Amawulire

Ebyapa by’omu Ntobazi bisaziddwaamu

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku butonde bw’ensi yakasazaamu ebyapa ebiri mu mutwalo gumu mu kasanvu Ebyapa bino bya ttaka eriri mu ntobazi.. Bino byogeddwa minisita akola ku butonde bw’ensi Flavia Nabugere Munaaba. Ng’ayogerako eri bannamawulire, minisita munaaba agambye nti obuzibu bwebasinze okusanga beebagagga abalina bebamanyi mu gavumenti […]

Omwoleso

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 30 beebakakwatibwa mu mwoleso gw’ebyobusuubuzi ogugenda mu maaso e Lugogo. Abasinga ku bano abakuumirwa ku  poliisi ya Jinja road basangibwa nga banyakula obusawo n’okusala ensawo. Anonyereza ku misango, Ronald Bogere agambye nti bano bagenda kubasengejjebwa okujjamu abakyaamu. Omwoleso guno guggaddwa minisita w’ebyobusuubuzi […]

Ogwa Jamwa gujulidde

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Okuwulira okujulira okweyali akulira ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF David Chandi Jamwa, olwaleero tekugenze mu maaso oluvanyuma lw’omu ku balamuzi okubulawo. Omulamuzi Richard Buteera talabiseeko mu kooti nga kigambibwa nti yagenze kuziika maama we, ekiremeseza abalamuzi okuli Steven Kavuma ne  Kenneth Kakuru okulemererwa okuwulira […]

Ebola ayongera kutabuka

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kirabudde nti eky’obulwadde bwa Ebola okutuuka mu bibuga mu mawanga agakoseddwa kyanditabula embeera Amyuka akulira ekibiina kino Bruce Aylward agamba waliwo okugayaala ng’obulwadde buno bwakatandika mu Guinea, Liberia ne Sierra Leone. Amawanga gano gaasabye dda nti gongerwe ku buyambi okusobola […]

UPDF erabudde abayeekera

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

  Amaggye ga UPDF gagumizza nga bwewatali Muntu yenna ayinza kutabangula mirembe mu bitundu bye Kasese. kino kiddiridde amawulire agaafulumye nga bwewaliwo ekibinja ky’abayeekera abazzemu okwekunganya mu buvanjuba bwa Congo n’ekigendererwa eky’okulumba Uganda. omwogezi w’amaggye mu bitundu bya Rwenzori  Capt.Ceasar Olwenyi agamba buli kimu kibali […]

FUFA etaddewo amateeka g’enyambala ku mupiira gwa Togo

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

  Teri muwagizi wa mupiira nga ayambadde lugoye oluriko ebigambo by’obufuzi agenda kukkirizibwa kuyingira kisaawe ky’eNamboole okuwagira Cranes nga ettunka ne Togo olunaku olw’enkya. kino kiddiridde abamu ku bawagizi gyebuvuddeko okwambala emijoozi egiriko obubaka bw’ebyobufuzi nga ate buvvoola. Akulira FUFA Moses Magogo yesigamye ku buwayiro […]

Omwana asuuliddwa

Ali Mivule

October 9th, 2014

No comments

Poliisi ye Kibinge e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omukazi atanategerekeka,nga ono yasudde  omwana gweyabadde yakazaala ku ofiisi z’egombolola , nga ono azuuliddwa omuyise atemezza ku b’obuyinza abamugyewo. Jane Nabweteme nga y’avunanyizibwa ku nsonga z’abakyala avumiridde ekikolwa kino era n’asaba okukaliriza amaaso ku bannakawere bonna abali […]

Omusolo ku mafuta guzzeewo

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Palamenti ezizzaawo omusolo gwa shs 200 ku buli liita y’amafuta g’ettaala Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okugoba ebyasooka okusalibwaawo nti omusolo guno guveewo  ng’agamba nti gavumenti eyagala kutumbula kukozesa masanyalaze ga njuba mu kifo ky’amafuta Omu ku babaka ku kakiiko kano Henry Musaasizi anyonyodde nti basazeewo […]

Bankuba kyeyo basabiddwa okukolagana

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Bannayuganda abagenda ebweru okukuba ekyeeyo basabiddwa okutondawo enkolagana n’ebitebe bya Uganda mu mawanga gyebakola kko n’ebibiina ebibatwalayo Kiddiridde omuwendo gwa bannayuganda abavundira mu makomera okweyongera mu mawanga agatali gamu Bino byogeddwa akulira poliisi erwanyisa abakukusa abantu Moses Binoga bw’abadde asiibula bannayunga abasindikiddwa okukolera mu ggwanga […]

Bomu ebasattizza

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Poliisi ekkakanyizza emitima gy’abantu egibadde gyewanise oluvanyuma lw’okugwa ku kintu kyebatebereza okuba bbomu e Lugogo. Abantu abali okumpi ne supamaketi ya Shoprite e Lugogo bakedde mu kasattiro oluvanyuma lw’okulaba ekyuuma kyebatategeera Bano bayise poliisi mu bwangu era nayo n’esitukiramu Omwogezi wa poliisi Polly Namaye, agamba […]