Amawulire

Ssemateeka was basiraamu wa kukyuusibwa

Ssemateeka was basiraamu wa kukyuusibwa

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

Abakulembeze b’abayisiramu batandise kawefube owokukyusa mu Ssemateeka afuga ediini y’obuyisiramu. Kino kidiridde akakiiko akakulira Prof, Tasis Kabwegyere akatekebwawo okutawuluza enkayana mu basiramu okulagira okukola ssemateeka omujja okulambika ediini y’obusiramu. Amyuka supreme Mufti we Kibuli Sheikh Muhamound Kibaate agambye nti ebiwali byombi ekye Kibuli ne Old […]

Bukenya awolereza minister Byandala

Bukenya awolereza minister Byandala

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agambye nti wandiba ngawaliwo obusosoze mu kusika omuguwa okuli mu ministry y’ebyenguudo. Kino kidiridde minister w’ebyentabula n’eguudo Abraham Byandala okulumiriza gweyadira mu bigere Eng John Nasasira okumulima empindi ku mabega, ngamulumiriza okugaba contract ya buwimbi 24 okukola oluguudo […]

Ab’ e Kibuli bekalakasiza lwa mataba

Ab’ e Kibuli bekalakasiza lwa mataba

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

Abatuuze mu zone ye Kanakulya wano e Kibuli mu kibuga Kampala bavudde mu mbeera nebekalakasa lw’amazzi kubayingirira mu nyumba. Kino kidiridde amazzi okuyingira mu mayumba gaabwe mu oluvanyuma lw’enkuba etonye olwalero. Abatuuze balumiriza aba china abazimba oluguudo lwe Kibuli okuziba emifulejje gy’amazzi.

Embeera ezze mu nteeko e Bwebajja

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

  Kyaddaaki  e Bwebajja abantu batandisse okudda mu maka gaabwe. Kino  kidiridde ekibinja ky’abatamanyangamba okulumba  nebatematema abantu ku byalo bibiri okuli Bwebajja ne Dewe wiiki ewedde. Kinajukirwa nti  abanyazi abaalina     n’amajambiya baalumba ebyalo bino nebatematema abantu abasukka mu 30, era nga mukaseera kano omuntu omu […]

Omubaka asibiddwa lwa bbanja

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

Omubaka omukyala owe Gomba, Nakato Katusiime asindikiddwa mu kkomera yeebake yo emyeezi mukaaga lwakulya bbanja n’atasasula Katusiime  abanjibwa obukadde kinaana ng’abamubanja ba kkampuni ya Kenroy investments abamuwola ensimbi zino mu mwaka gwa 2011. Omuwandiisi wa kkooti, Irene Akankwasa y’amusindise e Luzira oluvanyuma lw’omubaka ono okumubanja […]

Poliisi eyimbudde aba Taxi

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

Poliisi eyimbudde abantu bonna abakwatiddwa mu kwekalakaasa kwa ba taxi okwabaddewo olunaku lwajjo Bino byebimu ku byakanyiziddwaako mu kafubo akaavuddeko aba taxi okusazaamu akeediimo kaabwe Abantu bano abasoba mu 40 bonna bayimbuddwa  nga babadde baggaliddwa ku CPS, Kabalagala, ne Old Kampala Atwala poliisi ya CPS, […]

abagenda okubala abantu beediimye

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

Abatendekedwa okubala abantu Mubende town council bavude mumbeera nebekalakaasa nga   bawakanya ensimbi entono ezibadde ziragidwa mundagaano ezibaweredwa. Kino kidiridde bano okubategeeza nga bwebabadde balina okuweebwa emitwalo 20 ng’omusaala  kyoka nga zino zakujibwako omusolo, n’okubanga bakuweebwa 3000 zokka buli lunaku nga kwekuli ekyemisana nentambula saako ne […]

Okulya enguzi kukyaali kungi- poliisi eremeddeko ku ntikko

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

Alipoota efulumiziddwa kaliisoliiso wa gavumenti eraga abantu bongera bwongezi okulya enguzi Guno mulundi gwa kuna nga alipoota eno efuluma ng’eyolese era ensonga yeemu nti aba poliisi bakyakwata kisooka mu kulya enguzi Ekitongole ekiramuzi kyekiddako awo ate nga bannaddiini beebasinga obutalya nguzi Ng’afulumya alipoota eno, kaliisoliiso […]

Akeediimo ka Taxi kayimiriziddwa- KCCA egonze

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Abagoba ba Taxi bayimirizza akeediimo kaabwe. Kiddiridde okutuuka ku kukkaanya ne KCCA kko ne poliisi nti akakiiko keebemulugunyaako aka TAPSCOM kayimirizibwe. Omwogezi wa ba Dereeva Mustapha Mayambala agambye nti bagenda kutuusa amawulire ku ba dereeva bonna okudda ku mirimu Aba Taxi bakedde kwediima era ku […]

Nandos ne Mateos bigguddwaawo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bakkirizza okuggulawo Mateos ne Nandos. Aba Mateos ne Nandos bakkirizza okusasula ebbanja mu misolo egibabanjibwa Mateos bajibanja obukadde 150 ate Nandos bagibanja obukadde 250. Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya