Omuntu omu akubiddwa essasi ku Mukono n'atwalibwa mu ddwaliro nga ali bubi mu kwekalakaasa kw’abatuuze abalwanagana ne poliisi wali e Kasokoso.
Waliwo n’omwana azirikidde mu ddwaliro erimu eriri okumpi oluvanyuma lwa tiyagaasi okumuyitirirako gy'abadde yeebase.
Poliisi ekedde kulwanagana n'abatuuze bano abawakanya ekya poliisi okukwata ssentebe waabwe ku bigambibwa nti ono yakulemberamu ekibinja ky’abatuuze abakkakkana ku Meeya w’ekibuga…
Abawandiiisa abagaala okufuna Densiite e Masaka bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuweebwa ensimbi entono kw’ezo ezabasuubizibwa
Bano ababadde basuubirwa okufuna wakati w’emitwalo 3 ne 5 bawereddwa omutwalo gumu gwokka ekibajje mu mbeera
Bano baweze nti ssinga tebasasulwa lunaku lwa nkya tebagenda kuddamu kuwandiika bantu
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batabukidde abakulira ettendekero lya Bishop Barham olw’okugoba abawala abafuna embuto
Ab’ettendekero lino eririna akakwate ku lye mukono baagobye abawala bonna abaatakola bigezo olw’okubeera embuto.
Enkola yeemu eno eri ne ku ttendekero lye Mukono nga afuna olubuto nga tali mufumbo agobwa
Nga boogerako eri bannamawulire, bannakyeewa bano okulo Robinah Kaitiritimba, Allen Tegulle ne Dennis Odwee bategeezezza…
Oluvanyuma lw’ennaku nga poliisi eyigga omulambo gw’omuvubuka eyagudde mu mazzi, kyadaaki azudde omulambo gwe
Matovu Ndawula nga mutabani w’omugagga Yusuf matvu amanyiddwa nga Youma yabbidde bweyabadde ku kaato akazungu nga beesanyusaamu ne mikwano gye
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti omulambo kyaddaki baguzudde era nga kati gutwaliddwa mulago
Enanga agamba nti kabadde kabenje
Ab’obuyinza mu district ye Namayingo ku nsalo eyawula Uganda ne Kenya beralikirivu olwabanakenya abatandise okusala ensalo nga besogga uiganda okwewandiisa okufuna endaga muntu z’eggwanga eziri mu kugabwa mu kiseera kino.
Kino okusinga kiri ku bizinga bye Dorwe,kandeege, ne Goloofa ewali bannakenya abanji nga era banji bakozesa akakisa kano okubeera n’obutuuze obw’emirundi 2.
Kati RDC mu kitundu kino…
Abamu ku babaka ba palamenti baagala banabwe abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda batunule mu kizibu ky’abasibe obutaba na yunifoomu zimala.
Omubaka omukyala owe Kaabong Rose Lilly Akello agamba ensimbi eziwerako zetagisa emirimu gy’ekitongole kyebyamakomera okutambula obulungi.
Abakulira amakomera bagamba nti abasibe basobola kufuna peya ya yunifoomu emu yokka mukifo ky’ebbiri kubanga ku kawumbi akasoba mu kamu kebalina okufuna,…
Oluvanyuma lwa Fagil Mande okulekulira nga ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga, okunonya omusikawe kwatandise dda.
Mandy yabigyemu enta oluvanyuma lwa presidenti Museveni okwongezaayo endagaano ya ssabawandiisi w’ekitongole kino Mathew Bukenya bwebabadde bagugulana.
Kati minister w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba abakola ku kugaba emirimu mu kitongole kino bakusisinkanamu bateese engeri gyebagenda okulandamu omusikawe.
Alupo era agamba nti okulekulira kwa Mandy…
Abatuuze ku kyalo ekimu mu district ye Kasese basigadde bewunya oluvanyuma lw’omukyala ow’olubuto okuzalira abalongo ku kubo nga agenda mu ddwaliro lye kagando.
Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza nga omukadde abadde ali ku gage bwamuyambye okusindika abalongo bano oluvanyuma lwokumulaba nga takyasobola kutambula kilometer 4 ezibadde zisigaddeyo okutuuka ku ddwaliro.
Wano abazira kisa okubadde n’omujaasi w’amaggye basobodde okuwa nakawere…
Kkooti egobye omusango gw’okukuma omuliro mu bantu ogubadde guvunanibwa eyali ssenkagale wa FDC Dr. Kiiza Besigye ne dereva we.
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Araali Muhirwe ategezezza nga omusango guno bwegukandaliridde enyo mu kooti awatali bajulizi baletebwa ludda luwaabi.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga 20th of June omwaka oguwedde , Dr. Besigye, dereva we bakuma omuliro…
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu massekati ga Kampala basizza kimu nga nkuyege omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 206.
Kino kiddiridde ensisinkano y’okukubaganya ebirowoozo ebadde wali ku kitebe kya Division mu kampala amakya ga leero.
Ssentebe wa Division ya Kampala Godfrey Nyakaana agamba president akoledde nyo eggwanga kale nga tasaana kuvuganyizibwa…