Bya Damali Mukhaye,
Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Tororo, Sarah Opendi ayagala olukusa kugendako mu luwumula aveeyo ne bbago lye tteeka elikwata ku bisanyizo eri omuntu ayagala okuvuganya kuntebbe eyobwa pulezidenti ku mutendera gwobuyigirize byalina okuba nabyo.
Mu bbago lino Opendi ayagala abagala obwa pulezidenti nobubaka bwa palamenti babeere ne diguli eyokubiri.
Mu kiseera kino, abantu…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavt ekya Uganda People’s Congress kisabye gavumenti ya NRM eri mu buyinza okukoppa eggwanga lya Kenya okuteekawo enkola esobozesa Bannayuganda abali emitala wa mawanja okwenyigiranga okulonda.
Kino kiddiridde Bannakenya abali ebweru w’eggwanga olunaku lw’eggulo okwetaba mu kulonda omukulembeze w’eggwanga lyabwe addako.
Mu Uganda bannabyabufuzi n’abakwatibwako ensonga bazze basaba akakiiko k’ebyokulonda okussa…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ya Buganda road etaddewo olunaku lwa October 10th 2022 okuwulira omusango gw'obuffere oguvunanwa munnamateeka w'omu Kampala Felix Kintu Nteza.
Nteza ng'awoza ava bweru alabiseko mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka Fedelis Otwoa
Kino kidiridde oluvanyuma oludda oluwaabi okutegeeza nti okunonyereza mu musango guno kuwedde.
Kigambibwa pulida Kintu Nteza yafuna sente za Uganda obukadde 195 okuva…
Bya Nation Media ne Rita Kemigisa,
Akakiiko ke byokulonda mu KENYA kategezeza nga bwekatagenda kulangirira bivudde mu kulonda omuk weggwanga eryo omugya leero.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kifo obululu webugatirwa, akaulira akakiiko kano, Wafula Chebukati, agambye nti yadde nga ssemateeka abalagira okulangirira omuwanguzi munnaku 7 bakola buli kisoboka okugatta ebyavudde mu kulonda era babifulumye
Okubala obululu kukyagenda…
Bya Juma Kirya,
Okulonda kukyagenda mu maaso okwetoloola eggwanga lya Kenya mu kalulu akagenda okusalawo omuk weggwanga eryo omugya.
okulonda okwatandise ku ssaawa 12 ez’oku makya kwogedwako nga okukyali okwemirembe n’obutebenkevu.
Wabula waliwo wabadewo okwemulugunya okubaluseewo mu bibuga okuli Mombasa, ne Nairobi olw’okulemererwa okuzuula abalonzi mu kweyambisa ebyuma bikalimagezi.
Abalonzi abawerako bakosebwa era abamu bazeeyo ewabwe nga tebalonze.
Omusasi waffe…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ky’eby’obufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisabye gavumenti okukola enteekateeka ennungamu mu kusembeza ababundabunda abava e Kenya.
Kino kidiridde amawulire okulaga nti ebikumi n’ebikumi by’abagwira basomoka okuyingira Uganda nga bayita ku nsalo e Busia ne Malaba wakati mu mbeera eyokulinda okulonda kwa omukulembeze weggwanga rya Kenya omugya okugenda okubaawo olunaku lw’enkya.
Abagwira abasinga…
Bya Juliet Nalwooga,
Ekitongole kya poliisi ye bidduka kizudde nti abantu 60 be baafiiridde mu bubenje ku nguudo mu wiiki ewedde.
Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wekitongole kino, Faridah Nampiima, agambye nti buno bwavudde ku bubenje 314 obwawandiisibwa wiiki ewedde nga ku buno 55 bwali bamaanyi nyo.
Abakosebbwa abasoba mu 270 ate…
Bya Mike Sebalu,
Gavumenti yeteseteese ekimala okwaniriza abantu bonna abanabunda bunda nga bava mu gwanga lya Kenya naddala singa okulonda mu gwanga elyo kunabeera nga kwabutabanguko.
Olunaku lw’enkya eggwanga lya Kenya bwelyengiria mu kulonda omukulembeze omujja oluvanyuma lw’ekisanja ky’omukulembeze aliko Uhuru Kenyatta okuggwako era ng’amateeka tegamukkirizza kuddamu kwesimbawo.
Okusinziira kakiiko k’eby’okulonda e Kenya, abalonzi abwandiise bali obukadde 22m…
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole ekiramuzi kirina essuubi nti omwezi guno wegunaggweerako nga kimaze okuwulira emisango gyonna egy’okukabasanya abakyala na bawala egyetuuma mu kkooti oluvanyuma lwomuggalo gwa covid
Bino byogeddwa omulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija, bwabadde ayogerako eri abakwatibwako ensonga mu lukiiko lw’okuteesa ku bikolwa ebyokukabasanya abakyala na bawala olwekikula kyabwe olwatudde mu Kampala.
Yagambye nti emisango mingi egyakung’aanyizibwa…
Bya Prossy Kisakye,
Abavubuka basabye gavumenti okwesonyiwa emisolo ku makampuni g’abavubuka bwebaba bakuganyulwa mu nkola ya Parish Development Model (PDM).
Omukiise w’abavubuka okuva mu kitundu eky’omu masekkati, Jackline Namutebi agamba nti dizayini ya PDM nga bweri leero eyinza obutabagasa singa baba bagenda kuvuganya n’amakampuni agasimba edda amakanda.
Demos Pariyo Agamba, okuva mu West Nile ategezeza nti amakampuni g’abavubuka…