Amawulire
Minisita akuutidde bannalwengo okukuuma obutondebwensi
Bya Gertrude Mutyaba, Minisita akola ku nsonga z’obwa pulezidenti Milly Babirye Babalanda akubirizza banna Lwengo okwongera okukuuma Obutonde bw’ensi okwewala amataba agawulirwa mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo. Babalanda okwogera bino abadde atutte mataaba obukadde 15 okukubagiza enju y’omwami Vincent Kasiita omutuuze ku Kyalo Kiryankuyege mu gombolola […]
Ebbago ku bisanyizo byóbuyigirize eri abagala obwa pulezidenti lijja
Bya Damali Mukhaye, Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Tororo, Sarah Opendi ayagala olukusa kugendako mu luwumula aveeyo ne bbago lye tteeka elikwata ku bisanyizo eri omuntu ayagala okuvuganya kuntebbe eyobwa pulezidenti ku mutendera gwobuyigirize byalina okuba nabyo. Mu bbago lino Opendi ayagala abagala […]
Uganda esabiddwa okukoppa Kenya, Bannauganda abali ebweru beenyigire mu kulonda
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavt ekya Uganda People’s Congress kisabye gavumenti ya NRM eri mu buyinza okukoppa eggwanga lya Kenya okuteekawo enkola esobozesa Bannayuganda abali emitala wa mawanja okwenyigiranga okulonda. Kino kiddiridde Bannakenya abali ebweru w’eggwanga olunaku lw’eggulo okwetaba mu kulonda omukulembeze […]
Munnamteeka wómukampala avunanibwa gwa bufere
Bya Ruth Anderah, Kkooti ya Buganda road etaddewo olunaku lwa October 10th 2022 okuwulira omusango gw’obuffere oguvunanwa munnamateeka w’omu Kampala Felix Kintu Nteza. Nteza ng’awoza ava bweru alabiseko mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Fedelis Otwoa Kino kidiridde oluvanyuma oludda oluwaabi okutegeeza nti okunonyereza mu […]
Okubala obululu mu KENYA kugenda mu maaso, ebivudde mu kulonda si byakulangirirwa leero
Bya Nation Media ne Rita Kemigisa, Akakiiko ke byokulonda mu KENYA kategezeza nga bwekatagenda kulangirira bivudde mu kulonda omuk weggwanga eryo omugya leero. Mu kwogerako ne bannamawulire mu kifo obululu webugatirwa, akaulira akakiiko kano, Wafula Chebukati, agambye nti yadde nga ssemateeka abalagira okulangirira omuwanguzi munnaku […]
Okulonda mu Kenya kukyatabula bulungi
Bya Juma Kirya, Okulonda kukyagenda mu maaso okwetoloola eggwanga lya Kenya mu kalulu akagenda okusalawo omuk weggwanga eryo omugya. okulonda okwatandise ku ssaawa 12 ez’oku makya kwogedwako nga okukyali okwemirembe n’obutebenkevu. Wabula waliwo wabadewo okwemulugunya okubaluseewo mu bibuga okuli Mombasa, ne Nairobi olw’okulemererwa okuzuula abalonzi […]
Gavt esabiddwa okuteekerateekera ababundabunda okuva e Kenya
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisabye gavumenti okukola enteekateeka ennungamu mu kusembeza ababundabunda abava e Kenya. Kino kidiridde amawulire okulaga nti ebikumi n’ebikumi by’abagwira basomoka okuyingira Uganda nga bayita ku nsalo e Busia ne Malaba wakati mu mbeera eyokulinda […]
Abantu 60 bebaafiiridde mu bubenje mu ssabiiti ewedde
Bya Juliet Nalwooga, Ekitongole kya poliisi ye bidduka kizudde nti abantu 60 be baafiiridde mu bubenje ku nguudo mu wiiki ewedde. Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wekitongole kino, Faridah Nampiima, agambye nti buno bwavudde ku bubenje 314 obwawandiisibwa wiiki […]
Gavt yetegese okwaniriza ababundabunda okuva e Kenya
Bya Mike Sebalu, Gavumenti yeteseteese ekimala okwaniriza abantu bonna abanabunda bunda nga bava mu gwanga lya Kenya naddala singa okulonda mu gwanga elyo kunabeera nga kwabutabanguko. Olunaku lw’enkya eggwanga lya Kenya bwelyengiria mu kulonda omukulembeze omujja oluvanyuma lw’ekisanja ky’omukulembeze aliko Uhuru Kenyatta okuggwako era ng’amateeka […]
Emisango egyókukabasanya abakazi egyakolebwa mu Muggalo gifundikirwa mwezi guno
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekiramuzi kirina essuubi nti omwezi guno wegunaggweerako nga kimaze okuwulira emisango gyonna egy’okukabasanya abakyala na bawala egyetuuma mu kkooti oluvanyuma lwomuggalo gwa covid Bino byogeddwa omulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija, bwabadde ayogerako eri abakwatibwako ensonga mu lukiiko lw’okuteesa ku bikolwa ebyokukabasanya […]