Amawulire
Entekateeka z’amaziika ziwedde.
Government efulumizza entekateeka enagobererwa mukuziika omugezi Stanislus Okurut ,nga ono yaliko minister ow’ebyemizanyo mu uganda ,songa era yaabade bba wa minister akola kukikula ky’abantu Mary karoro Okurutu . Omugenzi okurutu yafudde kawungezi kayisse, oluvanyuma lw’okuboyaana n’obulwade bw’omutima okumala akabana. Akulira essengejero ly’amawulire mu uganda […]
Eyali minista afudde
Eyaliko minisita w’ebyemizannyo Stanislus Okurut afudde Ono nga y’abadde bba wa Minisita w’ekikula ky’abantu Mary Karooro Okurut afiiridde mu ddwaliro e Mulago . Aludde ng’atawanyizibwa obulwadde bw’omutima
Abatujju beswanta
Poliisi eyisizza okulabula okujja nti abatujju bateekateeka kulumba uganda Bano ku luno bagaala kulumba masomero mu masekkati nn’obuvanjuba bw’eggwanga. Ekiwandiiko ekiva mu poliisi nga kiriko omukono gwa Gen Kale Kaihura kitegeezezza nga poliiis bwekitegeddeko nti abatujju bano bwebagenda okuyita mu bayekeera ba ADF nga bano […]
omu afiiridde mu kabenje
Omuntu omu afiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Entebbe mu kifo ekimanyiddwa nga Bata Bata e Namasumba. Abantu abalala 4 badusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago n’ebeeera mbi nyo. Addumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agambye nti akabenje kano bavudde ku mugoba wa […]
abagaala okukola mu makomera akakisa kaakano
Ekitongole ky’amakomera kitandise kawefube ow’okuwandiika abaserikale abajja, okwetolola eggwanga lyona. Kawefube ono agenda okukolebwa n’ekitongole kya Justice Law and Order sector era ngagenderedwamu okukengeza ekizibu ky’ebbula ly’abakozi, oluvanyuma lw’abasibe okweyongera mu amakomera. Akulira ekitongle kyamakomera Johnson Byabashaija agambye nti ekitongole kimaze ebbanga bakifirwa abakozi,abatwalidwa ebitongole […]
Abayizi tebategeera byebasoma
Alipoota efulumiziddwa ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga eraze nti abayizi mu secondary bakyakola bubi amasomo omuli Bilogy, Okubala n’olungereza. Alipoota eno ey’omwaka 2013 eraze nti abayizi ebitundu 14% bebategera biology, okubala mu senior eyokubiri, ebitundu 40% bebategera okubala ate ebitundu 43 % bebategera oluzungu. Bwabadde atongoza […]
Omubaka Nsereko awaabiddwa lwa bbanja
Omubaka Mohammed Nsereko akubiddwa mu buga z’amateeka lwa bbanja. Amuwaabwe mubaka munne Hatwib Katoto agamba nti yamuwa kyeeke eky’ekikwangala Kattoto ngayitaa mu bannamateeeka be aba Twesigye anad co advocats ayagala kusasulwa obukadde 660 z’amubanja ng’osizzaako n’ez’okumudaaza Katooto agamba nti Nsereko yamuwola obukadde 660 ng’alina okuzisasula […]
Gavumenti eremedde ku mikutu gy’amawulire
Akakiiko akafuga ebiwerezebwa ku mpewo kazzeemu okujjukiza eb’emikutu gy’amawulire okussa ekitiibwa mu biragiro bya gavumenti. Gavumenti eyagala eweebwa akadde ku buli leediyo ne TV ku bwereere okutegeeza abantu by’ekola kyokka nga kino ab’emikutu bakiwakanya. Ekiwandiiko okuva mu kakiiko akafuga eby’oku mpewo kijjukizza ab’emikutu nti kibakakatako […]
Congo evuddeyo ku lyaato eryabbira
Gavumenti ya Congo kyaddaaki evuddmeu omwaasi ku bantu baayo abafiira mu kabenje k’eryaato. Omubaka wa Congo mu Uganda Charles Lekonga asabye gavumenti ya Uganda okunyonyola obulungi kiki ekyavaako akabenje Lekonga era agambye nti kyaali kikakata ku gavumenti ya Uganda okussaawo amakubo okwewala obubenje nga buno […]
Abasawo bakomewo
Kawefube w’okusikiriza abasawo bannayuganda abaddukira ebweru okudda ku butaka atandise. Ababaka okuva mu palamenti y’amawanga ga Africa beebamuwomye omutwe okuyamba okwongeza ku basawo mu ggwanga. Ababaka bano bagamba nti ensonga eno bagitegeezaako ne pulezidenti n’agiwagira nga kati okwogereza abasawo bano kwekugenda mu maaso. Omu ku […]