Amawulire

Ababaka mu Buganda basisinkanye

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti  abava mu Buganda beevumbye akafubo emisana ga leero, ku okukkiriziganya ku biki ebirina okukubaganyibwaako mu nsisinkano yaabwe ne Katikkiro. Katikiro Charles Peter mayiga wakusisinkana ababaka bano,okuteesa ku ngeri Buganda gy’esobola okuganyulwa mu nongosereza mu ssemateeka wa  Uganda ezinatera okutandika. Bano era bagaala […]

Abayizi beekalakaasa lwa bigezo- omulala azirise

Ali Mivule

October 14th, 2014

No comments

Abayizi abeekalakaasa bayingiridde ebigezo bya siniya y’okuna ebigenda mu maaso mu disitulikiti ye Lwengo Abayizi abeekalakaasizza ba ssomero lya Modern High school Mbirizi  ng’eno ebigezo biyimiriziddwa okumala ssaawa nnamba n’omusobyo Abayizi aba siniya y’okuna beebalumbye banaabwe ababadde bakola ebigezo nga bagamba nti bbo babalese mabbali […]

Ebigezo bya siniya y’okuna- abasomesa badduse n’ensimbi

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Abayizi kkumi aba siniya y’okuna ku essomero lya Kalumba Standard SS basobeddwa eka ne mu kibira oluvanyuma lw’akulira essomero okubabulako Essomero lino lisangibwa kumpi n’ekibuga kye Matugga ng’omukulu ono abalinze nebayingira n’ekifo mwebagenda okutuulira ebigezo Atwala poliisi ye Bombo Richard Emuna agamba nti abayizi bano […]

Eby’abatembeeyi bitundiddwa ku nyondo

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Kampala capital city authority etandise okutunda ku nyondo ebintu byeyawamba okuva ku batembeeyi Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti basanze obuzibu bw amaanyi okutereka ebintu bino nga y’ensonga lwaki batunze Kawuju agamba nti basoose kusaba abatwalibwaako ebintu byaabwe okubikima kyokka nebatakikola nga y’ensonga lwaki […]

Bukenya wakusasula eza biici

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya alagiddwa okusasula obukadde 40 olw’ettaka lyeyagula mu mancoolo nga ku lino kweyassa biici ye Kitomi Bukenya abadde yasabye dda kkooti nti ateese n’eyamuwaaba Charles Kiddu ng’ono amulumiriza okumubbako ettaka erisangibwa e Kagolomolo mu disitulikiti ye Wakiso Bukenya ng’ayita mu […]

Amateeka amakakali lu bisulo by’abayizi

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku bannayini bisulo by’abayizi ku ttendekero lye Makerere Kiddiridde omuyizi ali mu mwaka gwe ogw’okubiri okusangibwa ng’attiddwa n’asuulibwa okumpi n’omwaala ku kisulo lya Daglous Villa mu Kikoni. Atwala poliisi ye Makerere Tomas Kasimo agamba nti ebisulo 89 bimaze okulagirwa okufuna abakuumi […]

Eby’eggaali y’omukka biranze

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Eby’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka byongedde okulanda nga kati babiyingizzaamu n’omukulembeze w’eggwanga Ababaka okubadde Theodore Ssekikubo, Wilfred Nuwagaba ne Barnabas Tinkasimire bagamba nti pulezidenti Museveni yalagira minisita omubeezi akola ku byenguudo John Byabagambi okukola oluguudo luno mu bwangu nebabuuka emitendera egyetaagisa. Nga boogerako eri bannamawulire ku […]

Essalambwa libozze omwana n’afa

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Abatuuze boku kyalo Kasoolwe mu disitulikiti ye Kamuli bazuukukidde mu kikangabwa oluvanyuma lw’omusota ekika ky’ensera okubojja omwana n’afiirawo. Ono kati wakusatu nga abojebwa omusota ku kyalo kino mu mwezi gumu gwokka. Afudde ya Kenneth Lyagoba abadde asoma ekibiina kyamukaaga ku ssomero lya  Buyamba Memorial School […]

Abazirwanako basenguddwa

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Abasuubuzi abakolera egyabwe mu katale kaba nazilwanako ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw’okufuumulwa mu kifo ekyo. Bawanyondo ba kkooti mu bukuumi obw’ekitalo bazinzeeko akatale kano nebamenya obuyumba bwonna n’emidaala egyatekebwawo abasuubuzi. Ekifo kino kigambibwa okuba nti kya mugagga John Bosco Muwonge. Poliisi […]

Ebigezo bya Siniya y’okuna bitandise

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Nga abayizi ba siniya ey’okuna batandise ebigezo byabwe ebyakamalirizo enkya ya leero, abakulu b’amassomero wansi w’enkola ya bonna basome eya secondary bakaaba lwansimbi ezirina okubaweebwa okulwayo. Bano bagamba bukyanga lusoma luno lutandika tebafunanga yadde ennusu ekibawalirizza okwewola okuva mu zi banka kubanga tebalina nsimbi ziddukanya […]