Amawulire
omusajja eyatta mukyala we akwatiddwa
Omusajja agambibwa okutta mukyala we mu kampala omwaka oguwedde bamukwatidde Kenya Moses Muhangi yadduka oluvanyuma lw’okutta Josephine Nambogo. Muhangi omukyala gweyatta ye maama w’abaana be babiri era nga yamulumba mu maka ga bakadde be e Namasuba gyeyali yanobera Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Assan […]
Amaggye tegajja kwezza NAADS- Salim Saleh
Amaggye g’eggwanga gawakanyizza eby’okwezza enteekateeka za NAADS Ng’afulumya abajaasi 63 abatendekeddwa mu byobulimu, akulira enteekateek y’okugaggawaza abantu Gen Salim Saleh agamby enti bagenda kuyambako mu kulondoola sso ssi kwezza bintu Saleha gambye nti era amaggye gaakukola ku by’obutale, okukola ku nteekateek z’okukungula entuufu n’ebirala naddala […]
Ogwa Lukwago gwa lwakuna
Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga kyaddaaki ataddewo olunaku kw’enasalirawo eggoye ku nsonga za loodimeeya Erias Lukwago Kino kigenda kubaawo nga 21st omwezi gw’omunaana lwe lunaku lw’okuna ku ssaawa nnya ez’oku makya Mu mwezi gw’okuna, kkooti eno yamaliriza okuwulira okwemulugunya kwa Lukwago mw’ayita okusaba nti kkooti eyise […]
Bukenya yeegaanye okufuna akasiimo
Eyali omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya yegaaye eby’okufuna akasiimo ke ak’obukadde 500 okuva eri gavumenti. Kino kiddiridde minisitule y’abakozi gyebuvuddeko okutegeeza nga ono bwebamusasula okujjako enyumba n’emmotoka byebatannakolako. Bukenya yemulugunya nga yye eyali omukulembeze w’eggwanga gavumenti bwemuyisaamu amaaso nga tafuna kasiimo ke sso nga […]
Teri kusabaaza bantu ku bbalaza- ab’ebidduka baweze
Abasaabaze abantu wano mu Kampala basazeewo okuteeka wansi ebikola okutandika ku mande ya wiiki ejja. Bano kuliko abavuzi ba taxi, abagoba ba bodaboda, abasipesula abavuga biloole n’abalala. Bano bemulugunya nga akakiiko akatekebwawo aba KCCA bwekabayisa nga eky’okuttale. Enzikiriziganya eno etuukiddwa mu lukungaana olukubiddwa wali e […]
Sk Mbuga assiddwaako envumbo
Ekitongole ekiwooza kitadde envumbo ku mugagga omuto Suleiman Mbuga banji gwebamanyi nga SK Mbuga obutava mu ggwanga lwabbanja. Ono avunanibwa kwebalama musolo gwabukadde obusoba mu 200. Omukunganya w’amabanja mu kitongole kino Abdul Salaam Waiswa agamba ono basazeewo okumuteekako envumbo lwakukitegeerako nti abadde ayagala kufuluma ggwanga. […]
Amaduuka gagguddwa
Kyaddaaki abasuubuzi ku akeedi 3 okuli galilaaya, gazaland ne corner Arcade nebaggulawo amaduuka gaabwe Abaduubuzi bano beediimye olunaku lwajjo lwonna nga bawakanya eky’okwongezebwa ensimbi z’obupangisa n’ebisale bya kabuyonjo ebiri waggulu Abakulu bano teboogedde lwaki bazzeemu okukola kyokka nga tukitegeddeko nti naggagga Tom Kitandwe yeeganye okwongeza […]
Emikolo gye Imbalu gitandise
Emikolo gy’okusala embalu mu disitulikiti y’e Mbale giri mu ggiya nene. Olunaku olwaleero abagishu lwebatongoza omwaka gw’okusala embalu mu kisaawe kye Mitoto nga n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okugwetabako. Kati omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Shaban kashimate agamba eby’okwerinda biri ggulugulu. Omulenzi okufuuka […]
Omu Nigeria talina Ebola
Omukazi enzaalwa ya Nigeria eyabadde asuubirizibwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola kizuuliddwa nti musujja gwansiri gwegwabadde gumuluma. Omukazi ono y’abadde asesema , nga alumwa omutwe n’obubonero obulala abalina Ebola bwebabeera nabwo. Akulira guno naguli mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Jane Acheng agamba ono wakuna ku babadde bateeberezebwa okubeera […]
Akabenje e Nakasongola- Musanvu bafu
Abantu musanvu beebakakasibwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde e Nakasongola. Baasi bbiri sikonaganye e Nakasongola ng’otuuka e Saasira nga kwekuli eya Gaga UAU 975H ebadde eva e Kampala ng’ekonaganye n’endala KK coach number UAM 104H ebadde edda Paidha. Mu bafudde kwekubadde dereeva wa baasi […]