Amawulire
Katikkiro mutaka e Bungereza
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka mu ggwanga lya Bungereza okwongera okusonda ettoffaali okuzimba Obuganda. Katikkiro wakwetaba mu mikolo egitegekeddwa abaganda ababeera eno eginabeeera wo olunaku olwenkya ku Makya . Olw’eggulo ate Katikkiro wakugendako mu muzannyo gwa ba Ebonies ogutegekeddwa mu mu ggwanga eryo […]
Abasabaaza abantu betemyeemu ku keediimo
Abamu ku bagoba b’ebidduka mu kibuga bawakanyizza ekya banaabwe okwekalakaasa ku bbalaza eya wiiki ejja. Abagoba ba taxi, loole , ne boda boda abeegattira mu kibiina ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied workers abalangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka amakakali ku bidduka agateekebwawo KCCA. […]
Teri kuddamu Kukkiriza babaka kwewola
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga, atabukidde ababaka ba palamenti ababadde bagufudde omuze okwewola ensimbi mu bank ez’enjawulo. Sipiika ategeezezza nga palamenti bw’etagenda kuddamu kweyimirira mubaka yenna ayagala okwewola ensimbi mu kisanja kino. Kadaga agambye nti ababaka bonna abaagala okwewola tebagenda kukkirizibwa kusinga yo musaala […]
Obuzigu mu kampala- Abazigu babakutte
Poliisi e Kabalagala ekutte omu ku batujju abaabadde batigomya ab’omu bitundu bino Isa Okello yakwatiddwa ng’agezaako okunyagulula ekirabo ky’emmere ekimanyiddwa nga Abeneti ekisangibwa e Kabalagala Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusajja ono basuubira nti yoomu ku kibondo ky’ababbi abatigomya ababeera […]
Akatimba k’ensiri kabikka ndokwa za bitooke
Waliwo omukyala akwatiddwa ng’akozesa akatimba k’ensiri akakamuweebwa okubikka endokwa z’ebitooke Rita Kalungi mutuuze we Nabweru ku njegoyego z’ekibuga kampala. Kalungi tasaaga abadde akatimba akeetolozza ku nnimiro y’endokwa z’ebitooke ng’azitaasa ku mbuzi ezitera okuzirya Atwala poliisi ye Nabweru, Juliet Akuru agamba nti omukyala ono agenda kuggulwaako […]
Abadde abba omwana akwatiddwa
Poliisi e Masaka ekutte omukyala ow’emyaka 33 ng’abba omwana omuwere mu ddwaliro Prossy Namugera nga mutuuze we Kayirikiti Nyendo akwatiddwa luno ne bbebi omulenzi ng’ono abadde wa Christine Nakintu Nakintu webamubbiddeko omwana abadde yeebase nga tawulira omukyala ono n’asitula omwana okuva ku kitanda kw’abadde Wabula […]
Akabenje ka Baasi akalala- 12 balumiziddwa
Abantu 12 beebasumattuse akabenje ku luguudo oluva e Gulu okudda e Atiak Baasi ebadde ekubyeeko abantu number UAU 708 B eremeredde omugoba waayo neyefuula Baasi eno eya Friendship Buses ebadde n’abasaabaze 35 kyokka nga 12 beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Dereeva wa baasi ono […]
Omusumba Yiga awaabiddwa lwabutalabirira mwana
Waliwo omukyala akubye omusumba Augustine Yiga abizzaayo mu kkooti lwakumuzaalamu mwana n’amusuulawo n’omwana we Brenda Nalubega alina omwana wa myaka mukaaga era nga we wetwogerera yagobeddwa mu nyumba. Omukyala ono amakanda kati yagasimbye ku kkanisa eya Christ the Lord esangibwa e Mpererwe nga gy’asula Omulamuzi […]
Asazeeko ssenga we omutwe
Poliisi e Luweero ekutte omusajja akkidde senga we n’amusalako omutwe ng’entabwe yonna byabugagga Henry Kasibante omutuuze we Kiwogozi e Kasana yakozesezza ejjambiya okutta ssenga we n’omulambo n’agusuula mu kabuyonjo Abatuuze bagamba nti omuvubuka ono aludde ng’alina obutakkaanya ne senga we nga balwana ettaka eryalyakebwa taata […]
Ebola ayingiddemu ttiyagaasi
Olutalo ku bulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Liberia luyingiddemu ttiyagaasi nga poliisi ewaliriziddwa okusattulula abantu ababadde beekalakaasa nga bawakanya eby’okussaawo envumbo ku bantu okumala gatambula. Bino bibadde mu nzigotta mu bugwanuba bw’ekibuga Monrovia, ekikulu ekya Liberia Abantu bana beebalumiziddwa mu kavuvungano kano Liberia yeeyakasinga […]