Amawulire
Okulwanyisa Marburg- Temwekwata mu ngalo
Pulezidenti Museveni asabye bannaddiini okukulemberamu olutalo ku bulwadde bwa Marburg Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu ggwanga nga buno bwakatta omuntu omu ate abasoba mu 99 bakyalondoolwa okulaba oba baabufuna Ng’ayogerera mu kusabira eggwanga , pulezidenti Museveni asabye bannadiini okusaba abantu okukoma okwekwata mu ngalo n’okwegwa […]
Aba Owino bakyalwana
Ab’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe bakontodde akulira abakozi mu kibuga olw’okuwera empooza Musisi yaweze okukwata omuntu yenna anetantala okuwooza abasuubuzi. Abasuubuzi nno beebamulumbye okumulojjera ennaku gyebayitam u okusasula empooza ebajjibwaako Kati atwala eby’amateeka mu kibiina kya SSLOA Fred Kalema agamba nti Musisi […]
Abajaasi babiri balumiziddwa
Abajaasi ba UPDF 2 beebalumiziddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Somalia nga amaggye gano gawamba ekibuga kya Barawe okuva eri abakambwe ba Al shabab olunaku olw’eggulo. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, omwogezi w’amaggye mu ggwanga Lt Col Paddy Ankunda ategegezezza nga bano bwebagenda okuddizibwa okwaboobwe […]
11 tebalina Marburg
Abantu 11 kw’abo abakwaase ku Muntu eyafudde ekirwadde kya Marburg kikakasiddwa nti tebalina kirwadde kino Bino byebivudde mu kukebera omusaayi gw’abantu bano ku ddwaliro erikola ku buwuka obw’akabi ennyo Entebbe. Atwala ebyobujjanjabi ebyawamu Dr.Jane Acheng agamba nti yadde abantu bano babadde n’obubonero obwefananyirizaako obw’abalina Marburg, […]
Abagambibwa okuba abatujju baddiziddwaayo e Luzira
Abavunaanibwa ogw’obutujju 10 basindikiddwa ku alimanda e Luzira. Bano balabiseeko maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Simon Kintu abasindise mu mere okutuusa nga 23 October. Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Edward Muhumuza okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango gw’abano bwekukyagenda maaso ku kitebe […]
Abajaasi ba Uganda 2 balumiziddwa
Abajaasi ba UPDF 2 beebalumiziddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Somalia nga amaggye gano gawamba ekibuga kya Barawe okuva eri abakambwe ba Al shabab olunaku olw’eggulo. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Lt Col Paddy Ankunda ategegezezza nga bano bwebagenda okuddizibwa […]
Abayizi bateekedde enyumba omuliro
Abayizi b’essomero lya Maliba Secondary School e Kasese batekedde ennyumba z’abatuuze 2 omuliro nga babalumiriza obulogo. Ssentebe wa disitulikiti eno Robson Magoma agamba abayizi bano baasibidde nanyini nyumba emu mu nyumba n’oluvanyuma nebajiteekera omuliro wabula baliraanwa nebakuba enduulu eyatemezza ku poliisi etaasizza omukyaala ono. Awonye […]
Ekirwadde kya Marburg kitabuse- abalala munaana bandiba nakyo
Ekirwadde ky’omusujja gwa Marburg kyongedde okutabuka ng’abantu 8 abasemberera eyafa ekirwadde kino nabo bafunye obubonero bw’ekirwadde kino. Minisitule y’eby’obulamu yasindise dda omusaayi gw’abantu bano okukeberebwa mu kitongole ekikebera endwadde enkambwe entebbe Ku 8 bano, 4 bava Mpigi, 2 Kasese n’abalala 2 okuva wano mu Kampala. […]
Kkooti enaawozesa Kenyatta yetegese
Kkooti y’ensi yonna mu Kibuga Hague Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta wakufuuka omukulembeze w’eggwanga asookedde ddala okulabikako mu kkooti y’ensi yonna mu kibuga Hague mu ggwanga lya Netherlands. Kkooti eno yakutwala ennaku bbiri nga etandika okuwulira omusango guno. Kenyatta avunaanibwa kutyoboola dembe lyabuntu mu […]
kasattiro mu spain lwa Ebola
Mu ggwanga lya Spain kasattiro oluvanyuma lw’omusawo omu okukwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola Omusawo ono oli mu ddwlairo ekkulu mu Kibuga Madrid yali yajjanjaba abalambuzi babiri abaafa ekirwadde kyekimu Yye omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama alangiridde enteekateek y’okwekebejja abo bonna abayingira eggwanga ly’akulira Abantu […]