Amawulire
Mwegendereze emmere gyemugula
Abantu bonna balabuddwa okwegendereza emmere gyebagula okuva mu zi supamaketi Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba balambudde ebifo bino ebisinga nebakizuula nti tebirina bakozi batendeke mu kutereka emmere eno okuli enyama n’enkoko nga ebiseera ebisinga bivunda. Wabula era asabye abantu bonna okubalopera abo ababaguza […]
Omu afudde ate emmotoka zoononeddwa mu bubenje
Emmotoka mwenda zeezonoonese ekimotoka ekibadde kitisse sikulaapu bwekizitomedde Akabenje kano kabadde wali ku stretcher e Ntinda Atwala ebyentambula ku poliisi y’okuluguudo lwa Kiira, Emmanuel Erem agamba nti ekimotoka number UAG -726 C ebadde eva e Ntinda eremeredde omugoba waayo n’esabaala emotoka ezibadde zidda e Ntinda […]
Abe Kasese baddukiriddwa
Olukiiko lwa ba minisita liyisizza obuwumbi 39 okuyambako okuzza obuggya ekitundu kye Kasese ekyataagulwa amataba Mu mwezi gw’okutaano omwaka guno, amataba gaalumba abe Kasese okukkakkana nga gasanyizzaawo eddwaliro, amasomero n’enguudo Omwogezi wa gavumenti Rosemary Namayanja agamba nti ensimbi zino zigenda kuyamba abantu okuva mu magombolola […]
Kajubi kati agenze mu kkooti y’okuntikko
Munnabyabusuubuzi Godfrey Kato Kajubi azzeeyo mu kkooti ng’agenze mu kkooti y’okuntikko Ono awakanya ekibonerezo ky’amayisa ekyamuweebwa n’okusingisibwa omusango Kajubi yakasingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye emirundi ebiri KKooti enkulu yeeyasooka okumusingisa omusango ne kkooti ejulirwaamu n’ekola ekintu kyekimi Mu kujulira kw’ayisizza mu munnamateeka we Anthony […]
Abadde ne siriimu yeetuze
Entiisa ebutikidde abatuuze b’okukyalo Bugomola mu disitulikiti ye Rakai ,oluvanyuma lwokugwa ku mulambo gwa mutuuze munaabwe eyetugidde ku muti oluvanyuma lwokwekebezza neyesanga nga allina siriimu Gerald Nkambwe y’asangiddwa nga alengejera ku muti kumpi n’oluguudo ,oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakabugu bweyakizudde nga alina siriimu. John Mulindwa omu ku […]
Mubaraka yeeganye okutta abeekalakaasi
Eyali omukulembeze w’eggwanga lya Misiri, Hosni Mubarak yeeganye okuyisa ekiragiro nti abaali beekalakaasa nga baagala ave mu ntebe mu mwaka 2011 battibwe Mubarak, 86, abadde ayogerera mu kkooti omulundi ogusookedde ddala ku misango egimuvunaanibwa egy’okutta abeekalakaasi Akkirizza nti yakola ensobi nyingi kyokka nga byonna yabikola […]
Ababaka bongedde okulumba Oguttu- UPC emuwolerezza
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bongedde akazito ku akulira abavuganya mu palamenti okwogera ababaka abalidde ensimbi za gavumenti Wafula Oguttu yategeezezza nga bwewaliwo ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti abawerera ddala18 abaafunye obukadde 110 okusasula amabanja gebazze balya ku lwaabwe. Omubaka akiikirira abantu be Ajuri […]
Abakulu bakubaganye empawa ku ggaali y’omukka
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’obuzimbi benyamidde olw’okusika omuguwa okuliwo mu bakungu ba gavumenti ku nteekateeka y’okutereeza entambula y’eggaali y’omukagga Nga basisinkanye minisita omubeezi akola ku by’enguudo John Byabagambi, ababaka bano bagambye nti olutalo oluliwo wakati wa minisitule ekola ku by’enguudo n’ey’amateeka […]
Abayekeera bayimbudde abalala
Waliwo ekibinja ky’abakyaala n’abaana 32 abayimbuddwa abayeekera ba LRA abadumirwa ssabayekera Joseph Kony. Bano bavudde Digba munda mu ggwanga lya Congo nga wakayita ennaku 2 zokka nga abakyaala 13 kyebajje bayimbulwe abayeekera bano. Omwogezi w’ekibiina ekilwanirira abaana mu ggwanga ekya invisible children Michael Mubangizi agamba […]
Babiri bafiiridde mu kabenje
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e masaka ku kyalo Villa. Omusajja abadde avuga pikipiki nga aweese abantu 3 bakooneddwa baasi ya kampuni ya global namba UAT 771P ebadde eva e Mbarara okudda e Kampala. Akulira poliisi y’ebidduka e Masaka James […]