Amawulire
Ensimbi z’okusomesa abayizi ssi zabwereere
Minisitule y’ebyenjigiriza ekalambidde nti ensimbi ezigenda okuwolebwa abayizi okweyongerayo okusoma ssizabwerere. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yatongozza enkola eno olunaku olw’egulo yatandise enkola eno n’ekigendererwa eky’okuyamba abaana abava mu maka amankusere okweyongeraro okusoma mu matendekero agawagulu. Wansi w’enkola eno eno abayizi bakusasula ssente zino mu mwaka […]
Bawanyondo basenze obuyumba mu kisenyi
Emirimu gisanyaladde mu kisenyi oluvanyuma lwabawanyondo bakooti okukeera okumenya obuyumba bwonna obwazimbibwa kumpi n’oluguudo mu kitundu kino. Kino kiddiridde omusango ogwawaabwa omusuubuzi John Bosco muwonge olwo kooti neragira obuyumba buno bumenyebwe. Twogeddeko n’omu ku bawanyondo bano nategeeza nga buli awakanya kino bwali ow’eddembe okugenda […]
Mukome okuwandiisa abantu- abavuganya
Abali ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala okuwandiisa abantu okufuna endagamuntu kuyimirizibwe Bano bagamba nti tekutambulira ku mateeka nga y’ensonga lwkai kulimu emivuyo Mu lukiiko lwa bannamawulire olwa wamu, akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu agambye nti tewali kigobererwa mu kuwandiisibwa bantu oba olyaawo kyekivuddeko […]
Ebikofiira bikwangala
Ebikoofira by’okumutwe bi Helmet KCCA z’ebadde ereese okugabira abagoba ba Bodaboda ,ekitongole ekikole ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga kizizudde nti tezitukaganye namutindo. Akulira ekitongole kino Ben Manyindo agamba bakebedde helmet zino nebakizuula nti teziyinza kuyamba muvuzi wa pikipiki singa aba agudde ku kabenje. Agamba nti […]
KCCA teyetaaga Loodimeeya kutambula-Gavumenti
Bannamateeka ba KCCA bategezezza nga ekitongole kya KCCA bwekisobolera ddala okudukanyizibwa awatali loodi meeya. Munnamateeka wa KCCA Charles Ouma bwabadde awayo okwewozako kwa KCCA eri abalamuzi ba kooti ensukulumu 7 abakulembeddwamu Esther Kisakye , ategezezza nga Lukwago watabadde mu ofiisi kati emyezi etaano naye nga […]
Abawagira Mbabazi abalala bavuddeyo
Waliwo ekibinja kyabavubuka abawagira ssabaminista John Patrick Amama Mbabazi ekyetonzeewo mu kibiina kya NRM. Bano abeeyita aba NRM Poor Youth Forum bazinzeeko ekitebe kya NRM e kyadondo,nga bagamba nti bbo bawagizi ba Mbabazi. Agavaayo goolese nga bano bwebabadde bakyategeka olukungana lwaabwe, omubaka akiikirira abavubuka Evelyn […]
Ogwa Besigye tegugenze mu maaso
Okuwulira omusango ogwawaabwa eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye tekugenze mu maaso. Omulamuzi abadde alina okugukolako, Elizabeth Musoke talabiseeko Besigye yawaaba ng’;ayagala aba UBC bamuddize ensimbi zeyabasasula okumukubira obulango nga yesimbyeewo mu mwaka gwa 2011 nga kino kyabalema Ayagala bamusasule obukadde bwe 21 […]
Ababaka be minista bakubaganye empawa
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bavudde mu mbeera ng’okukubaganya ebirowoozo ku bawala abatundibwa mu ggwanga ya Iraq kugenda mu maaso. Omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara ne Teopista Ssentongo beebaleese ensonga eno nga bagamba nti abawala bangi bwebatuuka eyo batulugunyizibwa Wabula minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi […]
Poliisi yeezoobye n’abatuuze
Poliisi n’okutuusa kati ekyebulunguludde ewa Dinia mu Ndeeba oluvanyuma lw’abatuuze okutabukira bawanyondo ba kooti ababadde batandise okumeya amayumba gabwe agali ku ttaka erigambibwa okugulibwa kampuni y’ebizigo eya Movit. Poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula abatuuze bano ababadde bataamuse nga enjuki. […]
Aba Pakistan bawewuse- egy’obuliisa maanyi gibajjiddwakao
Omuwaabi wa gavumenti banansi b’eggwanga lya Pakistani babiri abajjeeko emisango gy’okukaka omuwala ow’emyaka 23 omukwano wabula nebagulwako gyabusiyazi. Bano babadde bavunanibwa kukakana ku muwala ono nebamukaka omukwano mu kirindi. Omulamuzi wa kooti ya City Hall Juliet Hatanga era omusango egusindise mu kooti ya Buganda Road […]