Bamusaayi muto ba DP e Kayunga bategese okusaba okujjukira abaafira mu kwekalakaasa okwafumbekera ebitundu bya Buganda mu mwaka 2009.
Nga boogerako eri bannamawulire, abavubuka bano era basabye gavumenti okufulumya omuwendo gw'abantu abaafira mu kwelakaasa kuno
Basabye era ne ssabanyala baker Kimeze okwetonda olw'okuvaako okuyiwa omusaayi
Bino bbo bizze nga Kimeze yakajaguza nga bwegiweze emyaka 6 bukyanga yeerangirira ku…
Abatunzi ba firimu wano mu kampala abasoba mu 50 bakedde kugumba ku kkooti y’eby’obusuubuzi wano mu Kampala nga omusango ku tteeka ly’ebiyiiye eby’obwongo erya Copy right gutandika okuwulirwa.
Abasuubuzi bano baduuse zambwa baabo ku kkooti oluvanyuma lwa poliisi n’abazanyi ba firimu okutandika okuggala amaduuka gaabwe nga babalumiriza okusala mu cinema zaabwe awatali lukusa.
Ssentebe w’abatunda firimu zino…
Okubala abantu kwongezeddwayo olunaku lumu okutuuka ku sande ya weeki eno.
Okubala kubadde kulina okukomekerezebwa olunaku lw’enkya nga 6.
Akulira entekateka z’okubala abantu Francis Mashate agambye nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwabamu ku babala abantu okusaba bongezebweyo akadde okumaliririza ebitundu byabwe.
Mashate era agambye nti enkuba efudemba obutasalako ng’ekoseza ebitundu ebiwerako nayo ebaletedde okwongezayo okubala abantu.
Mu bitundu ebimu nga …
Nga enkuba ekyafudemba, gavumenti esazeewo okubala abo bonna abeesisigaliza ku mpaka.
Amakya galeero abakulira ekitongole ky’ebyemiwendo mu ggwanga bazinzeeko Ntinda nga bawerekerako ababala abantu oluvanyuma lw’abananyini maka 3 okugaana okubalibwa.
Bano babadde bagaddewo geeti zaabwe nga era okusinga bagwiira.
Omwogezi w’ekitongole kino Godfrey Nabongo agamba kati baakutambula n’ababala abantu okukola kwabo ab’emputtu.
Ate yyo Poliisi ye Mbarara eriko abantu…
Nga okubala abantu kukomekerezebwa olunaku olw’enkya, kkwo e Moyo kuyimiriziddwa okutuusa olunaku olw’enkya.
Kino kiddiridde ekibinja ky’abasudan okukwata SSentebe wa distulikiti eno nebamusaza ensalo okutuuka mu south Sudan gyakyakwatiddwa n’okutuusa essaaa eno .
Kati omubaka wa pulezidenti e Moyo John Abingwa agamba baasindise dda ekibinja ky’abakungu okuva wano mu ggwanga okwongera okuteeseganya ne poliisi ya South Sudan…
Gavumenti erabuddwa okwewalira ddala okutongoza abakulembeze b’ennono abataatongozebwa mu ssemateeka.
Bweyabadde ku mukolo gw’amatikira ga Ssabanyala Maj Baker Kimeze ag’omulundi ogw’omukaaga e Kayunga olunaku olw’eggulo,pulezidenti Museveni yatongozza obukulembeze bw’abanyala n’abaluuli bano nga bano kitundu ku Buganda.
Pulezidenti yategezezza nga bweyatuuka ku nzikiriganya ne Buganda kubanga y’akkiriza okubeerawo kwa Buluuli n’abanyala.
Kati amyuuka ssentebe w’akabondo k’ababaka ba Buganda Betty…
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala abakulu mu minisitule ekola ku by’enguudo banonyerezebweeko
Obuzibu buva ku nsimbi obusiriivu 20 obwassibwa mu kuzza obuggya entambula y’eggaali y’omukka
Basabye spiika okussaawo akakiiko akanonyereza ku bikolwa bya minisita John Byabagambi mu nteekateeka yonna.
Ababaka bawadde sipiika ennaku ssatu ng’ensonga eno agituusizza mu palamenti kubanga eggwanga lyakufiirwa ensimbi mpitirivu
Ababaka era batankana…
Embeera ezze mu nteeko mu katale ka Kisekka abasuubuzi gyebabadde batanudde okwekalakaasa.
Abasuubuzi bano bamaze akabanga nga beezoba ne poliisi gyebagamba nti ekutte munaabwe okutuuka aba militale bwebayitiddwa
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano ababadde bakumye ebipiira mu luguudo.
Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa kampala, James Ruhweza agamba nti poliisi yakusigala mu katale okulaba nti tewabaawo buzibu…
Olunaku olwalero abantu ababeera mu lubiri lwa Ssabasajja e Kireka babaliddwa mu kubala abantu okwekukungo okukomekerezabwa ku lw'omukaaga luno .
Okubala kuno kukulembeddwamu Margret Nakirya, okulira okubala abantu mu wakiso ngayambibwako ssentebe wa distrist ye wakiso Matia Lwanga Bwanika ne Mayor we Kira Mamerito Mugerwa.
Okusinzira ku Nakirya abantu abasangiddwa mu lubirwa lwa Ssabasaja mwemubadde ne maana…
Waliwo ekibinja ky’abannakatemba, n’abayimbi abeekalakaasizza, nga balaga obutali bumativu bwaabwe ku tteeka ku biyiiye by’obwongo erya Copy right.
Bagamba nti etteeka lino likyagaanye okussibwa mu nkola
Bano bagamba nti bazze beekubira enduulu eri gavumenti esse mu nkola etteeka lino naye nga buteere.
Kati bano nga bambadde biddugavu basitudde keesi y’abafu okwongera okulaga obutali bumativu bwaabwe.