Amawulire

Kidandala yejjusa okusisinkana Kaihura

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Amyuka loodimeeya Sulaiman Kidandala yejjusa okusisinkana senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura Ng’asisinkanye abakulembeze ku ludda oluvuganya, Kidandala agambye nti teyalina kigendererwa kyonna kibi kyokka nga yejjus aobutagambako mukama we Ng’ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukiiko luno, Dr Kiiza Kiiza Besigye agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunonyereza […]

Akulira Cairo Bank ayitiddwa bukubirire

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Kooti ewozesa abakenuzi efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eli akulira banaka ya Cairo International Bank  Mohamed Tarek oluvanyuma lwokulemererwa okweyanjula mu kooti okwewozaako ku misango gyokubulankaya ssente z’akasiimo eziri eyo mu buwumbi 165 n’abamu ku bakungu okuva mu ministry y’abakozi. Munnamateekawe  Macdusman Kabega ategezezza kooti nga […]

Abayizi abawolebwa ensimbi batono

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ayagala olukiiko olukola ku kuwola abayizi ssente z’okusoma lwongeze ku bayingizibwa abayingizibwa mu nkola eno mu matendekero agawagulu. Kati abayizi 5.7 bebokuganyulwa mu nteekateka eno nga ye ayagala batuuke ku bitundu 50%. Alupo agamba olukiiko luno lulina okufuba okulaba nga waliwo […]

Pulezidenti Museveni alumbye ab’ebibira

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni anenyezza nyo ab’ekitongole ky’ebibira mu ggwanga obutafaayo nga ebibira bitemebwa bigwaAwo. Bwabadde atongoza okusimba emiti ku luguudo lwa Northern bypass, Museveni ategezezza nga abakulira ekitongole kino bwebasazewo kutuula mu ofiisi nga eno ebibira bitemwa bigwawo. Museveni agamba nti buvunanyizibwa bwa kitongole […]

Omukka ogubalagala ewa Kisekka

Ali Mivule

April 22nd, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi abakoolera mu buyumba okuliraana akatale ke wa Kisekka Kiddiridde abasuubuzi okwambalagana n’abasirikale ba KCCA ababadde bagenze okubasengula. Emirimu gisanyaladde ng’amaduuka maggale okwo kw’ossa n’ebyentambula okwesiba

Mu South Sudan ekitta bantu kitandise

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Ebikumi n’ebikumi by’abantu battiddwa mu ttemu erigendereddwaamu amawanga agamu mu ggwnaga lya South Sudan. Kino kibaddewo ng’abayeekera bezza ekitundu kye Bentui nga kino kikubyeeko amafuta Okusinziira ku kiwandiiko okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, abattiddwa basangiddwa mu muzikiti, mu makanisa ne mu malwaliro Mu ngeri yeemu […]

Abawambibwa mu Nigeria batolose

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Abawala musanvu kw’abo 85 abawambibwa okuva ku ssomero badduse Omuwala omu y’abadde yakasobola okudduka bukyanga kino kibaawo nga kati abawala 77 beebakyaali mu buwambe Abawala 130 beebawambibwa kuva ku ssomero abasajja abaali babakanye n’emmundu bwebalumba abawala bano ku lunaku lwa bbalaza oluwedde Ab’akabinja ka Boko […]

SIteegi za Bodaboda ziwedde

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Kampala capital city yakulangirira siteegi za bodaboda ezayiseemu ssabiiti ejja. Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju agamba nti mu ngeri yeemu n’amateeka aganatwaala abagoba bano gakufuluma Kawujju agamba nti ekigendererwa mu kino kutegeka ba bodaboda bano era nga kino kyakubawo nga 28 omwezi guno Omwaka oguwedde, […]

Abaana bana basirikkidde mu muliro

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

  Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw’omusajja akolezezza  nyumba n’atta abaana bana. Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n’ekigendererwa ky’okunyagulula kyokka ng’omukyala yemuludde n’adduka. Omusajja ono olulabye bw’ati n’ayokya enyumba era nga takomye awo n’agoba omukyala okukkakkana ng’amutuusizzaako obulabe n’abaana be abalala basatu Ayogerera […]

Abatunda amata mu bipipa beekalakaasizza

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi. Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga. Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba […]