Amawulire
Abayizi e Makerere beekalakaasa
Abayizi abasoma eby’obulambuzi ku kasozi k’abayivu e Makerere batanudde okwekalakaasa nga bawakanya eky’okumala akabanga nga tebasoma nga ate baasasula fiizi zaabwe. Bano balumbye awatuula abakulira ettendekero lino babanyonyole lwaki tebabasomesa. Abayizi bano obwedda abeenaniise obukooti obumyuufu n’okukwata ebipande ebiriko ebigambo ebikambwe. Akulira abayizi bano Ivan […]
Owa NRM awangudde e Bubuulo
Munna NRM Rose Masaba Mutonyi ye mubaka we Bubulo ey’obugwanjuba omuggya. Ono yakukumbye obululu 29,135 n’addirirwa munna FDC Ahumada Wakweya n’obululu 3270 , eyesimbyewo ku lulwe Joseph Masolo yafunye 1684 , munna DP Paul Butita n’abuukayo n’obululu 662 olwo Emma Mukindwa n’akwebeera n’obululu 128. Akulira eby’okulonda […]
Bukenya aguluba na gwakubba mukyala wa munne
Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 27 omwezi gw’omukaaga okuwulirirako omusango ogwawaabwa omusajja agamba nti eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yamubbako omukazi Eyawaaba ye Emmanuel Nyababyango ng’alumiriza Bukenya okumubbako mukyala we Margaret Kabasinguzi Omusajja ono agamba nti yawa mukyala we n’amusiba n’empeta kyokka ono yamala […]
Poliisi yeeyakasinga okutulugunya abantu
Alipoota efulumiziddwa akakiiko ka gavumenti akalwanirira eddembe ly’abantu eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abalala Alipoota eno eraga nti emisnago egyawaabwa poliisi gyava ku 346 mu mwaka gwa 2012 okudda ku misango 424 mu mwaka gwa 2013. Poliisi eddibwaako abantu babulijjo ssekinoomu n’emisango 163 olwo […]
Lwaki mumenyako bimu- Palamenti etabukidde KCCA
Ababaka ba palamenti olwaleero bakunyizza akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi ku ky’okumenya ebizimbe ebimu ebirala nebisigala. Ababaka okubadde Monica Amoding, Wilfred Niwagaba, Medard Ssegona ne Crispus Ayena bagamba nti mu bikwekweto ebikolebwa mu kibuga tewali bwenkanya nga waliwo abalekebwa ate nga nabo baba bamenya […]
Mukomye okutema emiti
Eggwanga lyolese okwongera okufuna ebibamba ssinga tewaliiwo kikoleddwa kutaasa buttonde bwa nsi. Minisita akola nsonga z’ebibamba, Hillary Onek agamba nti abantu bangi bakyasala emiti egyandikutte ku mbuyaga kale nga buli lw’ejja eyera buli by’eyitako. Onek agamba nti keekadde abakulembeze ku mitendera gya wansi okukwatizaako gavumenti […]
Pistorious yegaanye eby’okusojja muganzi we
Munnabyamizannyo Oscar Pistorius yegaanye ebigambibwa nti yasojja nga muganzi we nti era baalina obutakkaanya Ono abadde addamu ku bubaka bw’essimu obwasindikibwa ku ssimu ye nga muganzi we yemulugunya Ab’oludda oluwaabi baleese obubaka buno okukakasa omulamuzi nti Pistoriuos ono yali anyiiga mangu ate nga taggwa kwekalakaasa […]
Tetwagala USAFI- aba taxi
Aba taxi okugobwa mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi tebanakikiriza nga kati basazeewo okwediima okusaabaza abantu abakwata ku luguudo lwe Entebbe. Taxi zonna ezikolera mu kibuga wakati zisimbiddwa okujjako ezikolera mu paaka ye Nakawa ne Nateete. Ssentebe w’ekibiina ekigatta ba deereva neba kondakita , […]
USAFI -Aba taxi bazzeemu okwediima
Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi batudde mu Lukiiko okuteesa ku ky’okubagoba mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi. Kino kiddiridde amakya galeero bano okuva mu mbeera nebediima okusaabaza omuntu yenna nga bawakanya ekya KCCA okubasindikiriza okuva mu paaka enkadde. KCCA yajjuludde siteegi […]
Tunonyereza ku mirambo mu kibuga- Poliisi
Poliisi etandise okunonyereza ku mirambo ebiri egizuuliddwa wakati mu kibuga enkya ya leero. Abasajja bano bombi emirambo gyaabwe gisangiddwa ku kibangirizi kya Clock Tower era nga kitebeerezebwa nti babadde basaabaze ababadde bagenda okulinnya taxi mu paaka ya USAFI Emirambo gino zeezimu ku nsonga ezivuddeko aba […]