Omusajja amaze emyaka 15 ng’amira eddagala eriweweeza ku mukenenya addukidde mu kkooti oluvanyuma lw’okukizuula nti talina bulwadde buno
Zabron Hategeka yekebeza obulwadde bwa siriimu mu mwaka gwa 1999 era ab’akalwaaliro ka Adventist medical Centre nebamutegeeza nti yalina siriimu
Bamusindika mu ddwaliro e Rubaga nayo abamukebera era nebamuteerawo ku ddagala
Wabula mwezi ogw’okubiri mu mwaka guno, omusajja ono yazzeeyo…
Oluvanyuma lw’ababbi okuddamu okutigomya Nansana w'atali, atwala poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira alagiddwa okudda mu ofiisi ng'okumunonyereza ku by’okulya enguzi bwekukyagenda mu maaso.
Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi agamba Kirumira musajja mwooyo ggwanga wabula ng'omusango ogwamutekeebwako munene ddala.
Kaweesi era agambye nti n'omusango ogwogerwaako ssi gwannaggomola nga tegusobola kukozesebwa kumuleka bweru
Kirumira yakwatibwa…
Amyuka loodi meeya wa Kampala Sulaiman Kidandala akirizza nga bweyasisinkanamu ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura e masindi .
Wabula yeesamulira ddala eby’okusaba ssente zonna okulwanyisa loodi meeya Erias Lukwago ng'obutambi bw’amaloboozi bwebugamba .
Agamba amaloboozi gano gajingiriddwa n’ekigendererwa eky’okwonona erinya lye nga ye yali ayogera ku nsonga ndala nyo ne Kayihura okuli embeera eri ku city hall…
Akakiiko akagenda okukulakulanya olubiri lwa ssabasajja kabaka e Mengo lulondeddwa
Omulimu gwaalyo gugenda kubeera gwakuyoyoota lubiri luno kulaba nti lweyagaza ate nga luvaamu n’ensimbi ezidda eri obuganda
Ab’ekisaawe ky’enyonyi bali baasaba dda nti ku kisaawe kino bafuneko akafo okunaagwa enyonyi kyokka nga Buganda yabasaba okubawa obudde okukirowoozaako.
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti akakiiko kano…
Ba dereeva ba taxi baweze nga bwebatagenda kuva mu paaka enkadde okutuuka nga babafunidde webadda
Abakulira Mustafa Mayambala agamba nti kikakata ku KCCA okubafunira webadda awagazi mu kifo ky’okubaisndika ebweru
Mayambala agamab nti paaka ezoogerwaako ng’eya USAFI ntono nnyo okubamalawo
KCCA yalangiridde nti yakutandika okuddabiriza paaka enkadde mu mwezi gw’omusanvu
Kkooti enkulu mu ggwanga eragidde nti ebibiina ebiwerera ddala kkumi biwandukululwe
Ebibiina bino birangibwa butatuuza nkiiko, n’obutalaga gyebijja nsimbi.
Akakiiko akalondesa keekaddukira mu kkooti nga kagaala kufuna lukusa luwera bibiina bino
Ebibiina ebyogerwaako Action party, bridge party, progressive alliance party, Uganda mandate party, new order democracy, Peoples Independent party, movement for National Redemption party, Reform party n’ebirala.
Ebikumi n’ebikumi by'abantu bakyabuze oluvanyuma lw’ekidyeeri kwebabadde okubbira.
Ekidyeeri kino kibaddeko abantu 459 ng'abasinga bayizi.
Biri mu ggwanga lya South Korea ng'abayizi bano babadde bava kulambula ku kizinga kye Jeju.
Bbo abaddukirize baatandise dda okutuuka mu kifo kino ng'enyonyi zi namunkanga n’emeeri byonna byatuuse dda okutandika okuyigga abo abakyabuze.
Amangu ddala ng'akabenje kano nga kaakaggwa, abantu abali eyo mu…
Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya FDC abasazeewo okugenda mu kooti nga bawakanya okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu okugenda maaso mu ggwanga.
Bano bawakanya ekya ba ssentebe b’ekyalo okuteekebwa ku bukiiko obuwandiisa abantu nga bagamba nti buliwo mu bukyamu era tebwesigika.
Bano bagamba nti ebikwatagana ku batuuze tebisaanye kusalibwaawo ba ssentebe ba byalo kubanga obuvunanyizibwa buno buli mu mikono…
Obwakabaka bwa Buganda ssibwakugoba musenze yenna ku ttaka bwalyo obwalidiziddwa gavumenti eyawakati.
Oluvanyuma lw’okukwasa obwakabaka ebyapa by’ettaka erimu kwelyo elyali liwambiddwa mu gyenkaaga, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yasabye obwakabaka obutagoba basenze bano ku ttaka lino wabula bateese engeri y’okulikulakulanyamu.
Omwogezi w’olukiiko olutwala eby’ettaka mu bwakabaka bwa Buganda Abby Ntambi agamba obwakabaka tebulina kigendererwa kyonna kyakugoba Muntu yenna…
Minister omubeezi ow’ebyettaka Aida Nantaba ayimirizza eby’okugoba abatuuze ku ttaka lye Kayunga awagenda okuzimbibwa ebbibiro ly'amasanyalaze E Isimba.
Kino kiddiridde kkampuni eyapatanibwa okukola omulimu guno okulagira abatuuze okwamuka ettaka lino yadde nga ebadde tennabaliyirira.
Nantaba agamba abatuuze bagende maaso n’okulima okutuusa nga baliyiriddwa.
Agamba yasisinkanyemu dda aba kampuni eno eya china international water and electric cooperation nebakkiriza okuyimiriza…