Abamu ku bavuganya gavumenti bategezezza nga obutaba nabakozi bamala ku zi disitulikiti bwekikosezza enyo entambula y’emirimu.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisiikirize , Roland Mugume ategezezza nga kimu kyakubiri ku zi disitulikiti eziri mu ggwanga bwezitalina bakozi balina buyigirize kuddukanya mirimu.
Mugume kino akitadde ku busente obutono obusasulwa abakozi nga abasinga beebalama emirimu gyino.
Agamba yadde nga…
Emu ku mmotoka eziwerekera omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyata eyabibwa e Nairobi ezuuliddwa wano mu Uganda.
Emmotoka eno yakika kya BMW nga era yabibwa wiiki ewedde.
Akulira poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga Assan Kasingye agamba bagisanze esimbiddwa e Wandegeya nga era baliko abantu bebakutte.
Ategezezza nga bwebali mu nteekateeka z’okugizza e Kenya.
Kawefube w’okuzza etteeka eriwera ebisiyaga azzeemu buto
Amyuka sipiika Jacob Olanya agamba nti afunye ekiwandiiko okuva eri omubaka David Bahati ng’ayagala kuzza bbago lino
Etteeka eriwera ebisiyaga lyaali lyayisibwa kyokka kkooti n’erigoba ng’egamba nti ababaka abaliyisa baali tebawera
Oulanya kati agamba nti bakutuula enkya ku makya n’olweggulo okulaba engeri y’okwanguyaamu ebintu
Ng’enkuba ekyagenda mu maaso n’okutonnya, abazadde bajjukiziddwa ku kubeera ab’obuvunaanyizibwa okwewala abaana okubafaako mu nkuba
Kiddiridde amataba okutwala abaana babiri mu bitundu bye Bwaise ne Kabalagala.
Amyuka akulira abaziinya mooto, Hassan Kihanda agamba nti abazadde basaanye obutajja maaso ku baana baabwe nga bazannyira mu mazzi.
Kihanda agamba nti omulimu gwaabwe okuddukirira, naye abazadde bagayaliridde nnyo abaana.
Ab’akabinja ka Bokoharam bawambye ekibuga kye Bama oluvanyuma lw’okulwanagana okwa maanyi n’amaggye ga gavumenti
Enkumi n’enkumi z’abantu ba bulijjo badduse dda ekibambulira nga bweguli ne ku bajaasi
Amaggye mu butongole tegannabaako kyeganyega nga kino kyekiddirira ekya Borno obunene okuwambibwa aba Bokoharam
Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana.
Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza.
Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku bantu 408 abaakukusibwa okutwalibwa ebweru w’eggwanga bwebaali abaana.
Agamba ekizibu ky’okukukusa abaana bwekiri…
Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala okunonyereza kutandike ku byaapa by’ettaka ly’amasomero wano mu Kampala.
Ababaka bano bali mu kuteesa ku nsonga ezikosa ebyenjigiriza wano mu Kampala nga era bagamba kisaanidde kubanga kikosa n’abayizi buterevu.
Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa Kalungu y’obugwanjuba bwa Joseph Sewungu asabye KCCA okwanja ebyaapa by’amasomero gonna agali wansi waayo byebalina.
Sewungu era ayagala…
Ekibiina ekitaba abakozi ekya central organization of free trade unions kikaladde nga kakano kyagala ekitavvu ky’abakozi NSSF kitunde emigabo gyona gyekyagula mu kkitongole kya UMEME awataali lukussa
Akuklira ekkibiina kino Peninah Tikamwesiga agambye nti amakubo agaayitwamu okuggula emigabo gino nga tebeebuzizza kubakozi makyamu, kale nga buli ekyagenda mu maaso kisaana kikome kati
Kakati ono takomye awo wabula…
Abakinjaagi ba lufula enkulu e Lyantonde bavudde mu mbeera nebeekalakaasa lw’abatwala ekibuga kino okwongeza ensimbi ezibajibwako buli nsolo esalibwa.
Bano bagaanye okusala ekisolo kyonna nga era abaguzi b’enyama bakonkomaliridde ku zi Bucha.
Bano bemulugunya nti tebeebuuzibwako nga aba Tawuni kanso bongeza ssente zino nga kati buli nte esalibwa ejibwako 2000 okuva ku 1000 sso buli mbuzi kati…
Eby’amancoolo mu kuzimba oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi bikyalanda.
Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’okuzimba kaabuse mpaawo kituukiddwako oluvanyuma lwa minisita avunanyizibwa ku by'enguudo Abraham Byandala obutaba nabiwandiiko biraga engeri obuwumbi 24 gyebwaweebwayo eri abafere abeefuula aba kampuini enkozi y’enguudo okuva mu Amerika.
Omubaka wa Nakifuma, Eng Sekitoleeko Kafeero y’aleese ekiteeso okuggalawo enteeganya zino okutuusa…