Amawulire

Mbabazi- bannakyeewa boogedde

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Okugobwa kwa Mbabazi kyongedde okukakasa ekigendererwa kya pulezidenti Museveni eky’okwesimbawo nga tavuganyiziddwa mu kibiina. Omukwanaganya w’emirimu ku kibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, Crispy Kaheru agamba nti kuno kwetegekera kalulu ka 2016. Wabula alabudde nti kino kyolese okuyuza mu kibiina olw’abagaala ekibiina […]

Scotland egaanye okwekutula ku Bungereza

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Bannansi ba Scotland bagaanye okwekutula ku Bungereza ku kalulu k’ekikungo akakubiddwa bannansi. Abalonzi 31 ku 32 basazeewo okusigala wansi wa Bungereza Ssabaminisita wa Bungereza David Cameron agambye nti musanyugu nti Bungereza yakusigala kitole era eggwanga lyakweyongera okwegatta. YYe omukulembeze wa Scotland akkirizza ebivudde mu kalulu […]

Kenzo akwatibwe- kkooti

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Kkooti Enkulu mu Kampala eragidde bawanyondo ba Kkooti bakwate omuyimbi Eddy Kenzo  olw’okulemererwa okusasula amabanja. Okusinzira ku kiwandiiko kya kkooti nga kiriko omukono gw’omuwandiisi Muhammad Kasakya,  Kenzo alina okukwatibwa obutasukka bbalaza ssabbiiti ejja Kkooti eragidde atwala poliisi y’oku luguudo lwe Jjinja mu kampala okukwatagana ne […]

Abalala babiri battiddwa e Moyo

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Abantu babiri beebattiddwa ku kyaalo Eria ekisangibwa e Moyo Atwala poliisi mu kitundu kino Josephine Angucia agambye nti bano balumbiddwa mu maka gaabwe Abantu abalala abasoba 10 beebakoseddwa ate enyumba bbiri neziteekerwa omuliro Abagenzi bategerekese nga Grace Ajua omusudaani ne Annet llilia. Abantu bataano bbo […]

Mbabazi ayogedde- Njakusigala mpereeza eggwanga

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Abadde ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi avuddemu omwaasi ku by’okumugoba ku kifo kino. Mbabazi yeebazizza pulezidenti Museveni olw’okumussaamu obwesige n’amuwa omukisa okuwereeza bannayuganda. Mbabazi agambye nti wakusigala ng’aweereza eggwanga lye mu ttuluba lyonna ly’anaasobola. Mu ngeri yeemu ayozayoozezza Dr. Ruhakana Rugunda olw’okulondebwa okumusikira n’agattako […]

Lukwago Agobye Kidandala

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

  Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago agobye Sulaiman Kidandala ku bumyuka bwa loodi meeya. Bino Lukwago abirangiridde mu lukungaana lw’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti wali ku luguudo lwa Katonga. Lukwago alumiriza  Kidandala okukukuta ne minisita wa Kampala Frank Tumwebaze wamu ne bakansala abamu okwagala okumutuuza  […]

Ssekandi amezze Mbabali

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

  Omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka abuukira mabega nga jjanzi. Kkooti etaputa ssemateeka egobye omusango ogubadde gumuvunanibwa  munnamateka Jude mbabali nga amulanga kukozesa mmotoka za gavumenti mu kuwenja kalulu.  Mbabali y’addukira mu kkooti eno nga ayagala Ssekandi agobwe mu palamenti nti yadiibuuda ensimbi y’omuwi w’omusolo […]

Mbabazi agobeddwa ku bwa Ssabaminisita

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

    Pulezidenti Museveni agobye John Patrick Amama Mbabazi ku bwa Ssabaminisita namusikiza abadde minisita w’eby’obulamu Dr.Ruhakana Rugunda. Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo akasizza kino wabula tawadde nsonga lwaki pulezidenti anaabidde Mbabazi mu maaso. Rugunda kati afuuse ssabaminisita wa Uganda ow’omukaaga mu gavumenti ya NRM. […]

Abagwiira abalala bakwatiddwa

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Abagwiira abawerera ddala 20 beebayooleddwa ekitongole ekikola ku bafuluma n’okuyingira eggwanga Abakwatiddwa kuliko abayindi 6, aba Pakistan 2, aba Vietnam 6 n’omungereza omu. Omwogezi w’ekitongole ekikoze ekikwekweto, Jacob Siminyu agamba nti bano bonna bajjiddwa mu kitundu kya bannamakolero giyite Industrial area mu kampala Simunyu agamba […]

UNEB afunye ssentebe

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni akakasizza Prof. Mary Okwakol  ku bwa ssentebe bw’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB Prof Mary Okwakol yasooka kulondebwa okugira ng’ayambako oluvanyuma lw’okulekulira kwa Fagil Mande mu gw’okutaano. Omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo Mathew Bukenya y’akakasizza amawulire g’okukakasibwa bwa Okwakol Bukenya agambye nti essaawa yonna ono agenda kukwasibwa […]