Amawulire

Poliisi yezoobye n’abayizi e Makerere

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

  Emirimu gisanyaladde ku ttendekero ekkulu e Makerere nga poliisi egugumbulula abayizi ababadde boogerako eri bannamawulire Abayizi bano babadde batongoza obukulembeze obw’ekisikirize nga bagamba nti obukulembeze obuliko obwa Ivan Bwowe tebulina kyebubayambye Abayizi bano bagamba nti ensonga nyingi ezibaluma okuli n’eby’okwengeza fiizi ebya jjo juuzi […]

UMEME tetundibwa

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Kkampuni ya UMEME evuddeyo n’ewakanya ebigambibwa nti etundibwa Omu ku batwaala kkampuni eno Sam Zimbe agamba nti omu ku balina emigabo mu kkampuni eno y’atunda sso ssi kkampuni yonna Ono agamba nti bali mu nteekateeka ez’ongera okusiga obukadde bwa doola 400 mu kulongoosa empeereza era […]

Luweero- abakulira poliisi bagobeddwa, Bukenya akaaye

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Poliisi ewummuzza abakulu ba poliisi e Luweero lwa mivuyo egyabaddeyo olunaku lwajjo. Mu bawummuziddwa kuliko aduumira poliisi mu kitundu kya Savanna Richard Mivule n’aduumira poliisi ye Luweero Godfrey Ninsiima. Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti kino kikoleddwa ng’okunonyereza ku bakulu bano bwekugenda mu maaso […]

Omuliro mu Kisenyi- bya bukadde bisanyeewo

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde bisanyeewo mu muliro ogukutte amaduuka mu kisenyi. Omuliro ogukutte akawungeezi kano gubadde mu zooni emanyiddwa nga Kasooto Ayogerera poliisi mu bitundu bya kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abaziinya mooto basobodde okutangira omuliro guno obutakwaata bizimbe birala Okunonyereza ku kivuddeko omuliro […]

Owa NRM awandiisiddwa

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Agava e Luweero leero abeesimbyewo 2 bamaze okusunsulwamu ku kifo ky’omubaka anakiikiriria Luweero mu palamenti.  Kuno kuliko munna NRM Rebecca Nalwanga n’eyesimbyewo ku bwanamunigina Farida Namubiru kko ne Brenda Nabukenya eyasunsuddwa gyo Jotham Taremwa ayogererea akakiiko ke by’okulonda atubuulide enteekateeka zonna zigenda mu maaso , […]

Katikkiro ali ssingo

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akunze obuganda okwongera okunyweera, okusobola okutwala eggwnaga mu maaso. Bw’abadde ayogerera ku gombolola ye Bulera gy’asokedde ku lugendo lwe mu ssaza lye Ssingo, Mayiga agambye nti okuzza Buganda ku ntikko mulimu munene , kale nga abaganda balina okwekwanya, okulaba […]

Ttiyagaasi e Luweero

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala mu bawagizi b’ekibiina kya DP ababadde bagoberera omuntu waabwe Brenda Nabukenya ngava okuwandiisibwa. Nabukenya abadde akulembeddemu abantu be nga bayita mu katale ka mubuulo poliisi ky’egambye nti kimenya mateeka Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu yye agusalidde poliisi ky’alumiriza […]

Amateeka ku baasi ezigenda e Kenya

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Abavuga baasi ezigenda e Kenya bassiddwaako amateeka amakakali. Kiddiridde obulumbaganyi bwakoleddwa ku Kenya mu kibuga ekikulu Nairobi abantu 4 bamale bafe. Akulira ekibiina kya ba dereeva ba baasi, David Bahati agamba nti balagiddwa okwekebejja enyo emigugu n’abantu benyini okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna Wabula amateeka […]

Omusajja yattidde e Mulago

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

  Omusajja atanategerekeka yekasuse okuva ku mwaliriro ogwomukaaga neyekata wansi nafiirawo  wali ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba tekinategerekeka oba ono abadde mulwadde oba mugenyi mu ddwaliro lino.

Okusunsula abe Luweero kutandise

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

  Akakiiko k’ebyokulonda olunaku olwaleero katandise okunsusula okwennaku ebbiri okwabo abagenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Luwero. Akulira eby’okulonda mu district eno  Alex Komuhangi agamba abantu 8 bebagyayo foomu z’okwesimbawo nga kwekulu neyagobwa mu kifo kino Brenda Nabukenya. Komuhangi agamba kampeyini zakutandika nga 7 […]