Amawulire
Ebya bavuganya tebintiisa
Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agamba nti eky’abavuganya ne bannakyeewa okusaba enkyuukakyuuka mu mateeka g’eby’okulonda tekisobola kumubuza tulo Abavuganya babadde batambula eggwanga nga basaba nti wabeewo enkyuukakyuuka mu mateeka g’ebyokulonda nga muno mwemuli okugoba akulira akakiiko Kiggundu agamba nti abavuganya baddembe okusaba byebagaala naye […]
Bannamateeka bagaala ssabalamuzi
Bannamateeka wansi w’ekibiina ekibagatta bongedde okutabuka ku ky’okubulawo ssabalamuzi akakasiddwa. Kati mwaka mulamba ng’eggwanga teririna ssabalamuzi oluvanyuma lw’ekisanja kya Ben Odoki okuggwaako Ng’ayogerako eri bannamawulire, akulira bannamateeka Ruth Ssebatindira agambye nti kino kikosezza nnyo emirimu gy’ekitongole ekiramuzi Ssebatindira agamba nti bagenda kwekubira enduulu eri pulezidenti […]
Enkyukakyuuka mu poliisi- Ssenkumbi agenze Mbarara- Nabakooba akuziddwa
Akulira poliisi Gen Kale Kaihura akoze enkyuukakyuuka mu basajja be. Abadde omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba akuziddwa nga kati y’amyuka akola ku byobufuzi mu poliisi. Kati omwogezi wa poliisi ye Fred Enanga n’amyukibwa Polly Namaye okuva e Mbarara. Patrick Onyango kati ye mwogezi wa poliisi […]
Bulange Plaza yakuzimbibwa
Obwakabaka bwa Buganda bukakasiza ng’omulimu gw’okuzimba ekizibe kya Bulange Plaza bwegutandika essaawa yona. Abantu ba Sssabasajja batandise dda okuleeta ebikozesebwa mu kuzimba era nga basoose bebe Kasanja, baleese magulu kkumi z’omusenyu. Ssentebe w’akakiiko ka Kasubi Masiro Gggwanga Mujje freeman Kiyimba agambye nti omulimu guno gusuubirwa […]
Amasasi gabakubye mu butanwa
Abavubuka 2 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lwokukubwa amasasi agawabye poliisi bwebadde egezaako okukwata omubbi wa kompyuta yomungalo ey’ekika kya ekika kya laptop. Mark Mujabi ne Ramathan Werikhe beebalumiziddwa nga batuuze bomu Kito e Bweyogerere. Ababiri bano bategeezezza nga amasasi […]
Omukazi ayokezza muggya we ow’olubuto
Poliisi e Katwe ekutte omukazi eyayokezza mujjawe ow’olubuto n’amutta ng’akozesa petulooli. Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga agamba Aisha Nassali nga mutuuze wali e Sembuule Wankulukuku yefudde omugenyi ewa Muggya we olwo n’amuyiira petulooli . Ebyembi, omukyala ono omuliro gwamutwaliddemu nga naye yayidde mu maaso. […]
Amataba gabalese bemagazza
Abatuuze bokukyalo Lubuga wano e Kibuli gebakaaba gebakomba oluvanyuma lwa namutikkwa wenkuba afudembye mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero okuleka nga etikudde obusolya obusinga nga n’empya ezisinga nga zanjadde amazzi. Abamu ku batuuze betwogedde nabo obuzibu babutadde ku myaala egyazibikira nga kati basaba ab’ekitongole ekitwala […]
Poliisi yezoobye n’aba bodaboda e Mukono
Abagoba ba bodaboda e Mukono bavudde mu mbeera nebaziba amakubo oluvanyuma lwa poliisi okukola ekikwekweto mweyoledde pikipiki ezisoba mu 100 ezaabo ababadde batisse akabindo saako naabo abatalina pamiti. Adumira poliisi ye Mukono Alfred Bagambaki agamba oluvanyuma lw’etteeka ku butatikka kabindo eri ababodaboda bano okuyita, bazze […]
Owe Luweero alondebwa nga 22-May
Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde ennaku z’omwezi nga 22 omweezi ogwokutaano nga olunaku lw’okujulizaako ekifo ky’omubaka omukyaala owe Luwero. Okusunsula abanesimbawo kwakuberawo nga 5 ne 6 omwezi gwegumu olwo kampeyini zitojjere okuva nga 8 okutuusa nga 20 May. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Badru Kiggundu alabudde nti teri kusonda […]
Aba taxi beekalakaasa
Abasaabaze bangi bakonkomalidde ku paaka enkadde oluvanyuma lw’abagoba ba taxi okwediima. Aba taxi bano bawakanya eky’okusengula siteegi za taxi eziwerera ddala 7 okuzitwaala mu paaka ya USAFI. Kino kiddiridde okufuna ebbaluwa okuva eri ekitongole kya Kampala capital city authority nga siteegi ezimu bwezigenda okusengulwa okusobola […]