Amawulire
Uganda yerinze abatujju
Oluvanyuma lw’abantu 4 okufiira mu bulumbaganyi bw’obutujju mu ggwanga lya Kenya ku wiikendi, ebitongole by’ebyokwerinda byongeddemu amaanyi mu by’okwerinda. Ku lwomukaaga bomu ya grenade yategeddwa ku mwalo e Mombasa kumpi ne hotel emu nga 15 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi. Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga […]
Ofiisi z’abalwanirira eddembe zimenyeddwa
Poliisi ekyagenda maaso n’okunonyereza ku bazigu abayingiridde ofiisi z’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu ekya Human right network Uganda wali e Ntinda nebabbamu byabukadde. Poliisi ekifo kyonna ekizinzeko nga okunonyereza bwekukyagenda maaso. Okusinziira ku omu ku bakulira ekibiina kino Patrick Tumwine,ebisinga byabiddwa nga n’omukuumi wa ofiisi talabikako. […]
Lunaku lwa ddembe lya bannamawulire
Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa bannamawulire. Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte mu mwaka gwa 1993 okusiima emirimu egikolebwa bannamawulire n’okutumbula eddembe lyaabwe Bannamawulire olwaleero bakukungaanira ku kibangirizi kya Chogm okuliraana palamenti nga bagenda kukumba okwongera okutuusa edoobozi eri abantu […]
NRM egula abalonzi e Luweero- DP
Ekibiina kya DP kikiise ensingo era kyagala akakiiko k’ebyokulonda kanonyereze ku bigambibwa nti ekibiina kya NRM kiri mu kumansa musimbi mu balonzi e Luwero nga betegekera okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district eno. Muinna DP nga yesimbyewo ku kifo kino Brenda Nabukenya agamba nti omukulembeze […]
KCCA eyimirizza ekivvulu kya Goodlyfe
Ababadde beesunga ekivulu kyaba goodlife ekya maaso baakugira nga balindako okubiteekamu engatto. KCCA eyimirizza ekivvulu kya bano lwabutaba na lukusa kutegeka kivvulu kino okuva eri KCCA. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba amateeka okutegeka ekivvulu mu kampala malambulukufu bulungi kale nga atalina lukusa takkirizibwa kutegeka […]
Abasawo e Lyantonde beedimye
Abasawo ku ddwaliro e Lyantonde bassizza wansi ebikola. Bano bawakanya okukwatibwa kwa musawo munaabwe Gorreti Nansubuga eyagaanye okukola ku mulwadde eyasindikiddwa RDC Sulaiman Matojo wabula n’amulagira okusimba ku lukalala. Abasawo bano bagamba nti musawo munaabwe talina musango kubanga buli muntu alina okusimba mu layini . […]
Abavuganya bakukkulumye
Ab’oludda oluvganya gavumenti benyiye olw’emisago egibavunanibwa mu makooti agenjawulo okutambula mungeri eyakasoobo. Kino kiddiridde emisango gy’okukyankalanye ekibuga kampala omwaka oguwedde okwongezebwayo wali mu kooti ya Buganda Road. Abavunanwa kuliko eyali ssenkagale wa FDC , Dr Kiiza Besigye, ssenkagale w’ekibiina kya Jeema Asuman Basalirwa, ababaka Muwanga […]
Bannamawulire balongosezza CPS, n’okusabira banaabwe abaafa
Wakati mu ku kugezako okutekawo enkolagana enungi ne poliisi y’eggwanga bannamawulire bakedde kuyonja kitebe kya poliisi mu kampala. Omukwabaganya w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyabannamawulire ekya Human Rights Network for journalists Robert Sempala agamba olwaleero basazewo okukwatagana ne poliisi era babalombojere ebibaluma osango okutyobola eddembe lyabanamawulire okuva […]
Abavubuka ba Mbabazi bayimbuddwa
Abavubuka ba NRM 2 ababadde bavunanibwa okukungaana mu bukyamu emikono gyabanakibiina kya NRM okuwakanya eky’omukulembeze w’eggwanga okwesimbawo awatali amuvuganyanga mu 2016 emisangi gyino gibajiddwako. Kino kiddiridde omuwabi wa gavumenti nga akiikiriddwa munanamateeka Jane Francis Abodo okutegeeza nti enjuyi zombie zakiriziganyizza ensonga eno okujimalira wabweru wa […]
Abavuganya bavuddeyo omwaasi ku bya Museveni okwesimbawo yekka
Abali ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera eby’okuyisaamu pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti kuno kuziyiza nkola eya domokulasiya Nn’ayogerako eri bannakasangati, Besigye agambye nti bagenda kwekolamu omulimu okulaba nti kino tekikola kubanga nabo kibatwaliramu Ababaka mu […]