Amawulire
Abalala bagaanye okubalibwa
Poliisi e Ssembabule eriko abantu abalala 3 bekutte nga bebamu ku kidiinidiini kya Injiri ekigaana okubala abantu. Abakwatiddwa kuliko Winfred Tumushabe, Jonathan Tuberuka ne Devine Katushabe . Bano baaganye okubalibwa nga beekwasa nga eddiini yaabwe bwetabakkiriza nga era okubalibwa kikolwa kya sitaani. Akulira eby’okubala e […]
Obusimbi butono obusindikibwa mu bitundu
Abamu ku bavuganya gavumenti bategezezza nga obutaba nabakozi bamala ku zi disitulikiti bwekikosezza enyo entambula y’emirimu. Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisiikirize , Roland Mugume ategezezza nga kimu kyakubiri ku zi disitulikiti eziri mu ggwanga bwezitalina bakozi balina buyigirize kuddukanya mirimu. Mugume kino akitadde […]
Emotoka eyabbibwa ku mukulembeze we Kenya esangiddwa Uganda
Emu ku mmotoka eziwerekera omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyata eyabibwa e Nairobi ezuuliddwa wano mu Uganda. Emmotoka eno yakika kya BMW nga era yabibwa wiiki ewedde. Akulira poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga Assan Kasingye agamba bagisanze esimbiddwa e Wandegeya nga era baliko abantu […]
Ebbago ku bisiyaga lyakukomezebwaayo
Kawefube w’okuzza etteeka eriwera ebisiyaga azzeemu buto Amyuka sipiika Jacob Olanya agamba nti afunye ekiwandiiko okuva eri omubaka David Bahati ng’ayagala kuzza bbago lino Etteeka eriwera ebisiyaga lyaali lyayisibwa kyokka kkooti n’erigoba ng’egamba nti ababaka abaliyisa baali tebawera Oulanya kati agamba nti bakutuula enkya ku […]
Enkuba etwaala abaana
Ng’enkuba ekyagenda mu maaso n’okutonnya, abazadde bajjukiziddwa ku kubeera ab’obuvunaanyizibwa okwewala abaana okubafaako mu nkuba Kiddiridde amataba okutwala abaana babiri mu bitundu bye Bwaise ne Kabalagala. Amyuka akulira abaziinya mooto, Hassan Kihanda agamba nti abazadde basaanye obutajja maaso ku baana baabwe nga bazannyira mu mazzi. […]
Bokoharam yeeyongedde amaanyi
Ab’akabinja ka Bokoharam bawambye ekibuga kye Bama oluvanyuma lw’okulwanagana okwa maanyi n’amaggye ga gavumenti Enkumi n’enkumi z’abantu ba bulijjo badduse dda ekibambulira nga bweguli ne ku bajaasi Amaggye mu butongole tegannabaako kyeganyega nga kino kyekiddirira ekya Borno obunene okuwambibwa aba Bokoharam
Abalwanirira eddmebe ly’abaana sibamativu
Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana. Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza. Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku […]
Munonyereze ku byaapa
Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala okunonyereza kutandike ku byaapa by’ettaka ly’amasomero wano mu Kampala. Ababaka bano bali mu kuteesa ku nsonga ezikosa ebyenjigiriza wano mu Kampala nga era bagamba kisaanidde kubanga kikosa n’abayizi buterevu. Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa Kalungu y’obugwanjuba bwa Joseph Sewungu […]
Mutunde emigabo gyemwagula mu UMEME- abakozi batabuse
Ekibiina ekitaba abakozi ekya central organization of free trade unions kikaladde nga kakano kyagala ekitavvu ky’abakozi NSSF kitunde emigabo gyona gyekyagula mu kkitongole kya UMEME awataali lukussa Akuklira ekkibiina kino Peninah Tikamwesiga agambye nti amakubo agaayitwamu okuggula emigabo gino nga tebeebuzizza kubakozi makyamu, kale nga […]
Abakinjaaji e Lyantonde beediimye
Abakinjaagi ba lufula enkulu e Lyantonde bavudde mu mbeera nebeekalakaasa lw’abatwala ekibuga kino okwongeza ensimbi ezibajibwako buli nsolo esalibwa. Bano bagaanye okusala ekisolo kyonna nga era abaguzi b’enyama bakonkomaliridde ku zi Bucha. Bano bemulugunya nti tebeebuuzibwako nga aba Tawuni kanso bongeza ssente zino nga kati […]