Kooti ewozesa abakenuzi efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eli akulira banaka ya Cairo International Bank Mohamed Tarek oluvanyuma lwokulemererwa okweyanjula mu kooti okwewozaako ku misango gyokubulankaya ssente z’akasiimo eziri eyo mu buwumbi 165 n’abamu ku bakungu okuva mu ministry y’abakozi.
Munnamateekawe Macdusman Kabega ategezezza kooti nga omuntu we bwatali mu ggwanga .
Ono avunanibwa n’eyali omuwandiisi w’emkalakalira mu…
Minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ayagala olukiiko olukola ku kuwola abayizi ssente z’okusoma lwongeze ku bayingizibwa abayingizibwa mu nkola eno mu matendekero agawagulu.
Kati abayizi 5.7 bebokuganyulwa mu nteekateka eno nga ye ayagala batuuke ku bitundu 50%.
Alupo agamba olukiiko luno lulina okufuba okulaba nga waliwo obulambulukufu mu kuwola ssente zino abaana babanaku basobole okuganyulwamu.
Agamba olukiiko lwakusooka n’obuwumbi…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni anenyezza nyo ab’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga obutafaayo nga ebibira bitemebwa bigwaAwo.
Bwabadde atongoza okusimba emiti ku luguudo lwa Northern bypass, Museveni ategezezza nga abakulira ekitongole kino bwebasazewo kutuula mu ofiisi nga eno ebibira bitemwa bigwawo.
Museveni agamba nti buvunanyizibwa bwa kitongole kino okulaba nga emiti tejitemebwa saako n’okulaba nti emiti emirala gisimbibwa.
Ono era…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi abakoolera mu buyumba okuliraana akatale ke wa Kisekka
Kiddiridde abasuubuzi okwambalagana n'abasirikale ba KCCA ababadde bagenze okubasengula.
Emirimu gisanyaladde ng'amaduuka maggale okwo kw'ossa n'ebyentambula okwesiba
Ebikumi n’ebikumi by’abantu battiddwa mu ttemu erigendereddwaamu amawanga agamu mu ggwnaga lya South Sudan.
Kino kibaddewo ng’abayeekera bezza ekitundu kye Bentui nga kino kikubyeeko amafuta
Okusinziira ku kiwandiiko okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, abattiddwa basangiddwa mu muzikiti, mu makanisa ne mu malwaliro
Mu ngeri yeemu era waliwo ekiwandiiko ekijjudde obukaayi ekisomeddwa ku mikutu gy’amawulire nga kiragira abantu abamu…
Abawala musanvu kw’abo 85 abawambibwa okuva ku ssomero badduse
Omuwala omu y’abadde yakasobola okudduka bukyanga kino kibaawo nga kati abawala 77 beebakyaali mu buwambe
Abawala 130 beebawambibwa kuva ku ssomero abasajja abaali babakanye n’emmundu bwebalumba abawala bano ku lunaku lwa bbalaza oluwedde
Ab’akabinja ka Boko Haram beebatebereza okuba nga baawamba abawala bano
Kampala capital city yakulangirira siteegi za bodaboda ezayiseemu ssabiiti ejja.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju agamba nti mu ngeri yeemu n’amateeka aganatwaala abagoba bano gakufuluma
Kawujju agamba nti ekigendererwa mu kino kutegeka ba bodaboda bano era nga kino kyakubawo nga 28 omwezi guno
Omwaka oguwedde, KCCA yawandiisa piki emitwalo mukaaga nga zino zeezigenda okukolera mu kibuga
Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw'omusajja akolezezza nyumba n'atta abaana bana.
Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n'ekigendererwa ky'okunyagulula kyokka ng'omukyala yemuludde n'adduka.
Omusajja ono olulabye bw'ati n'ayokya enyumba era nga takomye awo n'agoba omukyala okukkakkana ng'amutuusizzaako obulabe n'abaana be abalala basatu
Ayogerera poliisi y'omukitundu kino, Lameck Kigozi agamba nti omusajja ono batandise okumuyigga era nga wakuvunaanibwa…
Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi.
Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga.
Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba kino ssikyabwenkanya kubanga kampuni ezilongoosa amata zakubafotola nga zigula amata gaabwe ku…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akolokose pulezidenti Museveni olw’ebigambo byeyayogedde ebirengezza ab’oludda oluvuganya gavumenti , ng'abanenya nti bebaviiriddeko ekibuga kampala obutakulakulana.
Besigye agamba ebigambo bino binyomoola abakulembeze abalondeebwa abantu, nga era ayagala palamenti etunule mu nsonga eno kubanga tekikirizika mukulembeze w’eggwanga okweyisa mungeri bwetyo.
Mu ngeri yeemu , Dr Besigye agambye nti yali nsobi…