Amawulire
200 bazzeeyo e Buduuda
Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 basenguse okudda mu maka gaabwe e Buduuda Bano beebamu ku bava mu maka 600 abasengulwa nebatwalibwa e Kiryandongo oluvanyuma lw’okusengulwa ettaka eryabumbulukuka ku lusozi Elgon Ssentebe wa disitulikiti John Baptist Nambeshi agamba nti abantu bano bagamba nti ettaka […]
Mbabazi ayogera ky’aliko- abavuganya
Amaloboozi agasaba nti abadde ssabaminisita Amama Mbabazi ayogera ky’ayagala geeyongedde Munnamateeka wa gavumenti empabuzi, Medard Lubega SSegona agamba nti Mbabazi wakutuntuzibwa ekiyitiridde ssinga asalawo okusirika nga keekadde alangirire oba wakwesimbawo kitegerekeke. Ssegona agamba nti Mbabazi wakukolebwa buli ekimuswaaza n’ekigendererwa ky’okumumalamu amaanyi Wabula yye omubaka we […]
Museveni anayaanirizibwa nga muzira
Banakibiina kya NRM mu district ya Kampala ne Wakiso bekozeemu omuli okwaniriza omukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya ku kisaawe Entebbe,ngakabonero akokumwebaza okulonda Dr. Ruhakana Rugunda ku bwa Ssabaminister. Bano nga bakulembeddwamu minister akola kuno naguli Richard Twodong era bategezeza ng’omukulembeze w’eggwanga bweyaweseza eggwanga ekitibwa mu lukungaana […]
Katumba tamatidde alipoota
Amaggye g’eggwanga gatankanye ebyafulumira mu alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya e Human rights Watch ku Somalia Alipoota eno yayoleka nga ab’amaggye ga UPDF bwebadda ku bakyala ate beebalina okukuuma nebabavvoola omuli n’okubakaka omukwano. Ng’ayogerako eri bannamawulire Gen Katumba Wamala ng’ono y’aduumira amaggye agambye […]
Omwana agudde mu luzzi n’afa
Entiisa ebuutikidde ku kyaalo Kyakadaali mu gombolola ye Kitenga Mubende,omwana bw’agudde mu luzzi n’afirawo. Omwana afudde ye Justine Nakaweesi wa myaka munaana Nakaweesi abadde ne banne basatu nga bagenze okusena amazzi wabula ono mu kusena aseeredde n’agwa mu luzzi. Banne badduse mangu okuyita taata waabwe […]
Basse owa Boda
Poliisi e Mubende eri ku muyiggo gw’abatemu abateeze owa Bodaboda nebamukuba enyondo nebamutta olwonebakuulita ne pikipiki ye Ettemu lino libadde ku kyaalo mugungulumu mu Gombolola ye Bageza e Mubende. Omugenzi ye Gadi Muyimbise nga wa myaka 30 Omulambo gw’omugenzi gulabiddwa abatuuze ababadde bagenda mu nnimiro […]
NRM ejaganya lwa ssabaminisita omujja
Pulezidenti Museveni wakwanirizibwa nambuutu oluvanyuma lw’okulonda Ssabaminisita omujja . Abawagizi ba NRM e Wakiso ne Kampala wowulirira bino nga bategekedde omukulembeze w’eggwanga akabaga olw’okubalondera Dr.Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omujja oluvanyuma lw’okufuumula Amama Mbabazi. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’abavuibuka ba NRM e Wakiso Andrew Kiryoowa, […]
UPDF etangazizza eky’okugya amaggye ewa Mbabazi
Amaggye ga UPDF gategezezza nga bwegalwawo okujjayo abajaasi baago ababadde bakuuma eyali ssabaminisita Amama Mbabazi. Olunaku olw’eggulo amaggye gaggyeyo abajaasi baago mu maka ga Mbabazi e Kololo n’asigaza abaserikale ba poliisi abakuuma abantu b’ebitiibwa. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabadumizi w’amaggye […]
Buganda lwazi ssi Nva ndiirwa
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agamba nti Buganda Lwazi, si nva ndiirwa nti ejja kuwotoka. Kamalabyonna bino abyogedde ayogera eri abantu be saabagabo mu kufundikira okusolooza ettofaali. Katikkiro agambye nti waliwo abantu abalemesa ettofaali nga balyogerera naye nga terivudde kati kubanga ne bajjajja […]
Omulonzi awaabye lwa tteeka ku bisiyaga
Palamenti ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lw’ababaka okwebulankanya mu kuyisa etteeka ku bisiyaga nga 20 December omwaka oguwedde Etteeka lino lyasazibwamu kkooti lwababaka abaaliyisa okuba nga baali tebawera bassalira. Peter Nalonda nga Yinginiya era omu ku baziyiza obuzzi bw’emisango ku kyalo Kirombe Butabika mu division ye […]