Amawulire
Abagwiira bayooleddwa
Abagwiira abawerera ddala 45 beebakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga Ekikwekweto Minisitule ekikoze mu bitundu bye kampala William nabugabo ne coin investments Omwogezi w’ekitongole kino Jacob sinmunye agambye nti ekikwekweto kino kikoleddwa oluvanyuma lw’okwemulugunya ku bantu abayingira mu ggwnaga mu […]
America asattidde ku batujju
Eggwanga lya America lirabudde abantu baayo abali mu Uganda obutava waka Bano bayise ku mukutu gwa Twitter nebategeeza nga bwewaliwo kyebekengedde ku batujju kyokka nga tebatudde America era esabye abantu baayo abatali waka okuddukira mu bifo ebikkakkamu okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna Mu kusooka era […]
Kaweesi ayatulidde ba mafia abali mu poliisi
Eky’abakulu mu poliisi okwekobaana n’abazzi b’emisango okunyagulula abantu tekakyaali kaama. Abadde aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti waliwo ba Mafia mu poliisi ng’amakanda bagasimba wabweeru wa CPS nebanyagulula abantu abeetaga obuyambi Kaweesi agamba nti abafere bano bakolagana n’abakulu mu poliisi Kaweesi […]
Basajjabalaba wakusasula Kanyeihamba
Naggagga Hassan Basajja Balaba alagiddwa okusasula obukadde 124 eri omulamuzi George Wilson Kanyeihamba Kanyeihamba yawaaba Basajja Balaba lwakumugoba ku bwa ssenkulu bw’ettendekero lye erya Kampala International University mu bukyaamu. Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Yasin Nyanzi oluvanyuma lwa Kanyeihamba okuleeta obujulizi obulaga nti yagoba mu bukyaamu […]
Tewali Kiremesa Nadiope kufuuka Kyabazinga- Kkooti
Kkooti enkulu egobye okusaba okwassibwaayo abawakanya okulondebwa gwa William Gabula Nadiope nga Kyabazinga wa Busoga Omulamuzi Godfrey Namundu agambye nti abalangira omwenda bonna tabasobola kuba nga baakola nsobi kale nga y’ensonga lwaki tasobola kuyimiriza kyebaasalawo Omulangira Edward Colombus yeeyakulemberamu abagenda mu kkooti nga bagaala okutuuza […]
Omukago gwa East Africa tegunnayamba bakozi
Abantu ababeera mu mawanga ga East Africa akyasanga obuzibu okukola emirimu kyeere nga teria bakua ku mikono. Bino biri mu alipoota efulumiziddwa ng’alaga nti yadde ekigendererwa ky’omukago kwanguya mirimu, kitono ekituukiddwaako kubanga abakozi bakyasanga emiziziko miyitirivu Abakoze okunonyereza aba SEATINI Uganda bagamba nti endagaano ezizze […]
Abalamazi basibulwa leero
Ekibinja ky’abasiramu ekisooka abagenda okukola Hijja kisibulwa olunaku olwaleero ku Muzikiti e Wandegeya. Abalamazi abasoba mu 1000 bebagenda okutukiriza empagi ey’okutaano mu diini y’obusiraamu e Makka ne Madiina. Okusinziira ku Mwogezi w’ekitebe ky’e Kibuli sheikh Hassan Kirya, abalamazi bano basubirwa okwongera okusabira eggwanga […]
Lufula y’e Lyantonde egaddwa
E Lyantonde abali b’enyama bakonkomaliridde ku midaala oluvanyuma lwa lufula enkulu okugalwa lwa bukyaafu. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Suleiman Tuguragara y’alagidde lufula eno eggalwe lwa abakinjaaji kwemulugunya entakera ku zi kabuyinjo ezitalina mazzi n’obukyaafu obususse. Bano wiiki ewedde abakinjaaji bediima okusala […]
Enyonyi y’amaggye egudde
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col. Paddy Ankunda agamba nti enyonyi eno enywaanyi kika kya L39 ebadde ekozesebwa kutendeka Ankunda agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno kyokka nga yye munnamaggye abadde avuga akyajjanjabibwa . Omu ku beerabiddeko n’agage, Robert Ocen agambye nti alabye […]
Abagyiira mu nju bonna bafudde
Abantu abana abagyiira mu nyumba e Kawmokya bonna bafudde Abagenzi kuliko Shaudin Kasambira ow’emyaka 5, Shamira Namubaale ow’emyaka 10, Shadia Kayaga ow’emyaka 7 ne kitaabwe ow’emyaka 45 ngono yinginiya Tabu Kasambura. Enyumba yaabwe yakwata omuliro ku bbalaza nga guno gwaava ku kasubbaawa akalekebwa abaana abaali […]