvanyuma lw’abajaasi 31 okufiira mu bulumbaganyi bwamirundu 2 mu kitundu kino. Omukulembeze wa Misiri Abdul Fattah al-Sisi alangiridde enaku 3 ezokukungubagira abajaasi abafiridde mu bulumbaganyi buno. Government era egaddewo ekitundu kya Rafah ekiyingira mu luwananda […]
Omukyala awanuse ku kizimbe neyetta-Abadde yakava e Dubai
Ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya National social security fund kyenyamidde olw’omukyala ayettidde ku ofiisi zaakyo olwaleero Omukyala ono ategerekese nga Annet Ashabanga we sembabule abuse kuva ku mwaliro gwe 14th ku kizimbe kya Knight Frank n’afiirawo Ekiwandiiko ekivudde mu NSSF kigamba nti Ashaba awaddeyo paasipoota […]
Abdul Mulaasi eyimbuddwa
Omuyimbi wa Kadongokamu Abdul Mulaasi kyaddaaki ayimbuddwa Kiddiridde Mulaasi ono okusasula obukadde obuna bweyewola ku yali mukwano gwe John Kabanda Kabanda yatwala mulaasi mu kkomera era omusango negumusinga era bw’atyo n’alagirwa okusasula Ono olunaku lwajjo bamusindise e Luzira yebakeyo emyeezi mukaaga olw’okulemererwa okusasula. Amyuka omuwandiisi […]
Abakulembeze mu FDC bakyalwaana
Enkayaana eziri mu kibiina kya FDC zikyagenda mu maaso ng’abakulembeze ab’okuntikko basongeddwaako okuzikumamu omuliro. Eyali omuwanika wa FDC Jack Sabiiti awakanyizza ebigambibwa nti yalekulira ekifo kye byona n’abissa mu bamulwana SSabiiti ewedde, amawulire agava mu FDC gaalaga nga Ssabbiiti bweyali alekulidde ne Mukama we Nandala […]
Akasattiro ku ddwaliro e Mubende
Wabaddewo akassatiro ku ddwaliro ly’e Bukuya mu district ye Mubende,oluvanyuma lw’omu ku balwadde okufa n’obubonero obwefananyizaako obw’ekirwadde kya Marburg. Omusajja ono akadde kutwalibwa mu ddwaliro nga atawanyizibwa ekirwadde ky’akafuba wabula oluvanyuma n’afiira mu muti w’abadde yewogomye. Abatuuze bonna beesambye omulambo guno nga era teri agukutteko […]
Lukwago addukidde mu bagabirizi b’obuyambi
Meeya e kibuga Kampala Erias Lukwago aliko omukuku gw’ebbaluwa gw’awandikidde abagabi b’obuyambi ng’ayagala bakole okunonyereza ku nsimbi zebazze bawa ekitongole kya KCCA okuva mu mwaka gwa 2011. Mu bitongole Lukwago byawandikidde mwemuli World Bank, IMF, China Exim Bank ne European Union wamu n’ebirala. Lukwago agambye […]
Nabakooba bamulaze Kampala
Poliisi ya kampala ekutte abantu basatu abagambibwa okugezako okupangulula emmotoka y’eyali omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba Emotoka eno kika kya Premio namba UAQ 422 U mu bitundu bye Namungoona Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti bano beebamu ku gubinja gw’abazigu abatigomya […]