Ente ezisoba mu 1000 zesakalalibwa mu lufula ezenjawulo wano mu kampala ku lunaku lwa Easter .
Omwogezi wa Lufula esinga obunene mu kampala Wilberforce Mutesasira agamba kuluno ente zibadde ntono ezisaliddwa bwogeregeranya ku paasika eziyise.
Agamba kino kivudde ku kyeeya ekimaze ebbanga eddene nga kikunta nekireka nga ente nyingi nga zifudde.
Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda , Rev. Stanley Ntagali asabye amawanga ga Africa okwanguwa okuyingira mu nsonga z’eggwanga lya South Sudan awali obutabanguko mu kiseera kino.
Kino kiddiridde okulwanagana okuddamu mu ggwanga lino nga abayekera kati beddizza ekibuga Bentiu ewasimwa amafuta.
Mu bubakabwe obwa Easter wali ku kanisa ya All Saints e Nakasero, Ntagali agambye nti gyebuvuddeko amawanga…
Poliisi erabudde abantu okwewala okunywa omwenge ate nebavuga.
Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agambye nti poliisi egenda kusuula emisanvu ku nguudo zonna, okukwata abanywa nga bavuga.
Kaweesi agambye nti polisi egenda kusinga kukolera ku nguudo omuli olwe Ntebbe, Jinja road, Masaka road n’endala.
Kaweesi agambye nti kino kigendereddwaamu okukendeza obubenje mu ggandalo lya Paasika.
Omubaka eyali akiikirira abantu be West Budama North afudde
William Oketch yafudde mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero
Mutabani w’omugenzi Val Oketcho agambye nti kitaawe yafudde akawungeezi g’eggulo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lw’okusanyalala.
Omugenzi abadde ssentebe w''ekitongole ky'amazzi ekya National water and sewerage ate era yaliko ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira.
Oketcho yawangulwa mu mwaka…
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayagalizza bannayuganda amazuukira ga yezu kulistu amalungi mu bubaka bwe bw'awereeza.
Kabaka agamba nti singa yesu teyazuukira kuva mu bafu kugenda mu ggulu tewandibaddewo ssuubi.
Mu bubaka bwe, kabaka ategezeza nti eggwanga lirina okwebaza mukama katonda olw'obutebenkevu.
Ayongeddeko nti abakkiriza basaanidde okukuuma empisa ennungi zebooleseza mu kisiibo okugenda nazo mu maaso.
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise omumyukawe Sulaiman Kidandala abitebye ku bigambibwa nti yasaba ekyoja mumiro okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura ajje Lukwago mu ntebe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwekyamulumye okuwulira amawulire gano era yawulidde nga aliriddwamu olukwe.
Agamba gavumenti nayo yeetaga okuwa oludda lwayo kubanga abakungu…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda ng’omulimu gwokuzimba ekizimbe kya Bulange plaza bwegudenda okutandika era gumalirizibwa ng’omwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2015 tegunayitta.
Katikiro okwogera bino abadde mu Bulange Mengo mu kusonda ensimbi z’okuzimba amasiro ge Kasubi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 11 n’ensawo za Cement 300 zezisondeddwa.
Mayiga agambye nti Kati esimbi ezigenda okusondebwa zona…
Pulezidenti Museveni atendereza omulimu ogukoleddwa akulira abakozi mu kibuga Jennifer musisi mu kukyuusa endabika y’ekibuga
Ng’ayogerako eri abakozi ba KCCA e Lugogo, pulezidenti agambye nti ekibuga kampala kibadde kiddukanyizibwa b’ayise ababbi okumala ebbanga era nga beebakinnyika
Ono era asabye bannakampala okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga za kampala bakolagane ne musisi mu kutwala ekibuga mu maaso
Museveni nga tannayogera…
Poliisi ye Busega eriko omusajja ateberezebwa okubeera omubbi gw’esse.
Ono abadde ku kibinja ky’abanyazi 3 kyokka ng’ababiri beemuludde
Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saigs, atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga James Openge nga mutuuze we Bombo mu distilikiti ye Luweero.
Omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya yewozezaako
Omusawo ono Rosemary Namubiru agamba nti teyagenderera ng’empiso yamusereerako buseerezi
Ono era agambye kkooti nti yeefumita ku kigalo ekisajja bweyali akuba omwana empiso ng’akaaba ate nga bw’asamba
Wabula ono agambye nti ky’atajjukira kwekubeera nti empiso eyali emufumise ate gyeyakuba omwana mu musuwa kubanga ne maama w’omwana teyemulugunya
Namubiru…