Amawulire
Katikkiro abakakkanyizza- amasiro gajja kuggwa
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agumiza Obuganda ku mulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi. Kino kidiridde abantu abenjawulo omuli Nalinya w’amasiro Beatrice Namikka ne Katiro Ssalong George Mulumba okwemulungunya kungeri omuli guno gyegutambulamu. Okusinzira ku entekateka eyasooka enyumba ya Muzibu azzalampanga yalina okumalirizibwa mu mwezi […]
Emotoka za gavumenti zakukwatibwa
Emotoka za gavumenti ezinaddamu okusangibwa nga zitambula okusukka ssaawa kkumi n’emu zakukwatibwa Aba’obuyinza e Namayingo bamaze okuyisa ekiteeso kino okukoma ku ba gavumenti abakozesa emmotoka zino mu byaabwe Omubaka wa pulezidenti e Namayingo Mpimbaza Hashaka, agamba nti emotoka nyingi zirabibwa mu bifo ebikyaamu ate nga […]
Abasomesa batabuse
Ekibiina ekigatta abasomesa kitegeezeza nga bwekitagenda kwetaba ku mukolo ogw’okuggulawo kibiina ky’obwegassi eky’abasomesa nga bano bagamba nti abategese emikolo gyino bagala kuwudiisa omukulembeze w’eggwanga. Kinajukirwa nti minisituke y’ebyenjigiriza etegese okukyaaza omukulembeze w’eggwanga okuggulawo ekibiina ekigenda okufuna ezimu ku nsimbi obuwumbi obutaano pulezidenti zeyasuubiza abasomesa Akulira […]
Emirambo gituuse- bannyini gyo batabuse
Wabaluseewo akavuyo ku ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’emirambo gy’abafiira mu ggwanga lya South Sudan okukomezebwaawo. Kino kiddiridde abe Mulago okwagaala okusooka okwekebejja emirambo , abafiirwa kyebagaanye nga bagamba nti gano malya nsimbi. Bano bagamba nti abantu bano batwalibwa mu ddwaliro e Juba kale nga […]
Obubizzi bwakyenvu bukomyewo mu kibuga
Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw’okusuula obubizzi 4 mu makkati g’oluguudo lwa Bombo Road. Ababiri bano kuliko omusajja n’omukazi nga bateberezebwa okusuula obubizzi buno obusiigiddwa langi ya Kyenvu kumpi ne kanisa ya Watoto. Akamu ku bubizzi buno kabadde kambaziddwa enkofiira wamu n’ebigambo ebivumirira entujjo ya […]
Dr Rugunda akakasiddwa- Mbabaiz amuwaanye
Palamenti emaze okuyisaamu Dr Ruhakana Rugunda nga ssabaminisita omuggya Ababaka awatali kwetemamu bibiina abawerea ddala 217 beebawagidde Rugunda abeere ssabaminisita ku babaka 225 Sipiika Rebecca Kadaga ayisizaamu Rugunda yadde nga waliwo ekibinja ekibadde kiwakanya eky’omukulu ono okufuuka ssabaminisita nga bamulumiriza okwezibika ensimbi z’olukiiko olugatta bannakyeewa […]
Akabenje e South Sudan- Emirambo gidda nkya
Aba kkampuni y’abaasi eya Bakulu bakkirizza okuzza emirambo gy’abo abatokomokedde mu kabenje akaagudde mu ggwanga lya South Sudan Akabenje kano akagudde ku kyaalo Nesiti kaatuze abantu 35 ate nga bangi bakyanyiga biwundu Addukanya awatuukira abasaabaze mu kkampuni eno, Ali Andama ategeezezza nti bamaze okuwereeza emmotoka […]
Poliisi etabukidde aba TAPSCOM
Poliisi erangiridde nti akakiiko ka TAPSCOM nga kano keekaddukanya omulimu gwa Taxi ku lwa KCCA kaliwo mu bukyaamu Kiddiridde okusisinkana abagoba ba taxi ababadde beemulugunAbagoba ba taxi balumbye poliisi ya CPS nga bemulugunya ku kakiiko kya TAPSCOM akulira aba Taxi Mustapha Mayambala ategeezezza nti batuntuzibwa […]
Ab’eggaali y’omukka basasulwe- palamenti
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kagaala gavumenti eyirire abasuubuzi abasengula okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu ndeeba. Abasuubuzi abasoba mu 300 beebafumuulwa okuzimba oluguudo lw’eggaali olw’omulembe Akulira akakiiko kano Ephraim Biraaro agamba nti kyaali kikyaamu KCCA okusengula abantu bano nga ne palamenti temanyi Bbo […]
NRM enywezezza natti- abesimbawo bakusasula
Ababaka ba palamenti okuva mu NRM bagaala enkyukakyuka mu mateeka agabafuga. Kati okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tiketi y’ekibiina olina okusasula obukadde 20 mu ggwanika ly’ekibiina. Bino by’ebimu ebyatuukiddwako ab’akabondo ka NRM akawungezi akayise. Kati agenda okwesimbawo ku bwa memba wa palamenti olina kusasula obukadde […]