Amawulire
Nigeria etulugunya abasibe
Okutulugunya abasibe kifuuse kya bulijjo mu poliisi ye Nigeria . Ab’ekibiina ekya Amnesty international bagamba nti abapoliisi n’amaggye bakozesa enkola ezitali zimu okutulugunya abasibe omuli okukuba, okutungulamu abasibe enjala n’okubakuula amannyo nga bakozesa magalo n’okubakabasanya mu by’akaboozi. Omu ku bakazi abagambibwa okubba mu kibuga Lagos […]
Omubbi w’emmotoka mukwate
Poliisi erwanyisa ababbisa emmundu ekutte omusajja agambibwa okuba omubbi w’emmotoka e Kawempe Ono akwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa oluvanyuma lw’abalozezza ku bukambwe bwa bano okwekubira enduulu ku poliisi. Akwatiddwa ategerekese nga Sayid Luzze omutuuze w’omu kirokole mu Kawempe Atwala eby’okunonyereza mu poliisi eno, David Wasonga, emmotoka […]
Pulezidenti awolerezza amaggye mu NAADS
Pulezidenti Museveni ayongedde okunyonyola lwaaki enkola ya NAADS yalina okuyiibwa Ng’asisinkanye bannamaggye abagenda okulondoola enteekateeka eno, pulezidenti agambye nti ku buwumbi 200 ezaali zisindikibwa mu nteekateeka eno, obuwumbi 95 zokka zeezali zikozesebwa kati ezisigadde neziriibwa Pulezidenti agamba nti okuyingiza amaggye mu nteekateeka eno akakasa kyakuyamba […]
Pulezidenti yaweza dda emyaka
Okukubaganya ebirowoozo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga kufuuse mabeere ga mbwa Kiddiridde pulezidenti Museveni okukuza nga bw’awezezza emyaka 70 era ng’akabaga ke keetabiddwaako, abaana n’abazzukulu Olunaku lwajjo, poliisi yekutte ekibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bagamba nti pulezidenti alimba emyaka , ng’emituufu giri kinaana. Kati ssabawandiisi wa […]
Omwana eyabbira-Abasomesa batuuyanye
Okuwulira omusango oguvunaanibwa abasomesa abagambibwa okulagajjalira mwana eyabbira mu kidiba ky’essomero kugenze mu maaso. Akulira essomero lya Acorn International school erisangibwa e Bukoto Aleena Lalani olwaleero yanyonyodde engeri abasomesa gyebalagajjaliramu omwana ekyamuviirako okufa Ategeezezza nti abasomesa okuli Deborah Akado ne Florence Awor beebali bakuuma abaana […]
Asse nyina lwa bintu
omusajja eyatta nyina olw’ebintu asibiddwa emyaka 25 Allan Ahimbisibwe nga musuubuzi mu kibuga kye Mbarara yatta nyina ow’emyaka 65 ng’ayita mu bantu beyagula bamalirize omulimu guno. Oludda oluwaabi lwategeeza omulamuzi David Matovu nti yagula abatemu beyawa obukadde butaano nebalumba nyina . Bano bakuba ekituli mu […]
Omukyala asse bba
Omukyala akkidde bba gw’alinamu abaana abana n’amukuba ekiti ku mutwe ekimusse. Bino bibadde Buloba mu disitulikiti ye Wakiso. Beatrice Mutesi y’akubye bba Charles Twebaze n’amutta. Okusinziira ku batuuze mu kitundu kino, ababiri bano baludde nga balwana kyokka nga ekibatabula buli omu ayogera bibye. Atwala poliisi […]
TASO teggalawo
Ekibiina ekibudabuuda n’okujanjaba abantu abawangaala ne mukenenya ekya TASO kigumizza abajanjabibwa yo nga bwebatagenda kuggalawo . Kiddiridde amawulire agafulumye olwaleero nga galaga nti aba TASO bagenda kuggalwaawo olw’ebbula ly’ensimbi oluvanyuma lw’abagabirizi b’obuyambi okubijjamue nta. Omwogezi w’ekibiina kino Megan Katasi agamba yadde nga ensimbi okuva mu […]
South Sudan yefuludde- Teri kugoba bagwiira
Gavumenti y’eggwanga lya South Sudan yefuludde n’esazaamu ekiragiro ekigoba abagwiira bonna . Minisita wa South Sudan akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Benjamin Barnaba Marial ategeezezza nga bwebatagenda kugoba mugwiira yenna kubanga baaniriza buli Muntu Olunaku lwajjo gavumenti ya South Sudan yalangiridde nti egenda kugoba abagwiira […]
Ekisanja eri Kaihura- Ababaka boogedde
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bavuddemu omwaasi ku ky’okwongera Gen Kale Kaihura ekisanja nga senkaggale wa poliisi Abakulembeze mu poliisi bayongedde gen Kaihura emyaka 3 ng’aweereza eggwanga nga kati palamenti y’esigadde okumuyisaamu Kaihura kino kijja kumufuula ssabapoliisi eyakasinga okuwangaalira ku kifo kino Yadde ababaka abamu […]