Ng'omukulembeze w'eggwanga YK M7 ateekateeka okwogerako eri eggwanga olunaku lw’enkya, ekibiina kye byobufuzi ki Democratic Party kimusabye ovaayo ne kyokudamu eri embeera eyebbeeyi bannauganda mwebawangalira ensaji zino.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, munnamawulire wa ssenkagale wekibiina kya DP, Fred Mwesigwa agamba nti okwogera kwa pulezidenti kujjidde mu kiseera nga Bannayuganda bangi…
Bya Rita Kemigisa,
Abakulembeze mu disitulikiti ye Otuke balajanidde yafeesi ya ssabaminisita okubaddukira nóbuyambi bwemmere oluvanyuma lwenjala okwongera okuluma abatuuze ekiviriddeko abamu okufa.
Okusinzira ku bbalauwa ewandikibwa akulira abakozi mu disitulikiti, Simon Akileng, eri omuteesiteesi omukulu mu yafeesi ya ssabaminisita abatuuze mu Otuke bazze babonabona okuvira ddala 2019, bwebalumbibwa enzige ne zonoona ebirime
Wabula ate omwaka guno CAO…
Bya Prossy Kisakye,
Aboludda oluvugnya mu palamenti basabye okunonyereza ku byakwasisa mubaka munabwe owa Kassanda South Frank Kabuye, kukolebwe mangu asobole okuyimbulwa.
Ono yakwatibwa ku lwakutaano lwa ssabiiti ewedde nagalibwa ku poliisi ya CPS mu kampala, ku bigambmbibwa nti alina kyamanyi kunfa yomuyizi wa UCU Michael Betungura eyattibwa ku lunaku lwa kampeyini olusembayo eza bayizi ba Makerere…
Bya Damali Mukhaye,
Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kigamba kyakupangisa munnamateeka owabwe okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku memba wekibiina, Omuyizi wa Uganda Christian University student Michael Buwatte Bentungura eyattibwa mu ssabiiti ewedde.
Ono yattibwa abantu abatanategerekeka bweyali agenze ku ssettendekero e Makerere, okunonyeza mukwanogwe akalulu, Justus Tukamushaba, eyesimbyewo ku bwa guild president.
Kigambibwa nti waliwo okusika omuguwa mu…
Bya Rita Kemigisa,
Bannamateeka békibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform (NUP) nga bakulembedwamu Benjamin Katana basabye poliisi eri mu kinonyereza kunfa yómuyizi ku ttendekero e Makerere University, okugyayo akatambi akakwatibwa webattira omugenzi esobole okuzuula abatemu.
Kino kiddiridde poliisi okusaba bannamateeka okubawa ennaku endala bbiri bamalirize okunoonyereza kwabwe ku nsonga enoeyaviiriddeko omu ku bammemba baabwe omubaka wa…
Bya Malik Fahad,
Abakugu mu by’obulamu bazeemu okusaba gavt okwongera amaanyi mu kutekesa munkola eby’okusomesa ku bikolwa ebyomukwano kuba kiyamba mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya.
Omulanga guno guzze oluvanyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala, okulagira minisitule eye byenjigiriza okuvaayo ne ntekateeka ey’okusomesa abayizi ebyomukwano oba kiyite sex education
Okusinzira ku Dr. Augustine Lubanga, akulira ekitongole kya Uganda Cares,…
Bya Juliet Nalwooga,
Omusirikale wa poliisi naba family ye 5 bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudewo enkya ya leero ku luguudo oluva e Masaka –Kampala.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi ye bidduka, Faridah Nampiima, omusirkale waabwe afiiridde mu kabenje ye Bwesigye Cleopus, nga abadde akolera ku poliisi ye katwe.
Anyonyodde nti akabenje kano kavudde ku matoka ya Fuso truck…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi y’e Katwe etandise okunonyereza ku nnabambula w’omuliro ogukutte enyumba mu Betania Zone, ekisangibwa mu Ndeeba, mugombolola pye Rubaga wano mu Kampala ne mufiiramu abantu 2.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire, agamba nti omuliro gwakutte enyumba ya bafumba eyembaawo mwe babadde basula.
Bano bategerekese nga Musa ne Nabunya…
Bya Ruth Anderah,
Omuwabi wa gavumenti Jane Frances Abodo alagidde kooti etandike okuwulira omusango gwomusajja wa myaka 43 agambibwa nti yadda ku kaana ka myaka 3 nakatunuza mu mbug ya sitaani.
Omusajja ono omutuuze w’e Kyebando mugombolola yé Kawempe abadde mu kooti ya City hall mu maaso g’omulamuzi Fatuma Nabirye, kyoka olwóbunene bw’omusango gwe kwekusalawo okumwongerayo mu…
Bya Abubaker Kirunda,
Abatuuze mu district ye Bugiri basanyufu oluvanyuma lw’okufuna ensimbi obukadde 400 nga zino zakubayambako okulwanyisa envunza mu kitundu kyabwe
Ensimbi zino zaasondeddwa banna Rotary club ye Bugiri okuva ku banaabwe abe Germany.
Malijani Azalwa akulira Bugiri Rotary Club agambye nti bwebaalaba envunza zitaamye kwekutemya ku banaabwe okuva e Germany babaduukirire.
Azalwa agamba nti bakizudde nga envunza…