Eyaliko minisita w'ebyemizannyo Stanislus Okurut afudde
Ono nga y'abadde bba wa Minisita w'ekikula ky'abantu Mary Karooro Okurut afiiridde mu ddwaliro e Mulago .
Aludde ng'atawanyizibwa obulwadde bw'omutima
Poliisi eyisizza okulabula okujja nti abatujju bateekateeka kulumba uganda
Bano ku luno bagaala kulumba masomero mu masekkati nn'obuvanjuba bw'eggwanga.
Ekiwandiiko ekiva mu poliisi nga kiriko omukono gwa Gen Kale Kaihura kitegeezezza nga poliiis bwekitegeddeko nti abatujju bano bwebagenda okuyita mu bayekeera ba ADF nga bano beebagenda okulumba amasomero.
Kaihura asabye amasomero okussaawo obuuma obukebera abantu abayingira okulaba ababi…
Omuntu omu afiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo lw'e Entebbe mu kifo ekimanyiddwa nga Bata Bata e Namasumba.
Abantu abalala 4 badusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago n’ebeeera mbi nyo.
Addumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agambye nti akabenje kano bavudde ku mugoba wa Matooka ekikka kya Land cruiser abadde awenyuuka obuweewo.
Ekitongole ky’amakomera kitandise kawefube ow’okuwandiika abaserikale abajja, okwetolola eggwanga lyona.
Kawefube ono agenda okukolebwa n’ekitongole kya Justice Law and Order sector era ngagenderedwamu okukengeza ekizibu ky’ebbula ly’abakozi, oluvanyuma lw’abasibe okweyongera mu amakomera.
Akulira ekitongle kyamakomera Johnson Byabashaija agambye nti ekitongole kimaze ebbanga bakifirwa abakozi,abatwalidwa ebitongole ebirala , kale ngabasanye babazewo.
Bwabasaija agambye nti betaaga abantu 30 abalina zi…
Alipoota efulumiziddwa ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga eraze nti abayizi mu secondary bakyakola bubi amasomo omuli Bilogy, Okubala n’olungereza.
Alipoota eno ey’omwaka 2013 eraze nti abayizi ebitundu 14% bebategera biology, okubala mu senior eyokubiri, ebitundu 40% bebategera okubala ate ebitundu 43 % bebategera oluzungu.
Bwabadde atongoza alipoota eno kulwa minister, avunanyizibwa ku byenjigira ebisokerwako mu masomero ga secondary…
Omubaka Mohammed Nsereko akubiddwa mu buga z’amateeka lwa bbanja.
Amuwaabwe mubaka munne Hatwib Katoto agamba nti yamuwa kyeeke eky’ekikwangala
Kattoto ngayitaa mu bannamateeeka be aba Twesigye anad co advocats ayagala kusasulwa obukadde 660 z’amubanja ng’osizzaako n’ez’okumudaaza
Katooto agamba nti Nsereko yamuwola obukadde 660 ng’alina okuzisasula mu nnaku nkaaga kyokka nga mukumusasula yamuwa kyeeke y’ekikwangala
Kyeeki zino ezaali eza Equity…
Akakiiko akafuga ebiwerezebwa ku mpewo kazzeemu okujjukiza eb’emikutu gy’amawulire okussa ekitiibwa mu biragiro bya gavumenti.
Gavumenti eyagala eweebwa akadde ku buli leediyo ne TV ku bwereere okutegeeza abantu by’ekola kyokka nga kino ab’emikutu bakiwakanya.
Ekiwandiiko okuva mu kakiiko akafuga eby’oku mpewo kijjukizza ab’emikutu nti kibakakatako okutegeeza abantu gavumenti by’ekola kyokka nga kino kisoboka ssinga gavumenti eweebwa obudde…
Gavumenti ya Congo kyaddaaki evuddmeu omwaasi ku bantu baayo abafiira mu kabenje k’eryaato.
Omubaka wa Congo mu Uganda Charles Lekonga asabye gavumenti ya Uganda okunyonyola obulungi kiki ekyavaako akabenje
Lekonga era agambye nti kyaali kikakata ku gavumenti ya Uganda okussaawo amakubo okwewala obubenje nga buno obuva ku bulagajjavu
Ono agamba nti okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti eryaato eryabbira telyaali…
Kawefube w’okusikiriza abasawo bannayuganda abaddukira ebweru okudda ku butaka atandise.
Ababaka okuva mu palamenti y’amawanga ga Africa beebamuwomye omutwe okuyamba okwongeza ku basawo mu ggwanga.
Ababaka bano bagamba nti ensonga eno bagitegeezaako ne pulezidenti n’agiwagira nga kati okwogereza abasawo bano kwekugenda mu maaso.
Omu ku babaka mu palamenti eno, Onyango Kakoba agamba nti bamaze okwogerako n’basawo 20 abali…
Poliisi egenda kutandikawo ekifa awanalundibwa embwa enkonzi z’olusu omwezi ogujja
Mu kadde kano,embwa enkozi zigyibwa mu mawanga ga bulaaya ng’eno y’ensonga lwaki ssi buli poliisi nti ezirina
Aduumira ekiwayi kya poliisi eky’embwa , Dr martin Mugumya agamba nti ekifo kino ekibalirirwaamu akawumbi kalamba kyakuzimbibwa Naggalama