Amawulire
Eyatta mukyala we gatandise okumumyuuka
Omusajja agambibwa okutta mukyala we nga bali ku hanemuunu asindikiddwa mu ddwaliro ly’abatabufu b’emitwe mu ggwanga lya South Africa. Shrien Dewani, ow’emyaka 34 alabiseeko mu kkooti enkulu ku by’okutta mukyala we ow’emyaka 28 ng’ono yamukuba masasi mu kibuga Capetown. Omusajja ono enzaala ya Bungereza yegaana […]
Mulwanyise obusaanyi- temulinda gavumenti
Abalimi mu disitulikiti ye Kalungu basabiddwa okwekolamu omulimu okulwanyisa obusaanyi obwabalumba mu kifo ky’okulindirira gavumenti Obusaanyi obwogerwaako bwalumbye nnimiro eziwera mu district eno nga buno bulya buli kyakiragala Omubaka ow’ebimu ku bitundu ebikoseddwa, Gonzaga Ssewungu agamba nti abalimi keekadde batereke nga ensimbi z’okukozesa okufuuyira obusaanyi […]
Abalamuzi tebamala
Ekitongole ekiramuzi kikyatoba n’entuumu y’emisango ng’obuzibu buvudde ku bakozi batono okwetoloola disitulikiti zonna Omuwandiisi omukulu ow’ekitongole ekiramuzi, Paul Gadenya ategeezezza ababaka ba palamenti nti abalamuzi batono nnyo mu kooti za wansi kale nga kibakalubirira okukola ku misango mu budde Gadenya agambye nti mu ggwanga lyonna […]
Omuyizi yetugidde mu kabuyonjo
Abasomesa n’abayizi ku ssomero lya Mandela secondary school e Kyabakuza Masaka bakyaali mu kutya oluvanyuma lw’okusanga omuyizi wa siniya ey’okubiri nga yeetugidde mu kabuyonjo. Omuwala ono ategerekese nga Esther Nakaggwa kigambibwa nti kino akikoze oluvanyuma lw’okuzuula nti abadde ali lubuto Kigambibwa okuba ng’omwana ono omusajja […]
Ogwa Lukwago gwa lwa kutaano luno
Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga kyaddaaki etaddewo olunaku okunawulirwa okujulira okwakolebwa loodimeeya Erias Lukwago. Abalamuzi abataano aba kkooti eno nga bakulirwa Bart Katureebe nga 11th omwezi guno bakutandika okuwulira okusaba okwakolebwa Lukwago ng’awakanya ebyasalibwaawo omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu Steven Kavuma Lukwago ayagala kkkooti eno okusazaamu ebyasalibwaawo […]
Omugotekko mu USAFI- aba taxi basobeddwa
Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi bavudde mu mbeera olw’omugotteko ogusukiridde. Olunaku olw’eggulo aba KCCA basazeewo okusengula siteegi ezikwata ku lw’entebbe okusobola okukendeeza ku mujjuzo mu paaka eno. Wabula aba taxi bano bemulugunya nti paaka eno nfunda nyo nga taxi emu kigitwalira ebbanga […]
Abasoma obusawo e Mulago beediimye
Emirimu egimu gisanyaladde mu ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’abayizi abasoma obusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bayambako mu kujanjaba mu ddwaliro lino, okwediima lwabutasaulwa musaala kati giweze emyeezi 2. Bano kati basazeewo kudda ku byaabwe mu bisulo byaabwe era bekolera gyaabwe. Omwogezi w’eddwaliro […]
Emyaka 20 ng’ekitta bantu kibaddewo- abazungu bejjusa
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bakyalina ensonyi ku biki ebyatuuka mu ggwanga lya Rwanda emyaka 20 emabega. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Ban Ki Moon agamba nti bakywulira bubi nti tebalina kyebaakola kutangira kitta bantu kino. Bino abyogeredde ku mukolo gw’okukungubagira abantu abattibwa mu kitta bantu mu ggwanga lya […]
Ebye Mulago byampuna- amazzi bagagabana na byaalo
Ebizuuliddwa mu ddwaliro e Mulago byenyamiza. Obadde okimanyi nti ebyaalo bibiri biramba ebiriraanye Mulago biri ku mazzi g’eddwaliro Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu nga bakulembeddwaamu Kenneth Omona bagamba nti amaka mangi gatambulira ku mazzi ge Mulago. Omu ku baddukanya eddwaliro lino, David Nuwagaba […]
Okuvvoola abaana kweyongedde- obubenje bwa boda bungi
Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti emisango gy’okusobya abaana gyeyongedde Alipoota ey’omwaka oguwedde eraga nti okweyongera kuno kwa bitundu 18.4 ku kikumi Bwegutuuse ku kuvvoola eddembe ly’abaana, wabaddewo okweyongera ddala nga kutuuse ku bitundu 38 kikumi. Obukubagano mu maka nabwo bwaali bungi ddala nga bwalinnya n’ebitundu […]