Amawulire

Asse mukyala we ne bebi

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Abatuuze mu disitulikiti ye Nwooya baakeredde mu maziga oluvanyuma lw’omu ku batuuze okutta mukyala we n’omwana naye neyetta. Simon Opiyo ow’emyaka 22 asse mukyala we ow’emyaka 19 ategerekese nga Prossy Adoch ne bebi waabwe ow’omwaka ogumu. Omusajja ono okutta mukyala we kigambibwa nti akozesezza nyondo […]

Okukuza emyaka -Poliisi ezze mu bantu

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Ebitongole bya poliisi ebitali mu olwaleero byolesezza kyebirinawo eri abantu Ebitongole bino era byogedde eria bantu butereevu Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira poliisi ekolera mu bantu, Stephen Musoke agambye nti kino kigendererddwaamu kumala luwonko wakati w’abantu ne poliisi Anyonyodde nti bino byonna babikola nga bateekateeka okukuza […]

Uwera Nsenga asibiddwa emyaka 20

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Omukyala eyatomera bba n’amutta,Jackline Uwera Nsenga asibiddwa emyaka 20. Omulamuzi Duncan Gaswaga agambye nti ekibonerezo awadde kitonotono kubanga yeetonze. Omukyala ono nga tebannamusalira kibonerezo akulukusizza amazga n’asaba aba famire ya bba ne kkooti bamusonyiwe kubanga teyagenderera. Omukyala ono agambye nti bukubagaano mu aka bwebuvaako embeera […]

Rugunda asunsulwa leero

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Palamenti olweggulo lwa leero esuubirwa okukakasa Dr.Ruhakana Rugunda  ku bwa ssabaminisita bw’eggwanga. Rugunda yalondebwa pulezidenti Museveni olwokutaano oluwedde nga yazze mu bigere bya  Amama Mbabazi . Rugunda y’abadde minisita w’ebyobulamu nga yye ekifo kye tekinafunibwamu musika.   Akawayiro namba  108  mu ssemateeka kakilambika nga omuntu […]

Kidandala ayogedde, ba Kansala bali mabega we

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Amyuka loodimeeya w’ekibug Sulaiman Kidandala awakanyizza ebigambibwa nti ayagala kusigukulula mukama we Kidandala era avumiridde engeri Erias Lukwago gyeyamugobyeemu ku bwa loodimeeya Kidandala agambye nti ky’aliko mu kadde kano kwekutaasa ofiisi ye ng’ayita mu mateeka n’okuteesa Lukwago yagoba Kidandala ssabiiti ewedde ng’alanga kumuyita mabega n’akukuta […]

Ababbira mu Taxi bakiguddeko

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Poliisi eriko abasajja  babiri abateberezebwa okubbira mu taxi b’etaasizza okuttibwa Abasajja bano bakwatiddwa ababodaboda ababasimbyeeko wali ku nkulungo ye Mulago. Abasajja bano babadde balondoolwa Robert Mukasa gwebanyazeeko ensimbi obukadde mukaaga akawungeezi akayise, era bwabasanze e Wandegeya nabateekako bodaboda okubagoba . Aduumira poliisi ye Kimwanyi Mulago […]

Nsalessale ku ndagaano eyongezeddwaayo

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Minisitule ekola ku by’enjigiriza eyongezezzaayo nsalessale w’abayizi okussa emikono ku ndagaano y’okwewola Akakiiko akasakirira ebyenjigiriza ebya waggulu kategeezezza nga bwekajja okusigala nga kassa emikono ku ndagaano zino Endagaano eno eyoleka eri abayizi gyebanaasasulamu kyokka nga ku lw’okutaano lwa ssabbiiti ewedde, bangi ku bayizi abaasaba ensimbi […]

Ekibondo ky’ababbi mu gavumenti

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Kaliisoliiso wa gavumenti ategeezezza nga bwewaliwo ekibondo ky’abakozi ba gavumenti nga bano ogwaabwe kwakulya nguzi Irene Mulyagonja agamba nti ekibinja kino kiyingidde minisitule ezitali zimu nga kikozesa amakubo ga takinologiya ow’omulembe okunyagulula eggwanga Mulyagonja okwogera bino abadde atongoza enteekateeka emanyiddwa nga Strengthening Uganda’s Anti-Corruption Response […]

Ekyuukakyuuka mu basikiriza banaggagga zijja-Museveni

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni agamba nti wagenda kubaawo enkyukakyuka ez’omuggundo mu kitongole ekisikiriza banaggagga mu ggwanga Kino kigendereddwaamu kulaba nti bamusiga nsigo bakoma okubonabona n’obukwakkulizo obusukkiridde mu kutandikawo bizinensi. Pulezidenti okwogera bino abadde asisinkanye bannayuganda ababeera emitala wa Mayanja mu kibuga Texas. Pulezidenti agamba nti bataddewo emeeza […]

Afiiridde mu nju

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Omuntu omu afiridde mu muliro ogukutte enyumba mu disitulikiti ye Mukono Omugenzi ategerekese Yudah Kibuuka omutuuze we Walusimbi e Nama Mukono. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omugenzi kirabika yeerabiddeko akasubbaawa Omusajja ono yasangiddwa mu nju ye […]