Amawulire
Tetunonyereza ku Mbabazi- Kaihura
Poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti enonyereza kw’abadde ssabaminisita Amama Mbabazi3 Kiddiridde ebigambibwa nti poliisi ebadde enonyereza ku bigambibwa nti abavubuka ba NRM abeekalakaasa bawagirwa Mbabazi ono Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti poliisi terina nsonga lwaki enonyereza ku Mbabazi kubanga teri yamuwaabye Kaihura wabula […]
Abafiiridde mu kabenje batuuse ku 35
Omuwendo gw’abatugiddwa akabenje akagudde okumpi n’ekibuga Juba gutuuse ku 35 Okusinziira ku ssentebe wa bannayuganda ababeera mu South Sudan, Nsubuga Mubiru , abasinga ku bano bafiiridde mu ddwaliro lye Juba olw’ebbula ly’omusaayi. Abakoseddwa abalala abasoba mu 40 bakyajjanjabibwa Mu bakoseddwa akabenje kano kubaddeko bannayuganda, bannakenya […]
Palamenti tekoze bulungi mirimu- Abantu
Alipoota afulumiziddwa ebibiina b’obwa nakyeewa eraga nti ababaka ba palamenti tebakoze mulimu gwaabwe ogw’okulondoola ebikolebwa gavumenti Alipoota eraga nti bannayuganda abaweza ebitundu 18.6 ku kikumi bagamba nti ababaka bebalondoola nsansaanya ya gavumenti naddala abakulu mu gavumenti ne wofiisi zebatuulamu Alipoota era eraga nti abantu ebitundu […]
16 bafiiridde mu kabenje e South Sudan
Abantu 16 beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kyaalo Nistu kilomita nga 35 okutuuka mu kibuga Juba. Akabenje kano keetabiddwamu baasi ya Bakulu coaches no. UAS, 073P ekonaganye ne Tuleera no, UAD, 300 E. Tuleera eno ebadde ava mu ggwanga lya South Sudan okudda e Kampala […]
Abaziyiza emisango e Ngora bamaze okutendekebwa
Abaziyiza wamu n’okulabula poliisi ku buzzi bw’emisango gwonna abasoba mu 1,200 ssibasanyufu n’engeri gyebaasibiddwamu . Okwemulugunya kuno baakukoledde ku matikira gaabwe mu disitulikiti eye Ngora. Bano ssibasanyufu olw’obutasasulwa nsimbi yonna oluvanyuma lw’emyezi esatu nga batendekebwa. Yye aduumira poliisi y’e Ngora Emmanuel Mafundo abaanukudde nga eky’okubasasula […]
Etteeka ku Bitooke lizze
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Bukomansimbi bayisizza etteeka eri abakozi bonna okutuula ewaka nga 6 October balanyise ekirwadde kya kiwotokwa ekimazeewo ebitooke n’ekirwadde ky’emmwanyi. Enteekateeka eno erangiriddwa ssentebe wa disitulikiti Hajji Muhamad Katerega bweyategezezza nga bwewatali kukola ku lunaku olwo abalimi basobole okulwanyisa ebirwadde bino. Ategezezza […]
Asse mukyala we lwa kaboozi
E Butalajje omusajja agambibwa okutta mukyalawe yewaddeyo eri poliisi avunanibwe. Badru Mwima 30 agambibwa okutematema Juliet Khainza oluvanyuma lw’okumumma akaboozi olwo nadduka zambwa neyewaayo eri poliisi. Kino kyajje abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe wa LCIII Patrick Hiire nebalumba poliisi emubawe bamwekolereko. Akulira okunonyereza ku misango ku […]
Abalwanyisa enguzi batabukidde Amama Mbabazi
Eby’eyali ssabaminisita w’eggwanga bikyalanda. Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala okunonyereza ku misango gyonna egy’obulyake egyali mu ofiisi ya Ssabaminisita ekiseera Amama Mbabazi kyabadde ssabaminisita. Bano bagamba nti ekisanja kya Mbabazi nga ssabaminisita kifumbekeddemu obuli n’enguzi n’obulyake kale nga okunonyereza kwetagisa. Bano bajukizza obuwumbi obusoba […]
Mukole, NRM ssi yabazannya
Pulezidenti Museveni agamba nti ekibiina kya NRM ssi kyabagaala omuzannyo. Ono agamba nti oyo yenna adda mu muzannya, wakiri ave mu kibiina. Pulezidenti Museveni bino abyogedde ayogerako eri abantu abamwanirizza okuva mu Amerika olunaku lwaleero. Pulezidenti akunze abavubuka okwekolamu omulimu bafune mu nteekateeka za gavumenti […]
Abasomesa bakufuna amayumba
Minisitule ekola ku by’enjigiriza etaddewo obuwumbi obusoba mu butaano okuzimbira abasomesa ba pulayimale amayumba Kino kiddiridde okwemulugunya ku basomesa abangi abeepena okusomesa olw’engendo zebatindigga okugenda okusomesa naddala mu byaalo. Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, J.C Muyingoagamba nti nga kino kiwedde, amaanyi bakugateeka ku basomesa aboosa kubanga […]