Amawulire
Omusajja atemyeko mukyala we omutwe lwa bwenzi
E Sembabule Lwemiyaga omusajja akkidde mukyala we n’amutemako omutwe ng’amulanga bwenzi. Julius Agaba kati aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okusanjaga kabiite we Molley Kyalimpa. Kigambibwa nti ababiri bano baludde nga banenengana okutuusa ekiro ekikeesezza olwaleero Agaba bw’akomyewo ewaka n’akuba mukyala we nga amulumiriza obwenzi oluvanyuma n’amusalako […]
Paapa Francis afunye ebbaluwa emuyita
Paapa Francis akkirizza okufuna ebbaluwa emusaba okukyalako mu Uganda mu mwaka ogujja Okusinziira ku kibiina ekigatta abakatolika, papa yamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ng’akakasa nti afunye ebbaluwa Paapa singa akkiriza ajja kuba akyaala mu Uganda okweaba ku mikolo gy’abajulizi e Namugongo omwaka ogujja Pope Francis yali […]
Mbabazi awaddeyo ofiisi
Abadde Ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga abakozi ba gavumenti bwebakola eky’amaanyi okulaba nga gavumenti etuukiriza bulungi emirimu gyaayo. Mbabazi ategezezza nga bwagenda okuwandiika ku mirimu gy’abakozi b aba gavumenti okulaga ebirungi byebakolera eggwanga. Bino Mbabazi abyogedde awaayo ofiisi eri eyamudidde mu bigere Ruhakana Rugunda […]
abasoba mu 180 baayoleddwa mu bikujjuko bya Kampala
Poliisi etandise okukumunta abo bonna abaakwatiddwa nga benyigira mu buzzi bw’emisango mu ntujjo ya KCCA eya Kampala city festival eyabaddewo olunaku lw’eggulo. Abantu abasoba mu 180 baayoleddwa nga abasinga baakwatiddwa banyakula obusawo bw’abakyaala n’obusimu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga mu […]
Pulezidenti alagidde ku musujja gwa Marburg
Pulezidenti Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu eyanguwe mangu okusomesa bannayuganda ku musujja kattira ogwa Marburg. Minisitule y’eby’obulamu y’alangiridde nga ekirwadde kino bwekyasse omuntu omu olunaku olw’eggulo nga omulala ateberezebwa okubeera nakyo y’akebeddwa nga era ebyavuddeyo bisuubirwa okufulumizibwa olwaleero. Pulezidenti era asabye abantu bonna okubeera bulindaala n’okwewala […]
Abalwadde basenguddwa e Mulago-emirimu gisanyaladde
Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro e Mulago ng’eddwaliro litandika okuddabirizibwa Abalwadde bonna ababadde mu waadi 1 1A, 2 A, 3 A, 4A, 5 A ne 6A basenguddwa okudda ku kizimbe okuli B ne C. N’awatuukira abayi ( casualty ) nawo bakyusiddwa nga kati abalwadde batuukira mu waadi […]
Eid adhuha- abasiraamu mwegatte
Ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council kifulumiza entekateka za Eid Adhuha olunaku lw’enkya. Okusaala kwakutandika ku saawa 3 ez’okumakya wali ku muzikiti gwa Old Kampala era nga kwakulemberwamu mufti wa Uganda sheikh Shabana Ramadham Mubajje. Omwogezi wa Uganda Muslim supreme council Hajji Nsereko Mutumba asambye […]
Omwana asuuliddwa mu kabuyonjo
Entiisa abuutikidde abatuuze be Kalerwe mu Kibe zone bwebagudde ku mulambo gw’omwana ow’emyaka 5 nga gusuuliddwa mu Kabuyonjo. Jaaja w’omwana ono ategerekese nga Birungi agambye nti omwana ono Samutha Talida yabula enaku 5, oluvanyuma lwokuwambibwa omusajja atanategerekeka. Kiteberezebwa okuba nti omwana ono yasoose kusobezebwako ngatanatibwa.
Museveni afunye omudaali
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yoomu ku bawereddwa emidaali mu bikujuko bya poliisi eby’okuweza emyaka 100. Museveni awedde omudaali olw’okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abakulembeze abalala. Bw’abadde agaba emidaali gino, ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine asabye bannayuganda okuyiga okusiima abantu abakoze ebirungi nga tebanafa […]
Omusawo munnayuganda afunye Ebola
Omusawo munnayuganda ayatwalibwa mu ggwanga lya Sierra Leon okujanjaba ekirwadde kya Ebola akwatiddwa ekirwadde kino. Omusawo ono kati addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Frankfurt mu ggwanga lya German era ng’ayawuddwa ku balwadde abalala. Abantu abasoba mu 3,000 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ga West […]