Eggwanga lya America lirabudde abantu baayo abali mu Uganda obutava waka
Bano bayise ku mukutu gwa Twitter nebategeeza nga bwewaliwo kyebekengedde ku batujju kyokka nga tebatudde
America era esabye abantu baayo abatali waka okuddukira mu bifo ebikkakkamu okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna
Mu kusooka era ab’ekitebe kya America mu Uganda bategeezezza nga abakuumaddembe mu Uanda bwebaliko ebikwekweto byebakola…
Eky’abakulu mu poliisi okwekobaana n’abazzi b’emisango okunyagulula abantu tekakyaali kaama.
Abadde aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti waliwo ba Mafia mu poliisi ng’amakanda bagasimba wabweeru wa CPS nebanyagulula abantu abeetaga obuyambi
Kaweesi agamba nti abafere bano bakolagana n’abakulu mu poliisi
Kaweesi era mu ngeri yeemu akuutidde amuddidde mu bigere Haruna Isabirye okwongera okukolagana n’abantu…
Naggagga Hassan Basajja Balaba alagiddwa okusasula obukadde 124 eri omulamuzi George Wilson Kanyeihamba
Kanyeihamba yawaaba Basajja Balaba lwakumugoba ku bwa ssenkulu bw’ettendekero lye erya Kampala International University mu bukyaamu.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Yasin Nyanzi oluvanyuma lwa Kanyeihamba okuleeta obujulizi obulaga nti yagoba mu bukyaamu
Omulamuzi agambye nti Basajjabalaba alina okusasula olw’okuswaza Kanyeihamba, kubanga bannamawulire bawandiika nnyo ku…
Kkooti enkulu egobye okusaba okwassibwaayo abawakanya okulondebwa gwa William Gabula Nadiope nga Kyabazinga wa Busoga
Omulamuzi Godfrey Namundu agambye nti abalangira omwenda bonna tabasobola kuba nga baakola nsobi kale nga y’ensonga lwaki tasobola kuyimiriza kyebaasalawo
Omulangira Edward Colombus yeeyakulemberamu abagenda mu kkooti nga bagaala okutuuza Nadiope kuyimirizibwe
Ebisaliddwaawo kooi birese aba Nadiope bajaguza era nga bakyesunga omukolo ogugenda…
Abantu ababeera mu mawanga ga East Africa akyasanga obuzibu okukola emirimu kyeere nga teria bakua ku mikono.
Bino biri mu alipoota efulumiziddwa ng’alaga nti yadde ekigendererwa ky’omukago kwanguya mirimu, kitono ekituukiddwaako kubanga abakozi bakyasanga emiziziko miyitirivu
Abakoze okunonyereza aba SEATINI Uganda bagamba nti endagaano ezizze zikolebwa ziyamba bakugu kyokka nga’abasuubuzi oba abakozi abalala ssi bakugu
Akulira ekibiina kino…
Ekibinja ky’abasiramu ekisooka abagenda okukola Hijja kisibulwa olunaku olwaleero ku Muzikiti e Wandegeya.
Abalamazi abasoba mu 1000 bebagenda okutukiriza empagi ey’okutaano mu diini y’obusiraamu e Makka ne Madiina.
Okusinziira ku Mwogezi w’ekitebe ky’e Kibuli sheikh Hassan Kirya, abalamazi bano basubirwa okwongera okusabira eggwanga okubukalamu emirembe
E Lyantonde abali b’enyama bakonkomaliridde ku midaala oluvanyuma lwa lufula enkulu okugalwa lwa bukyaafu.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Suleiman Tuguragara y’alagidde lufula eno eggalwe lwa abakinjaaji kwemulugunya entakera ku zi kabuyinjo ezitalina mazzi n’obukyaafu obususse.
Bano wiiki ewedde abakinjaaji bediima okusala ensolo yonna lwabukyafu mu bwakifo kino.
Abakinjaaji nga bakulembeddwamu Wahabu Matovu baategeeza nga bwebasasula ssente…
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col. Paddy Ankunda agamba nti enyonyi eno enywaanyi kika kya L39 ebadde ekozesebwa kutendeka
Ankunda agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno kyokka nga yye munnamaggye abadde avuga akyajjanjabibwa .
Omu ku beerabiddeko n’agage, Robert Ocen agambye nti alabye nyonyi kukka ku misinde era ekiddiridde kwekatta wansi n’ekwata omuliro.
Ocen agamba nti…
Abantu abana abagyiira mu nyumba e Kawmokya bonna bafudde
Abagenzi kuliko Shaudin Kasambira ow’emyaka 5, Shamira Namubaale ow’emyaka 10, Shadia Kayaga ow’emyaka 7 ne kitaabwe ow’emyaka 45 ngono yinginiya Tabu Kasambura.
Enyumba yaabwe yakwata omuliro ku bbalaza nga guno gwaava ku kasubbaawa akalekebwa abaana abaali basoma ebitabo
Abantu okuva mu maka 200 beebatabaliddwa mu kubala abantu okwakakomekkerezebwa
Ab’ekitongole ekibala abantu ekya Uganda Bureau of Statistics beebategeezezza bati
Akulira ekitongole kino Ben Mungyereza agamba nti abantu mu maka agoogerwaako, beebamu ku b’ekidiini ekitakkirirza mu kubala bantu ate abalala bbo tebaali waka.
Mungyereza wabula akikkatirizza nti wabula kino tekigenda kutatagaanya nteekateeka ya kutegekera ggwanga.