Amawulire

Wafula Oguttu agaanye okwaatula abalya enguzi

Ali Mivule

August 13th, 2014

No comments

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agaanye eby’okusindikirizibwa okwatula amanya g’ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti abagambibwa okulya enguzi okuva eri gavumenti. Wiki ewedde Oguttu aliko ababaka 18 beyalumiriza okulya obukadde 110 okusasula amabanja gaabwe. Oguttu agamba abo bonna abamuteeka ku ninga okwasanguza amanya beebo […]

Kkooti eyimirizza okusengula aba leerwe

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Kkooti eyimirizza eby’okusengula abantu abasenga ku ttaka ly’oluguudo lw’eggaali y’omukka Amyuka omuwandiisi wa kkooti ye Nakawa, Flavia Nassuuna y’alagidde KCCA obutaddamu kusengula bantu bano okutuusa ng’okwemulugunya kwaabwe kukoleddwaako Kkooti egambye nti okutuusa nga kitegerekese ani nnanyini ttaka omutuufu, buli kimu kigira kiyimirira Nasuuna agambye nti […]

Nsibambi emmotoka avuga neyazike

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Palamenti ekitegedde olwaleero nti eyali ssabaminista Apollo Nsibambi emmotoka gy’avuga nneyazike Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, Prof Nsibambi agambye nti n’ensimbi z’alina okufuna ez’okugula enyumba tazirabangako. Wabula ono agambye nti musanyufu nti afuna obukadde 3.8 buli mwezi ez’akasiimo, amafuta, eddwaliro n’ebirala […]

Enkuba egoyezza bannakampala- Laddu esse omu

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Enkuba etonnye olw’eggulo lwa leero erese mangi bafumbya miyaga mu kibuga kampala ne mu bitundu by’eggwanga ebirala Abasinze okukosebwa beebakozesa enkulungo ya Clock Tower nga bano bazifungizza okusala. Ababadde bagenda ku USAFI bbo batubidde nga tebasobola kutambula. Wano mu Kampala ekire ky’enkuba akitonye mutuntu lya […]

Endagamuntu- enkalala zikyaali mpanvu

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Abantu olwaleero bagenze mu maaso n’okwewandiisa okufuna endaga Muntu E Katanga enkalala zibadde mpanvu ddala kyokka nga tekirobedde bantu kuguma Wano twogeddeko n’abant ku kyabagaana okwewandiisa emyezi ena emabega nebazuukuka nga nsalessale aweddeko Yye ssentebe w’ekyalo Hassan wasswa obuzibu bwonna abutadde ku bantu abazuukuka ku […]

Katikkiro alabudde abakulu b’ebika

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abakulu b’ekikka abagufudde omuzze okwawulayawula mu bazukulu ba Buganda. Katikiro okwongera bino abadde alaga obuganda Mugema w’amasiro amanyiddwa nga Mugema Ssentogo11. Mayiga agambye nti waddenga ebifo ebyobukulembeze mu bikka birina okujuzibwa, abo abalondeddwa balina okukola emirimu gyabwe mu […]

Ssabawolereza yeefudde

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Ssabawolereza wa gavumenti wakujjawo okujulira kweyakoze olunaku lwajjo ku tteeka eriwera ebisiyaga Kkooti yalagira nti etteeka lino lyayisibwa mu bukyaamu era lisazibweemu kubanga abaliyisa baali tebawera Olunaku lwajjo yawaddeyo okujulira ng’agamba nti ebyasalibwaawo kkooti bikyaamu ekintu ekyalabise ate okukosa kawefube w’ababaka okuddamu okuyigga emikono Ng’ayogerako […]

Matembe alabudde ku bamalaaya

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Poliisi erumbiddwa ku ngeri gyeyakuttemu ba malaaya mu bitundu by’omu Kisenyi Bamalaaya bano bayooleddwa mu kikwekweto olunaku lwajjo nga bakulembeddwaamu Sam Omala Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu kayingo Miria Matembe agamba nti abakyala bano bakwatiddwa mu ngeri eswaaza era kyabadde tekyeetagisa

Omusawo Namubiru ajulidde

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana ow’emyaka 2 empiso ya siriimu kyadaaki ajulidde  . Rose Mary Namubiru 65 ,agamba eyali omulamuzi  Olive Kazaarwe eyamusalira omusango guno teyekenenya bulungi bujulizi era omusango guno yapapiriza okugusala. Bannamateka   ba Namubiru era banenyezza nnyo omulamuzi obutatunula mu nsonga […]

Jjayo okujulira- Ababaka ba NRM balagidde ssabawolereza

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Ababaka b’akabondo ka NRM basabye ssabawolereza wa gavumenti okugyayo okujulira kwe mu kkoti  etaputa ssemateeka, nga ono abadde ayagala kuwakanya ensala ya kooti kku teeka ly’ebisiyaga. Nampala w’ekibiina kino  Justine Lumumba agamba kino bakikoze okusobozesa abakabondo okuzza ebbago mu parliament , nga tebakontanye na kooti […]