Amawulire

Alipoota ku maggye yabulimba

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Omukago ogutaba amawanga ga Africa ogwa African Union gukubye ebituli mu alipoota y’ekibiina ekya human rights watch, nga eno akawungeezi yalaze nga abajaasi abali mumukago gwa africa bwebasobya ku bakyala mu gwanga lya somalia. Okusinziira kukiwandiko kyetuufunye okuvva mu kakiiko ka Africa, akakiiko kategeezeza nga […]

Aba NSSF babakunyizza

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Ssentebe w’olukiiko  olufuga ekitavvu ky’abakozi  Ivan Kyayonka,  ateeeredwa ku ninga anyonyole  lwaki okulondebwa kwabakungu ab’okuntiko kulukiiko olufuzi luno kwalwa okumala ebbanga. Bwabade alabiseeko maaso g’akakiiko  akalondoola ensonga zino, kyayonka asabidwa mangu dala anyonyole lwaki okulondebwa kwa Edgar Agaba, Patrick Ayota ne Richard Wabwire kwali kwabireego […]

Omusiisi w’embizzi alula

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

  Mu disitulikiti ye  Buyende poliisi ekubye omukka ogubalagala okutaasa omusiisi w’embizzi ku batuuze  gwe babadde  baagala okugajambula nga   bamulumiriza okubaguza enyama  erimu obutwa. .Charles  Otala Ochen y’awonye okugajambulwa oluvanyuma lw’abawomerwa enyama eno  abawerako okwemulugunya  nga kagisiika bwayagala okubatta.  bano  baavudde mu mbeera oluvanyuma lwa […]

Aba taxi e Nateete bekalakaasa

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi mu paaka y’e Nateete bazzemu okwegugunga nga bawakanya ensimbi endala ezibasolezebwako. Bano kati basazeewo okufulumya taxi zaabwe zonna mu paaka eno okugyako nga nanyini yyo Luis Ntale asazizaamu eky’okubaggyako ensimbi zino. Ensimbi ezogerwako ze 3000 ezabuli taxi atikka zebagamba nti zakubanyigiriza Nga […]

Abatund afirimu bafunye bbeetu

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Kkooti y’ebyobusuubuzi ewadde obuyinza abazanyi ba firimu okukwaata firimu zaabwe okuva eri abo abazitunda oluvanyuma lw’okuzookyamu mu bukyaamu. Bano bazze bemulugunya nga bagamba bafiirizibwa byansusso olwabantu bano abooza mu mirimu gyaabwe nga baagala gavumenti eteeke munkola etteeka ly’ebiyiiye by’obwongo erya Copy right . Omulamuzi Henry […]

Omulangira William ne Kate bakuzaala omwana omulala

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Bungereza erangiridde nga omulangira William ne Kate bwebagenda okuzaala omwana waabwe ow’okubiri . Obwakabaka bwa Bungereza bulangiridde nti omwana omulala wakuzaalibwa omwaka ogujja era nga omumbejja ayoya obuyembe Omulangira anazaalibwa wakuna ku lubu bw’abalindiridde Namulondo Nabakyala wa Bungereza asanyukidde dda amawulire gano

Kadaga alemeddeko- Gabula ye Kyabazinga

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alabudde omulangira Edward Columbus ku kweyita Kyabazinga wa Busoga Kiddiridde ssabalangira wa Busoga, Daudi Kaunhe Wakooli okulangirira Wambuzi ku bwa Kyabazinga n’amuwa n’ebikozesebwa byonna. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Kadaga agambye nti Kyabazinga ali omu yekka nga Gabula Nadiope era oyo […]

Omwana afiiridde mu muliro, bana bataawa

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kirumba Rakai, omwana bw’asirikkidde mu muliro ogukutte enyumba Omwana afudde abadde wa myezi ena. Kigambibwa okuba nti maama w’omwana ono jane Namanda akolezezza ekibiriiti kyokka akasigaddewo n’akakasuka nekakwata mpola nga tategedde Erikka eribadde lifuluma mu nyumba lyelizuukusizza omukyala ono gy’abadde kyokka […]

Ab’amaggye g’omukago bakwata abakazi mu somalia

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch eraze nti ab’amaggye g’omukago mu ggwanga lya Somalia baava dda ku mulamwa nebadda mu kukakaka abakyala omukwano Amaggye gano kigambibwa okuba nga gakoseza amaanyi nga gakozesa akakisa nti abantu bano baba mu bwetaavu. Omu ku […]

Babiri battiddwa e Namayingo- abalala 18 bakwatiddwa

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

Ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo bakutte abakulembeze b’enzikiriza ya Injiri 18 lwakutaataganya nteekateeka yakubala bantu. Enzikiriza eno erudde nga yekiika mu nteekateeka za gavumenti nga yalemesa n’abagoberezi baayo okwewandiisa okufuna endagamuntu. Omubaka wa pulwzidenti mu kitundu kino  Mpimbaza Ashaka agamba bano bakwatiddwa nga bagaana abagoberezi […]