Amawulire
Gavumenti ejulidde ku bisiyaga
Gavumenti ejulidde ku nsalawo ya kkooti bweyawera etteeka ku bisiyaga Kkooti yakasuka etteeka eriwera ebisiyaga ng’egamba nti abaliyisa baali tebawera . Omuwolereza wa gavumenti Elisha Bafirawala y’ataddeyo okujulira kuno n’ategeeza nga ssabawolereza wa gavumenti bw’atali mumativu n’ensonga z’etteeka ku bisiyaga . Abalamuzi abataano okuli Steven […]
Olukiiko lwa ba dereeva lugudde butaka
Olukiiko olwayitiddwa KCCA n’abasaabaza abantu mu kibuga lugudde butaka Kiddiridde akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi obutalabikako n’aweereza abakiise be Kino abasabaaza abantu omuli aba Taxi ne pikipiki kyebayise okubayisaamu amaaso nga kati bataddewo olunaku lwa nga 19 omwezi guno okuddamu okutuula Abakulu bano beemulugunya […]
Omwana asirikkidde mu muliro
Poliisi ye Kibuye ekyanonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwakutte enyumba negutta omwana ow’emyaka 2 eyalekeddwa bazaddebe mu nyumba. Omugenzi ategerekese nga Josephat Mundwe nga nzaalwa ya Congo. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba tebanazuula kyavuddeko muliro guno nga n’abazadde b’omwana ono kati baliira […]
Malaaya bamutidde mu loogi
Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okumwalo gwe lambu e Masaka oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omukazi atannategerekeka nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi. Omukazi ono atabadde nabimwogerako atiddwa mu loogi emu emyandiddwa nga Amenya . Okusinziira ku ssentebe w’abavubi ku mwalo guno John Kiyimba, omukazi ono alabika abadde malaaya […]
Kadaga agumizza bannadiini ku bisiyaga
Waliwo ekibinja ky’abakukulisitu ekirumbye palamenti nebakwanga sipiika Rebecca Kadaga ekiwandiiko nga baagala etteeka ku bisiyaga liddemu okuletebwa mu palamenti liddemu okufulumizibwa. Kkooti etaputa ssemateeka yasazizaamu etyasoose lwababaka abesssalira abalina okuyisa etteeka lino obutawera. Abasumba Wilber Mukisa ne George Oduch bebakwanze sipiika ekiwandiiko kino nebategeeza nga […]
Omusajja atemyeeko mukyala we omutwe
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kibalinga mu disitulikiti ye Mubende oluvanyuma lwa ssemaka okutemako Mukyalawe omutwe , n’oluvanyuma namusala olubuto namuyiwa n’ebyenda. Gregory Natuweera yasanjaze Esther Abimana lwankaayana za bintu oluvanyuma n’amalamu omusulo. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti Natuweera azze alwanagana ne Mukyalawe ono lwakumugaana […]
Aba NRM basisinkana leero ku bisiyaga
Ababaka ba kabondo ka NRM bakutuula mu kafubo mu maka ga pulezidenti Entebbe akawungeezi kaleero okumumunyamumunya mu tteeka ly’ebisiyaga elyasaziddwamu kkooti. Pulezidenti Muiseveni asuubirwa okwogerako eri ababaka bano oluvanyuma lwa kkooti okutegeeza nti etteeka lyayisibwa ababaka tebawera kimu kyakusatu abalina okuyisa etteeka. Amyuka nampala w’ekibiina […]
Ekizimbe kiyiise
Ekizimbe kumpi ne woteeri ya Olympia e Kansanga kiguddemu nekilumya omuntu omu. Akabenje kano kagudde mu church zone nga era abeerabiddeko n’agaabwe bagamba ekizimbe kino kibdde kizimbibwa mungeri ya gadibe ngalye. Omuntu alumiziddwa abadde mukozi w’awakang’eno waka era emmotoka y’awaka eyonooneddwa Mungeri yaamu amyuka […]
Amagye galabude abaazirwanako.
Amagye ge gwanga aga UPDF gawakanyizza ebibade byogerwa nti abaazirwanako abaatwalibwa mu gwanga lya Somali okukuuma emirembe ,tebaawebwa nsako yaabwe Mukiwandiiko kyetulabyeko, ayogerera amagye ge gwanga Lt. Col Paddy Ankunda, akaladde n’ategeeza nga abo bonna aboogera ebitakwataga bwebagenda okukwatibwa babitebye. Ono anyonyodde nti abamu […]
Akabenje katuze 12
Abantu 12 beebafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Musita ku luguudo oluva e Jjinja okudda e Mayuge Akabenje kano keetabiddwaamu emmotoka ssatu okubadde Taxi, ki loole ky’ebikajjo ne ki lukululalana. Aduumira poliisi ye Mayuge, Caroline Akoth agamba nti owa ki Lukululala eyabadde afuga endiima […]