Amawulire
Kaihura atabukidde abawa amawulire ku butujju
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura ayisizza okulabula eri aba poliisi obutaddamu kufulumya mawulire ku bikwekweto ebikolebwa ku batujju Obubaka buno busindikiddwa ku poliisi zonna era ng’anavvoola ekiragiro kino wakubonerezebwa Kaihura agamba nti omwogezi wa poliisi yekka y’akkirizibwa okuwa amawulire. Bino bizze nga poliisi ky’ejje […]
KCCA etabukidde abamenya amateeka, ab’enviiri basibiddwa
Abasajja bibiri abasuula kasaasiro mu luguudo batanziddwa emitwalo 90 buli omu. Francis Mukiibi nga mukungaanya wa Kasasiro ne Moses Mugula nga bonna babeera Bakuli basimbiddwa mu maaso ka kkooti ya Cityhall ebasalidde ekibonerezo. Ababiri bano baggulwaako misango gyakufuuna byeneena n’okujamawaza ekibuga Okuvaako era mu kkooti […]
Mwerinda amataba- Enkuba egoyezza abe Luweero
Gavumenti erabudde ng’amataba bwegakyazingako eggwanga olw’enkuba ekyafudemba. Minisita omubeezi owa minisitule y’ebigwa tebiraze n’ebibamba Musa Ecweru agamba yyo enkuba ekyatonya okutuusiza ddala mu December. Bino minisita yabyogedde awaayo obuyambi eri abantu abakoseddwa amataba ku kyaalo Tajar village mu disitulikiti ye Bukedia. Eno amayumba, amasomero n’amalwaliro […]
Emirimu gisanyaladde e Moyo- kwekalakaasa
Emirimu gisanyaladde mu tawuni ye Moyo oluvanyuma lw’abantu abasoba mu 1000 okukumba wakati mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulembeze baabwe abaakwatibwa poliisi ya South Sudan wiiki ewedde. Bano bakutte ebipande okuli obubaka obuvumirira ekikolwa kino olwo neboolekera ensalo mu kitundu kye Afoji . Omubaka omukyaala ow’e […]
Omulogo agobeddwa ku kyaalo
Abatuuze mu tawuni kanso ye Kijura mu disitulikiti ye Fort portal bagobye omukazi ow’emyaka 25 ku kyaalo lwa bulogo. Ono ataasiddwa poliisi ku batuuze ababadde baagala okumulesa emmere nga bamulanga kubaama nkola ya kalogo kalenzi. Omukazi ono nga wanzaalo 3, abasajja ku kyaalo bamulumiriza okubaloga […]
Abadde katikkiro abanja
Oluvanyuma lwa Busoga okufuna Kyabazinga omujja, Issabalangira w’obwakyabazinga David Kawune Wakooli akwanze palamenti ekiwandiiko nga ayagala kugabana ku bukadde 350 ezigenda okuweebwa Kyabazinga William Gabula Nadiope. Kawune agamba akoze nga Kyabazinga okumala ebbanga awatali musaala gwonna kale nga yetaaga okusasulwa. Kawune aludde ng’akola nga Kyabazinga […]
Aba Taxi bazzeemu okugugulana
Endoolito mu mulimu gwa Taxi ssi zakugwawo kati. Amakya galeero badereeva mu paaka enkadde ku siteegi okuli Nateete, Nalukolongo ne Ndeeba bagaanye okusasula siringi 1000 ez’okutikka buli taxi. Bano bagamba ensimbi zino zimenya mateeka nga n’abakakiiko ka TAPSCOM abazisolooza bagyibwawo oluvanyuma lw’entegeregana wakati wa KCCA […]
Pulezidenti eri abakulembeze b’ennono- mwegatta
Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b’ennono okukozesa obuganzi bwaabwe okugatta abantu mu kifo ky’okubaawuula Ng’ayogerera ku mikolo gy’okutuuza Kyabazinga William Gabula Nadiope, Pulezidenti agambye nti akimanyi nti obwakyabazinga buliko byebubanja kyokka ng’ebyo bitono byetaaga kuteesa. Ku ky’okuyooyoota ekitundu kye Bugembe , Pulezidenti agambye nti kino kijja […]
SSabassajja kabaka ayozayozezza Gabula
SSabasajja Kabaka akunze abaganda okuweerera abaana n’okubakuuma nawookera wa Mukenenya Ssabasajja byonna abyogedde alabiseeko eri Obuganda ku mikolo gy’okusiima abayizi abayimba n’okuzina ku Ssomero lya St Peters Primary school e Luweero Omutanda agambye nti kikulu emiti emito okugikuuma kubanga gwe musingi gwa Uganda ne Buganda […]
Abatta nabo bajja kuttibwa
Pulezidenti Yoweri alabudde abatta bannayuganda abatalina misango Ng’ayogerera mu missa y’okujjukira omubaka eyasooka okuva mu kitundu kya Westnile, Pulezidenti agambye nti omukulu Gaspero Oda yattibwa amaggye ga UNLA nga talina musango kyokka ng’abamutta nabo tebaafuna mirembe Pulezidenti omugenzi amwogeddeko ng’omusajja eyali omwesimbu era atali mwangu […]