Amawulire
Gavumenti eremereddwa okukuuma ebibira
Ebibiina by’obwanakyewa biraze okutya olwa gavumenti okulemererwa okukuuma ebibira mu ggwanga. Bano bagamba nti kati yiika z’ebibira ezisoba mu mu mitwalo 9 zezimaze okusanyizibwawo. Akulira ekibiina kya livelihood and environment Gaster Kiyingi agambye nti gavumenti ekyalemeddwa okuteeka ensmbi ezimala mu kitongole ky’ebibiira, okusobala okulwanyisa […]
Ssabasajja akunze obuganda ku bumu n’obulimi
SSabasajja Kabaka akunze abaganda okubeera obumu mu kutuukiriza ebiruubirirwa bya Buganda. Omutanda asiimye enteekateeka za Kamalabyonna n’ajjukiza abantu ku kalungi akali mu bulimi. Asabye buli omu okufuba okulaba nti ebissibwa mu mbalirira ya Buganda tebikoma mu biwandiiko wabula bissibwe mu nkola. Ssabasajja abadde aggulawo lukiiko […]
Enkoko zisoba mu 100 zifudde
Abatuuze b’eKabagoma mu disitulikiti ye Ibanda beralikirivu ku kirwadde ekisse ebinyonyi ebisoba mu 1000. Ssentebe wa Lc ya Ndoragi, Samson Bukiriro agamba ekirwadde kino ekitwaliddemu n’enkoko kisooka kukenenula binyonyi bino minyira n’oluvanyuma nebikotyonkoka ekivaamu okufa. Bukiriro agamba kyannaku okuba nti ate abinyonyi ebifu biweereddwa embizzi […]
Abasuubuzi baggadde amaduuka
Abasuubuzi ku bizimbe bisatu basazeewo okuggala amaduuka gaabwe ng’obuzibu za bupangisa. Ebizmbe ebyogerwaako kuliko Corner aracade, Galiraaya ne Gazaland. Bagamba nti kyabawedde okufuna amawulire ng’ensimbi z’obupangisa zongezeddwa ate mu ngeri yekibwatuukira nga tebalabuddwa Bano bagamba nti n’embeera ebizimbe gyebirimu ssi ye eryaawo eseeza omuntu kubanga […]
Ssabasajja anaalabikako eri Obuganda
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 olunaku essaawa yonna asuubirwa okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 21. Beene asuubirwa okwanja ebirubirirwa by’obwakabaka eby’omwaka gw’ebyensimbi ogujja okusinziira ku mbalirira eyayisibwa. Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya agamba baakuteesa ne wwa Buganda wetuuse mu kuzzawo amasiro […]
emitwalo 10 beebafunye emirimu mu kwewandiisa
Abantu abasoba mu mitwalo 10 beebafunye emirimu mu kitundu ekisoose eky’okuwandiika abantu, okufuna endagamuntu. Wabula minister Aronda Nyakairima agambye nti emirimu gyigenda kukendera mu kitundu ekyokubiri. Aronda agambye nti okuwandiika abantu ekitundu ekisoose kutambudde bulungi era n’eyebaza emikutu gy’amawulire, banabwabufuzi wamu ne bana diini. Mungeri […]
Oluguudo lwe Katosi Mukono lubizadde
Olukiiko lw’eggwanga olukulu lusabiddwa okuyita minister w’ebyentabula Ibraham Byandala anyonyole ku mivulo egyetobese mu kukola oluguudo oluva e Mukono okuda e Katosi. Kino kiddiridde amawulire okulumiriza Byandala okulagira ekitongole ky’ebyenguudo okuwa contract ya Buwumbi 24 eri Kampuni ya EUTAW okukola oluguudo luno. Ssabawandiisi w’ekitongole kya […]
Aba NSSF batuuyanye
Abakulu okuva mu kitongole ekitereka ensimbi z’abakozi bibakalidde ku matama bwebatuuse okunyonyola engeri muwala wa kaliisoliiso wa gavumenti gyeyafunamu omulimu mu kitongole kino. Abakulu bano ababadde bakulembeddwaamu abakulira Geraldine Ssali babadde balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno oluvanyuma lw’okwemulugunya kw’ababaka. Mps including Joseph […]
Muve ku ttaka lya Buganda
Akakiiko ka Buganda akakola ku by’ettaka kalabudde abantu abesomye okwesenza n’okutunda ettaka ly’obwakabaka. Akulira akakiiko kano , Kyewalabye okulabula kuno akukoledde mu kuggulawo ofiisi z’akakiiko kano ku ssaza mu disitulikiti ye Mukono era nategeeza nga obwakabaka bwebutajja kulonzalonza kugoba Muntu yenna eyesenza ku ttaka lino […]
abasibe tebalina yunifoomu
Kizuuliddwa nga abasibe abasoba mu 4000 bwebatalina yunifoomu. yye akulira ekitongole ky’ebyamakomera Johnson Byabashaija kino akitadde ku butaba nansimbi zimala. Agamba olwobutaba na nsimbi zino, buli musibe bamuwa peya ya yunifoomu emu n’abakozi bwebatyo. Wabula agamba nti kati embeera eno eri kalekaleko okusinga nga bwegwaali […]