Amawulire
Amagye ga AMISOM gawambye ebibuga 3
Mu Somalia amagye ga AMISOM gawambye ebibuga bisatu, nga bino bibadde bikajjademu bayeekera ba Al-shabaab. Akolanga omubaka ow’enjawulo ow’akakiiko ka Africa mu Somalia omukyala Lydia Wanayoto, agambye nti ebibuga ebiwambidwa kuliko ekya Bulo Barer ,Goolweyn ne Jerlio. Bino okuwambibwa kidiridde ekikwekweto ekya Operation Indian Ocean […]
Abasosola abalema bubakeeredde
Minisita omubeezi akola ku kikula ky’abantu kko n’ebyobuwangwa Hajjati Rukia Nakadama, azeemu okukunga banna-Uganda bonna okukomya okusosola abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe nadala abalema. Minisita agambye nti ebiseera ebisinga okusosola abantu nga bano kuviira dala waka, mumasomero pakka mubantu babulijjo. Ono kaakano akaladde, nategeeza […]
Akakiiko ka takisi kalondeddwa
Kyadaaki ekitongole kya KCCA kko n’abavuzi ba taxi mu Kampala, batandise okuteeka munkola ebyasalibwawo mu lukiiko olw’amalawo okwekalakaasa sabiiti ewedde. Kinajukirwa nti bano baasalawo okutondawo olukiiko lw’abantu 20, nga luliko ababaka okuvva kunjuyi zonna , nga luno lwelugenda okutegeka okulonda mu banga lya myezi gumu gwokka. […]
Katikkiro asibyeemu ebyanguwa-Bagaala kunzita
Katikkiro w’eggwanga lya Lesitu addukidde mu ggwanga lya South Africa ng’agamba nti obulamu bwe buli mu matigga Thomas Thabane agambye nti agudde mu lukwe lw’amaggye okumumaza emmere era nga tajja kuddayo okutuusa ng’akakasizza nti obulabe bwe tebuli mu buzibu Amawulire agava mu Lesitu galaga nti […]
Kaliisoliiso yeebale naye tekimatiza- Abalwanyisa enguzi
Kaliisoliiso wa gavumenti omukyala Irene Mulyagonja agamba nti olutalo ku nguzi terusaanye kuyingizibwaamu byabufuzi Ng’awayaamu ne Dembe FM, Mulyagonja agambye nti wofiisi ye ye nnetegefu okunonyereza ku buli kika kya nguzi awatali kittira Muntu ku liiso kyokka nga tatuukirira Agambye nti abantu bangi bamala googera […]
Omu afiiridde mu kabenje- 25 balumiziddwa
Omuntu omu yafudde n’abalala 25 nebalumizibwa mu bubenje bubiri obwenjawulo mu ggwanga lya South Sudan Aduumira poliisi mu bukiikakkono bw’eggwanga Wislon Kwanya agamba nti akabenje akasoose kabadde mu kifo ekimanyiddwa nga Golden Hill kilomita nga 15 okuva e Nimule Kano keetabiddwaamu baasi ba Baby coach […]
Okubala- abadde abala akubiddwa, abalala bakwatiddwa
Poliisi e Bukomansimbi ekutte omusajja akubye omu ku babala abantu lwa kwogera na mukyala we Vincent Dumba y’alumbye Sulaiman Ssezibwa. SSezzibwa agamba nti Dumba amusanze ayogera ne mukyala we ng’amubuuza ebibuuzo wano n’atandikidde okuyomba n’okumubuuza lwaki abadde abala abantu be. Amulagidde okuyuza by’abadde awandiise n’agaana […]
Akabenje ka baasi akalala- Omwana afudde
Baasi ya safari coaches esabaadde abayizi ba Kasasa sss ababadde bakuba bandi. Abayizi bano babadde ku bikujjuko bya poliisi eby’okuweza emyaka 100 . Akabenje kano kabadde mu kitundu kye Bajja nga dereeva wa baasi eno amaze okukwatibwa Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bwa Buganda Noah […]
Eggaali y’omukka- ababaka banonyereza
Abamu ku babaka mu palamenti batonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nsimbi ezissiddwa mu kuzza obujja entambula yeggaali y’omukka Ku lw’okusatu, gavumenti yassa emikono ku ndagaano ne kkampuni yaba china eya China Harbour Engineering Company okukola ku ggaali y’omukka okuva e Malaba okutuuka e Kampala nga […]
Ebuuse okuva ku kizimbe waggulu
Ebadde ntiisa ku ddwaliro e Mulago omusajja bw’abuuse okuva mu mwaliro gw’okuna ng’ayagala okwetta Kiddiridde omusajja ono okutegeezebwa nti alina obulwadde bwa mukenenya David Kinobe nga aweza egy’obukulu 32 muvuzi wa Boda Boda e Mulago. Obuzibu nti omusajja ono amenyese magulu , tafudde Mwanyina w’omusajja […]