Amawulire
Okuwulira okwetonda kwa basibe e Masaka gutandise
Bya Ruth Anderah, Omumyuka wa Ssaabawaabi wa gavumenti George William Byansi, akulembeddemu enkambi egenda okuwuliriza emisango gya basibe mu kkooti ekkulu e Masaka abakkiriza emisango gyabwe bakenderezebweko ku kibonerezo ekimanyiddwa nga plea bargaining mu lungereza. Enkambi eno yatandise lunaku lwajjo nga abasibe bamanyisibwa ku bikwata […]
Abatuuze e Masaka balajanidde Gavt ebataase ku mugagga abagobaganya kuttaka
Bya Gertrude Mutyaba, Abatuuze abawangaalira ku Kyalo Samaliya mu gombolola ya Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka beekubidde enduulu eri bekikwatako babayambe ku Mubaka wa Uganda mu Germany Ambassador Danny Ssozi Mayanja abagobaganya ku ttaka lyabwe. Ettaka eryogerwako liwezaako yiika 15 nga lisangibwa mu kibuga Masaka nga […]
Poliisi yenyodde nabeekalakaasi ku Bbeeyi yébintu
Bya Juliet Nalwooga ne Abubaker Kirunda, Poliisi eriko bekutte ku kwekalakaasa okukolebwa mugombolola ye Kawempe nga bannauganda bawakanya okwekanama kwe beeyi ye bintu mu ggwanga. Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti abasajja […]
Kabuleta asabye palamenti obutayisa bbago lyatteeka ku nkozesa ya Kompunta
Bya Prossy Kisakye, Eyavuganyako ku bwapulezidenti era nga ye pulezidenti w’ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta asabye ababaka ba Palamenti okusuula ebbago ly’etteeka erikwata kukukozesa obubi kompyuta. Wiiki ewedde omubaka wa Kampala central Muhammed Nsereko yayanjudde ebbago ly’etteeka lino nga ayagala wabeewo […]
Aba FDC batiisiza okwabulira omukago gwa IPOD
Bya Damali Muhkaye, Ekibiina kye by’obufuzi ekya FDC kiyise akakiiko akafuzi akókuntiko okutuula mu bwangu bakubaganye ebirowoozo ku kyekibiina okwabulira omukago omwegatira ebibiina byobufuzi ebirina abakiise mu palamenti ogwa IPOD Kino kyaddiridde pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party, Nobert Mao okussa omukono ku ndagaano y’okukkaanya ne […]
Museveni alonze pulezidenti wa DP kubwa Minisita
Bya Rita Kemigisa, Omukulembeze w’eggwanga Museveni alonze Pulezidenti wa DP Nobert Mao ku bwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka. Okulondebwa kwe kugidde mu kaseera nga waakayita essaawa ntono pulezidenti okulangirira nti yatadde omukono ku ndagaano ey’okukolagana ne Mao mu byémirimu. Kati amawulire ga Mao […]
Abantu 5 bafiiridde mu kabenje e Bulambuli
Bya Juliet Nalwooga, Abantu batano bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudde mu disitulikiti y’e Bulambuli Akabenje kabademu emmotoka nnamba UAR 753K (FOTON Mixer) ne pikipiki UFL 438E, Bajaji boxer. Faridah Nampima omwogezi wa poliisi y’ebidduka agamba nti abagenzi kuliko Rogers Namawungo Emyaka 30, Mutonyi Zita 47; […]
Ssabalabirizi wakugaba ebirabo eri abawala abakyali emberera
Bya Juleit Nalwooga, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr.Steven Kaziimba Mugalu agamba nti wakugaba ebirabo eri abaana bamasomero abakyali emberera. Bino abyogedde mu kukyala kwe okw’Obusumba mu masomero agamu mu disitulikiti y’e Wakiso nga beetegekera ebikujjuko by’okujaguza emyaka 50 egy’obulabirizi bwa Kampala ku ssomero lya Gayaza […]
Eyatiisatiisa Muganziwe okumutta asindikibwa e Luzira
Bya Ruth Anderah, Agambibwa okutiisatiisa okutta muganzi we gamumyuuse ng’atwalibwa mu kkomera e Luzira. Kaaluma Abdul myaka 21 makanika era nga mutuuze we Kamwokya asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise amusomedde omusango gw’okutiisatiisa okutta omuntu wabula agweganye. Oludda oluwaabi […]
Omwana owémyaka 8 afiiridde mu muliro
Bya Abubaker Kirunda, Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Wanyama central mu Jinja north city Division omwana omulenzi owemyaka 8 bwasirikidde mu nnabambula womuliro. Omugenzi ategerekese nga Ashraf Waiswa, mutabani wa Jamili Kasolo. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga east James Mubi, agambye nti omuliro […]