Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Pulezidenti asuubizza okutunula mu by’emisaala

Pulezidenti Museveni ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okusisinkana abakulembeze b’abakozi ku nsonga y’omusaala ogusookerwaako Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’abakozi mu disitulikiti ye Ntungamo, pulezidenti akkirizza nti kitono ky’amanyi ku nsonga eno era nga yetaaga kwongera kukakasibwa ku nsonga eno. Wabula pulezidenti alumbye abakozi abagayaavu n’abatali besimbu ng’abalumiriza okukosa ebyenkulakulana Ono era agambye nti n’ebbula ly’emirimu terisobola kuggwaawo okutuuka nga…

Read More

Omukyala agumbye ku poliisi

Waliwo omukyala ow’emyaka 23 agumbye ku poliisi ye Kira nga ayagala ayawukane ne bba gwalumiriza okubeera omwenzi. Rose Nakku nga mutuuze we Kamwokya asazewo okugumba ku poliisi eno okutuusa nga ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’amaka kimuwadde ebbaluwa emwawukanya ne bba ono omuvuzi wa bodaboda. Nakku alumiriza bba Kalema okulemererwa okubawa ebyetagisa mu maka era mweralikirivu…

Read More

Lunaku lw’abakozi- abavubuka beekalakaasizza

Nga eggwanga likuza olunaku lw’abakozi ,bbo abavubuka besambye eby’okulukuza nga bagamba ssibamativu n’engeri ebintu gyebitambulamu mu ggwanga. Bano nga bava mu kibiina kya NRM n;aboludda oluvuganya gavumenti bagamba nti banji tebalina mirimu yadde nga baasoma kale nga tebalaba nsonga lwaki bakuza olunaku lw’abakozi nga bbo ssibakozi. Bano mukulaga obutali bubativu bwabwe basosse obugaali okuva ku nkulungo ye…

Read More

Eyali omubaka Kipoi akadde konna akomezebwaawo

  Gavumenti enatera okumaliriza entekateka z’okuzza ku butaka eyali omubaka we Bubulo ey’obugwanjuba Tony Kipoi eyakwatibwa mu ggwanga lya congo avunanibwe mu kooti y’amaggye emisango gy’okulya munsi ye olukwe. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  by Capt. Fredrick Kangwamu  lutegezezza kooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa  Brig. Moses Ddiba Ssentongo  nti abanonyereza ku musango guno essawa yonna Kipoi bakumuwayo eri…

Read More

Basatu babbidde

Abantu basatu okuva mu maka gamu babbidde. Bano babadde basabaalira ku lyaato ku Nyanja Kijanabaloora mu disitulikiti ye Rakai. Eryaato lino libadde ligenda ku kyaalo Bulyaana Abagenzi bategerekese nga Lawrence Ssango abadde akuba enkasi, , Florence Nanyanga ne Rachael Nantongo, nga bonna baana ba Frank Mugerwa owe Bulyaana Akulira disitulikiti ye Rakai ku mwaalo guno, Isaac Sserugo agambye nti…

Read More

Ekikwekweto ku ba boda abatikka ababiri kyakuddamu

  Poliisi yakuddamu buto okukwata abagoba ba bodaboda abatikka omuntu asukka mu omu Omwaka guno ebikwekweto ebiyoola abo bonna abatuula ku piki ababiri byatandika era nga bino byatwaliramu n’abasabaaze Kaweesi agambye nti ekikwekweto kyebaakola kirabika tekyavaamu bibala ng’aba boda bakyatikka akabindo Ono agamba nti agenda kusisinkana abakola ku byentambula baveeyo n’enkola ey’omuggundu ku bantu bano abamenya amateeka g’oku nguudo.

Read More

Pulezidenti Museveni akunze ku Luweero

Pulezidenti museveni asabye bannakibiina kya NRM okwegatta ekifo kye Luweero bwekiba nga kyakusigala nga kyaabwe Kiddiridde bannakibiina kya NRM abalala basatu okuwera nga bwebagenda okwesimbawo ku lwaabwe nga bawakanya eky’okuyisaamu Rebecca Nalwanga nga tavuganyiziddwa. Ono agamba nti okutwaala ekibiina mu maaso kyetaaga kwerekereza abalala okusimba mu mugongo gwa Nalwanga Ono era asabye abalonzi okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za…

Read More

Abakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi bavunaaniddwa

Abantu 15 abaakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi basimbiddwa mu kkooti Bano bagguddwaako misango gyakukolagana n’abatembeeyi mu kulemezaawo ensuubula emenya amateeka Bano beebasoose okuvunaanibwa wansi w’etteeka lya KCCA eppya erigendereddwaamu okukoma abantu okutundira ku makubo Abavunaaniddwa babadde basajja na bakyala abasuuze mu kkomera ekiro kyonna. Bano wabula balagiddwa okussa mu buwandiike okwetonda nti tebajja kuddamu kukikola Bbo aba kampala capital city…

Read More

Amafuta ssigakakaati

Bannayuganda ababadde basubira okulaba ku mafuta agasimwa mu ggwanga bakugira nga bagumikiriza kubanga ettondo ly’amafuta erinasooka okukozesebwa lisubirwa mu 2019. Amakampuni amasimi g’amafuta 3 okuli  CNOOC, total E&P ne Tullow gategezezza nga okusima amafuta gano bwekwetaga okwongerwamu obuwumbi bwa doola nga 12 mu myaka 5 maaso. Akulira kampuni ya  Tullow Jimmy Mugerwa ategezezza bannamawulire agamba ebisinga biwedde…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play