Amawulire
Taata wa Gen Sejusa afudde
Mu mawulire g’ennaku Taata wa David Sejusa abanji gwebamanyi nga Gen Tinyefuza Mzee Simon Peter Rwajojo afudde. Ab’oluganda lw’omugenzi bategezezza nga omugenzi bwasizza omukka ogusembayo nga bukya olwaleero mu ddwaliro ekkulu e Mulago mu ward 6 gyeyatwalibwa nga ekirwadde ky’omutima kimuli bubi. Omwogezi w’eddwaliro ly’emitima […]
Omutemu aluyiseeko
Poliisi e Mbirizi mu disitulikiti ye Lwengo eriko omusajja gwetaasizza okugajambulwa abatuuze nga bamulumiriza okutta munne omwezi oguwedde. Kigambibwa nti Kabenge yatta Samuel Moses omwezi oguwedde bweyali ava okulaba omupiira mu kibanda olwo n’amalamu omusubi nga era poliisi ebadde emuwenja. Waliwo omutuuze atemezza ku poliisi […]
Kidandala akole egya Lukwago- Nabilah
Omubaka omukyaala owa Kampala Nabila Nagayi awagidde eky’amyuka loodi meeya Suleiman Kidandala okujira nga atuula mu kifo kya mukamaawe Erias Lukwago yadde yamugobye. Nabilah agamba tewasaanye kubeerawo kubuzabuzibwa ku kya Kidandala okujira nga akola nga loodi meeya kubanga bannakampala beetaaga okuweerezebwa. Bino webijidde nga wakyaliwo […]
Mulwanirire byemwagala- Katikkiro
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okulwanirira byebagaala Katikkiro abagamba nti omuntu yenna aba alina okuzibiriza okufuna by’ayagala n’okukkiriza nti kisoboka Bino katikkiro abyogeredde ku ssomero lya St Henrys ku lugendo lwe olw’okusonda ettofaali mu gombola ya Makindye saabagabo Katikkiro era eno […]
Aba Nasser bazzeemu okwekalakaasa
Emirimu gizzemu okusanyalala ku luguudo lwa Nasser oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi ababadde bekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze. Bano batadde emisanvu mu luguudo wakati ssaako n’okukuma omuliro nga kino kisanyalazza nnyo eby’entambula. Kino kiwalirizza poliisi okubagumbulula era gyebigweredde kubakubamu mukka gubalagala. Lwo oluguudo […]
Abalongo bannabansasaana bazaaliddwa e Soroti
Waliwo abalongo ba nabansasaana abazaaliddwa mu ddwaliro lye Soroti. Esther Akello ow’emyaka 19 mutuuze ku kyaalo Omulala mu gombolola ye Asuret e Soroti Abaana bano beegattira ku bubina. Atwala eddwlairo lino Dr Emmanuel Batibwe agambye nti omuwala ono bamuwadde ekitanda olunaku lwajjo ng’olubuto lumuluma kyokka […]
Mbabazi alabiseeko mu palamenti wakati mu mizira
Abadde ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi atuuse mu palamenti wakati mu mizira okuva mu babaka ba palamenti. Mbabazi ayambadde essuuti ya blue n’ettaayi ya kyenvu ayaniriziddwa babaka banne era emirimu wano gisanyaladde. Ayiseewo butereevu okutuuka ku ntebe y’okusatu w’atudde Mbabazi leero lw’asoose okutuuka nga palamenti […]
Ababaka balya ensimbi z’okutambula
Olwaleero kizuuse nti ababaka abamu tebalina mbalirira ya nsimbi ezibaweebwa okutambula Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ababaka olwaleero kassiddwa ku ninga okunyonyola lwaki kasirika ng’ababaka balyazamaanya ensimbi z’omuwi w’omusolo. Ensimbi eziwerera ddala obukadde 40 zeezitaliiko mbalirira nga zino zaali zakutambuza babaka okugenda emitala w’amayanja […]
Omuzikiti gw’abasiyazi
Omuzikiti oguwagira ebisiyaga ogusookedde ddala okuggulawaawo mu ggwanga lya South Africa guggaddwa Omuzikiti guno gubadde kukkiriza abakyala okukulmeberamu esswala Omu ku ba kansala ku Lukiiko oluddukanya ekibuga Cape Town ategeezezza nti omuzikiti guno bagugadde kubanga tegulina paakingi emala. Omuzikiti guno gwaggulwaawo wakati mu kwemulugunya okuva […]
Amasanyalaze gasse abaana babiri
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Apoli mu disitulikiti ye Lamwo abaana babiri bwebakubiddwa amasanyalaze neebafiirawo. Abaana bano amasanyalaze agabakubye babadde ku kyuuma ekikuba ebinyeebwa Kigambibwa okuba nti abaana bano babadde bazannyira mu nkuba era olwavuddeyo nebakwata ku kyuuma ekyabaddeko amasanyalaze negabakanula Aduumira poliisi ye Lamwo […]