Amawulire
Amaggye tegalina nsimbi z’abajaasi abapya
Minisitule y;ebyokwerinda etegezezza nga bweyetaaga obuwumbi 14 okusasula emisaala gya bajaasi 3000 abakawandiikibwa gyebuvuddeko. Akuliora abakozi mu minisitule eno Gen. Wilson Mbadi ategezezza ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda nga bwebaawayo dda okusaba kwabwe eri minisitule y’ebyensimbi wabula tebafunanga kuddibwamu ku nsimbi ezo. Mungeri […]
Abe Bungereza Besunga ttofaali
Embeera eri wano mu London ya ssanyu jjereere bazzukulu ba Nambi okuva wonna mu Bungereza batandise okutuuka okwaniriza Kamalabyona omutendeke Charles Peter Mayiga agenda okutuuka wano olunaku ;lw’olw’okutaano mulugendo lwe nga atandika okutongoza okutikkula e Ttofaali mu Bungereza ,America n’mawanga gali mu Bulaya. Katikkiro waakwetaba […]
Aba Banyoro ensonga bazitutte mu palamenti
Waliwo ekibinja ky’abavubuka abasoba mu 40 okuva e Bunyoro abalumbye palamenti nebakwanga sipiika nebakwanga sipiika ekiwandiiko nga bemulugunya ku makampuni agasima amafuta okuleka ebbali abaana enzaliranwa nebawa abalala emirimu. Nga bakulembeddwamu Johnson Mutumba bagamba amakampuni gano era gamala gamansa obukyafu okuva mu byebasima kale nga […]
Abavubuka ba ssanduuko bayimbuddwa
Abavubuka abeekalakaasa ne ssanduuko y’abafu mu kibuga beeyimiriddwa. Balagiddwa okusasula emitwalo 40 buli omu ate ababeeyimiridde bakuwaayo obukadde 3 zezitali za buliwo Ku bano kuliko Ferdinand Luutu, Amos Ojok, Oloya Akena, Ambrose Juma, Nasimbwa Nalongo, Joram Mwesigye, Robert Mayanja, ne Norman Tumuhimbise. Balagiddwa okusasula emitwaalo […]
Ebya Lukwago bikyaali bibi
Olugendo lwa loodi meeya Eras Lukwago okudda mu ofiisi okudda mu ofiisi lukyali luwanvu. Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga egobye okusaba kwe nti adde mu ofiisi n’emusindika mu kkooti ejulirwaamu Lukwago yemulugunya nga awakanya ekyasalibwawo omulamuzi Steven Kavuma okumugoba mu ofiisi nga ate kkooti enkulu […]
Bannakyeewa bakaaye ku mukenenya
Abali mu lutalo ku mukenenya bakyawanda muliro ku kya pulezidenti Museveni okussa omukono ku tteeka erinayamba okuziyiza mukenenya. Abantu bano bagamba nti etteeka lino ligenda kuzza eggwanga amabega mu lutalo ku mukenenya Akulira ekigatta abalina obulwadde bwa mukenenya mu East Africa Lilian Mworeka yewunyizza engeri […]
Ebola ayongedde okutabuka
Ab’eby’okwerinda mu ggwanga lya Liberia bataddewo envumbo mu bifo by’enzigotta mu kibuga ekikulu Monrovia Kino kikoleddwa okukendeeza ku kubuna kw’obulwadde bwa Ebola obucacunya eggwanga lino. Okuva omwaka bwegwatandika, abanti abali mu 1200 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ana mu bugwanjuba bwa Africa. Mu Nigeria, […]
Omukyala asse bba
Poliisi ye Kibuye eriko omukazi kalittima gw’ekutte lwakokyera bba mu nyumba. Bino bibadde ggangu ku lw’ebusaabala . omukazi ono atanategerekeka manya aludde nga alabula bba okumwokera mu nyumba ne mujjawe okutuusa lwakituukirizza . Kalittima ono ageze bba agenze wamuggyawe enyumba n’agikolereza. Omu ku beerabiddeko n’agage […]
Ababaka balambudde ekibuga- USAFI bakaaba, Eggaali nfu
Abasuubuzi mu katale ka USAFI babigudde buto ku luno nga bagaala palamenti ekkirize beegule nga basasula obuwumbi 35. Abasuubuzi amaloboozi gaabwe bagayisizzaamu bwebabadde bakyaliddwa ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga. Nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Col Fred Mwesigye, ababaka basuubizza okwetegereza […]
Abe Nakasongola bakubye ku Matu- Poliisi ezuukuse
Abasumattuse akabenje ke Nakasongola olunaku lwajjo bajja bakuba ku matu Abalwadde bano abawerera ddala 16 bajjiddwa mu ddwaliro e Nakasongola nebaddizibwa e Mulago olw’embeera embi gyebabaddemu Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusasira agambye nti abantu mukaaga beebasibuddwa nga munaana bbo bakyabajjanjaba Kusaasira agamba nti babiri […]