Amawulire
Emizimu gitabukidde abazimba oluguudo
Aba China abagenze okusengula amaalo kibaweddeko emizimu bwegitisse bannanyini ttaka negirayira obutasengulwa Bino bibadde Nakigalala Kajjansi ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA gyebali mu kukola oluguudo lwa Express highway. Emizimu giremesezza aba tulakita abazze okusenda okukkana ng’ebyooto bikumiddwa okugikkakkanya era nga tewali kusenda kugenze mu maaso. Bannayini […]
Ow’emyaka 14 asingisiddw aogw’ettemu
Omuvubuka ow’emyaka 14 yoomu kw’abo 5 abasingisiddwa omusango gw’okutemula mukama waabwe. Josephine Nalwadde yattibwa mu mwaka gwa 2012 mu bitundu bye Kamengo Mpigi. Abasingisiddwa omusango kuliko Jerevasio Kabagambe, John Muhigo, Jackson Kivumbi, John Musisi ne David Mwanje ow’emyaka 14. Mu nsalawo ye,Omulamuzi Jane Alividza agambye […]
Ensimbi z’ababala abantu zongezeddwa
Ab’ekitongole ekikola ku by’okubala abantu bagonze nebongeza ku bagenda okubala abantu ensimbi Kiddiridde abatendekebwa okubala abantu e Kawempe okuva mu mbeera nebeekalakaasa ssabbiiti ewedde nga bagamba nti enkumi essatu ezibaweebwa olunaku ntono nnyo Bano kati bakusasulwa shs 5000 ate bwebanamala okutendekebwa olunaku lw’enkya basasulwe enkumi […]
Nandos ne Mateos biggaddwa lwa misolo
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigadde ebbaala ya Mateos ne Nandos lwa misolo Mateos bagibanja obukadde 150 ate Nandos ebangibanja obukadde 250. Omwogezi w’ekitongole kino, Allan Sempebwa agamba nti baludde nga babanja abaddukanya ebifo bino kyokka nga tebenyeenya Sempebwa wabula agamba nti oluvanyuma lw’okuggalawo […]
Ebola atuuse Congo
Ab’ebyobulamu mu ggwanga lya Congo bakakasizza nga ekirwadde kya Ebola byekilumbye eggwanga lyaabwe. Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lino Felix Numbi akakasizza nga abantu 2 bwebazuuliddwa nga balina Ebola ono mu ssaza lye Equateur oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okutandika okufa mu ngeri etategeerekeka. Wabula ab’ebyobulamu bagamba ebola […]
Ttiyagaasi e Masaka
Poliisi e Masaka ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu kabuga k’ekidda abakedde okwekalakaasa lwakumala bbanga nga tebalina masanyalaze. Bano batadde emisanvu mu makubo gonna agayunga ku tawuni y’emasaka nga era bagookyerezzamu ebipiira. Abatuuze bano bagamba baakamala ennaku 4 mu kibululu bukyanga aba UMEME batwala tulansifooma […]
Laddu esse omwana
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Lusalira mu gombolola ye Banda Mityana Laddu bw’ekubye omwana w’essomero lya Kizito S.S n’afiirawo Omugenzi ye Joseph Walusimbi ng’abadde asoma siniya esooka era nga laddu okumukuba emusanze mu kazigo mw’abadde asula ne munne ategerekeseeko erya Julius. Laddu eno eggyidde mu […]
aba Taxi beedimye- abantu batambuzza bigere
Bannakampala amakya galeero bakedde kutambuza bigere oluvanyuma lw’abamu ku basaabaza abantu wano mu kampala okuteekawansi ebikola wansi ebikola nga bwebasuubiza. Akeediimo kano kalese abantu abawerako bakonkomaliridde ku nguudo awatali abatwaalako. Abagoba b’ebidduka bino nga begatira mu kibiina kyaabwe ekya National Union of Drivers, Cyclists and […]
Abatuuze be Namayingo baakubalibwa
E Namayingo kyadaaki abakungu okuvva mu uganda ne Kenya bakiriziganyizza ku ky’okubala abantu ababeera ku kazinga ke migingo, akaludde nga kaliko enkaayana. Bino okutuukibwako kidiridde ensisinkano wakati w’omubaka wa president mu district ye Namayingo Mpimbaza Ashaka kkone nemunne gwebafanaanya emirimo mu district ye Nyapike […]
Tetulaba ku muntu eyekalakaasa- Poliisi
Poliisi erabudde abagoba b’ebidduka obutetantala kutegeka kwekalakaasa ku monday eya wiiki ejja. Abagoba aba Taxi, boda Boda, wamu ne Loole balangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka nga KCCA ku bidduka. Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti akeediimo kano tekannaba kukkirizibwa […]