Amawulire
Museveni agauddewo Omwoleso gwabannamakolero
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akunze bannamakolereko okubeera abasaale mu kutumbula enkulakulalana mu ggwanga. Museveni okwogera bino abadde aggulawo omwoleso gw’abannakolera wali mu kibangirizi ky’abwe e Lugogo. Museveni agambye nti gavumenti yakwongera okulaba nga ebeeyi y’amasanyalaze eyongera okukka, okusobozeza bannamakolero okukola obulungi emirimu gyabwe. […]
omuyizi alina siriimu agobeddwa ku ssomero
Waliwo Omuyizi okuva mu ssomero lya Nalufenya primary School mu disitulikiti ye Pallisa agobeddwa lwakusangibwa nga alina siriimu. Shakulu Bakubwe ow’emyaka 10 y’agobeddwa ku ku bigambibwa nti obulamu bwe butadde obw’abayizi abalala mu katyabaga. kigambibwa nti nebazadde b’omwano ono baafa siriimu, nga maama we […]
Abeekalakaasi batabuse e Hon Kong
Okwekalakaasa mu Hong Kong kwongedde okunyikira nga kati poliisi bugyefuka n’abeekalakaasi. Abayizi bano bazinze ekitebe kya gavumenti nga bagala omukulembeze alekulire Abayizi bano baweze okuyingira ebizimbe bino bawambe gavumenti ssinga ensonga zaabwe teziwulirwe Abeekalakaasi bawakanya ekya China okubasalirawo ani anesimbawo mu mwaka 2017 nga bbo […]
Ssabalabirizi abalambuzza
Ssabalabirizi wa Uganda eyawumula Mpalanyi Nkoyoyo ategeezezza ng’omulimu gw’okuzimba ekifo omuterekebwa ebyafaayo ku biggwa by’abajulizi e Namugongo bwegutambula obukwakku. Ssabalabirizi okwongera bino abadde alambuza ssabasumba Stanley Ntagali wamu n’olukiiko oluzimba ekifo kino omulimu w’egutuuse wakati mu kwetegekera okukyala kwa pulezidenti Museveni . Museveni wakusimba e […]
Ogwa Sejusa gutandise
Okuwulira omusango oguvunanibwa abantu mukaaga abagambibwa okuvuunika gavumenti kutandise Ku bavunaanibwa kwekuli n’eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Sejusa ne private Frank Ninsiima Ninsiima n’abalala bavunaanibwa kugezaako kuvuniika gavumenti nga bayita mu bikolwa by’ekko n’okusiiga gavumenti eziro Bano era bavunaanibwa gwakulya mu nsi yaabwe lukwe […]
abaana babikkiddwa ekizimbe
Abaana babiri bakubiddwa ekizimbe ekikadde nebafiirawo Bino bibadde bakasongola ng’abagenzi bategerekese nga Winnie Muduwa ow’emyaka omusanvu ne mwanyina Gift Nicholas. Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atuubulidde nti enyumba esse abaana bano eri ku ttaka ly’amaggye nga lino lyafuumulwaako abantu abaali balyesenzaako Kigozi era […]
Babakubye amasasi
Poliisi etandise okunonyereza ku bantu abatannaba kutegerekeka abalumbye abantu babiri nebabakuba amasasi ng’ensi eraba Bino bibadde mu kitundu kye Rwizi Mbarara ng’atwala okunonyerezza Jackson Tumwine akakasizza amawulire gano Abagenzi bategerekese nga Kasim Nsamba ne Saidat Nabukeera Tumwine agamba nti ababiri bano babadde batudde mu mmotoka, […]
Dr Rugunda alayiziddwa, amaggye geeganye okuketta Mbabazi
Ssabaminisita w’eggwanga omuggya Dr Ruhakana Rugunda alayiziddwa mu butongole okukkakkalabye emirimu Ono alayiziddwa mu maka ga pulezidenti Entebbe, kumukolo ogwetabiddwaako pulezidenti, n’abenganda za Rugunda Rugunda yeeyamye okukwatagana obulungi ne ba minister okulaba nti emirimu gya gavumenti gitambula bulungi. Yye pulezidenti Museveni amwogeddeko ng’omusajja omuganzi era […]
Paaka ye Nakawa esenguddwa
Abagoba ba taxi mu paaka y’e Nakawa gebakaba gebakomba. KCCA ebasengudde n’ebalagira paaka okugizza e Naguru nga era obuyumba bwonna obubadde okumpi bumenyeddwa. Paaka eno ebadde ekozesebwa abantu okuva mu bitundu ebisoba mu 15.
Akabenje e South Sudan- Emirambo gifunise
Kyaddaaki abafiiriddwa abaabwe mu kabenje akaagudde e Nimule mu south sudan bafunye emirambo gy’abantu baabwe. kinajukirwa nti emirambo gino gyasooka kukandalirira mu kkubo olw’akiloole kya kampuni ya Bakulu coach okusooka okukwamira mu kkubo e Gulu. Gyebuvuddeko abantu ab’enjawulo bakedde kweyiwa ku ddwaliro ly’eMulago okukima emirambo […]