Amawulire
Abakozi ba Kenya airways beediimye
Abakozi ba kampuni y’enyonyi eya Kenya airways batadde wansi ebikola lwamusaala mutono. Abediimye kuliko badereeva, ssaako n’abali bakasitoma webatukira,. Bano bagamaba basasulwa busamambiro nga bbo bannaabwe e Kenya bayoola mudidi. Kati bano baagala basasulwe kyekimu ssaako n’ensako endala bagifune nga banaabwe e Kenya bwebakola. Bangi […]
Bataano bateberezebwa okubeera ne Marburg
Abalwadde 5 abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg bakyayawuddwa . Babiri bali mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyebaayawuddwan nga abasatu bali Ibanda n’Entebbe. Minisita omubeezi ow’ebyobulamu avunanyizibwa ku bujanjabi obusookerwako , Sarah Opendi era asambazze ebigambibwa nti abaafudde e Bukwo ne Mubende baafudde Kirwadde kya Marburg. […]
Kakensa Mazrui afudde
Kakensa mu byenjigiriza era omusomesa kayingi Ali Mazrui afudde. Mazrui afiiridde mu ggwanga lya Amerika ku myaka 81. Omu ku ba seneta w’ekibuga kya Mombasa Hassan Omar ne gavana waakyo Hassan Joho bakakasizza okufa kakensa ono. enteekateeka z’okuzza omulambo gw’omugenzi e Mombasa zigenda mu maaso […]
Abantu bagumbye e Namboole okulaba ku Adebayor
Abantu beesombye okugenda mu kisaawe e Namboole okulaba ku kafulu mu kusamba omupiira era emunyenye ya Togo Emmanuel Adebayor. Tiimu ya Togo etuuse leero era n’entendeka mu kisaawe e Namboole akawungeezi ka leero. Ne Uganda cranes bw’etyo ng’etendese ogusembayo ng’erindirira okusamba Togo. Ab’ekibiina […]
Abadde akukusa abantu akwatiddwa
Poliisi ekutte omusajja abadde akukusa abantu okubatwala ebweru . Akulira poliisi erwanyisa abakukusa abantu, Moses Binoga omukwate amumenye nga John Bosco Senkumbi. Omusajja ono webamukwatidde ng’aliko b’ajjako ensimbi mbu abatwala mu ggwanga lya Afghanistan ng’abasuubiza okubafunira emirimu gy’obukuumi. Wabula omusajja ono agamba nti naye yayingira […]
Aba Buganda bakusisinkana Katikkiro
Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu bya Buganda bakusisinkana katikkiro okwongera okuteesa ku nsonga za Buganda Ensisinkano eno yakubaawo nga 15 omwezi guno nga lwe lw’okusatu lwa ssabbiiti ejja Ebimu ku byebagenda okwogerako y’enteekateeka yaabwe okugulira omutanda baasi , n’enkyukakyuka mu ssemateeka wa Buganda Twogeddeko […]
Abakyala batabuse ku Mafuta
Waliwo ekibinja ky’abakyala abalumbye palamenti olunaku olwaleero nga bawakanya eky’okuzzaawo omusolo ku mafuta g’ettaala Palamenti ssabbiiti eno yazzaawo omusolo gwa shs 200 ku buli liita y’amafuta egulibwa yadde ng’ababaka bonna awatali kwetamamu basooka kuwakanya musolo guno Bino byonna byaddirira pulezidenti Museveni okusimba nakakongo nti omusolo […]
Akalabba kaveewo- ensawo ku battibwa essibweewo
Abalwanirira eddembe ly’abantu bagaala gavumenti esseewo ensawo omunaava ensimbi eziriyirira ab’enganda z’abantu abatemulwa mu ggwanga. Akulira ekibiina kya Foundation for Human Rights Initiative, Dr. Livingstone Ssewanyana y’akoze okusaba kuno bw’abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’okusaba nti akalabba kawerebwe. Sewanyana agamba nti buvunaanyizibwa bwa gavumenti okukuuma […]
Omulambo mu kibuga
Poliiisi ku luguudo lwa Jinja Road eriko omulambo gw’omusajja gw’esanze nga gusuuliddwa mu kisiko Omugenzi ategerekese nga Sunday ng’abadde nekolera gyange mu bitundu bye Kitintale. Omusajja ono tabaddeeko mutwe. Okusinzira kwakulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ya Jinja road Ronald Bogere omulambo gw’omusajja ono […]
Museveni ave mu bya Kenyatta
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bavumiridde ekya pulezidenti Museveni okulumba kkooti y’ensi yonna. Pulezidenti olunaku lwajjo bweyabadde ayogerera ku mikolo y’amefuga yagambye nti kkooti y’ensi yonna etuula mu kibuga e Hague okutuntuza abakulembeze ba Africa, era n’asaba amawanga ga Africa okuddamu okwetegereza enkola za […]