Amawulire
Enjatika e Buduuda
Nga enkuba ekyagenda maaso n’okufudemba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abali mu bitundu omubumbulukuka ettaka bali mu bweralikirivu. RDC wa district ye Bududa shiraku James agamba baatandise dda okulaba enjatika mu bitundu bye Busiiyi era n’alabula abatuuze abali mu bifo bino okubyamuka. Agamba bakyalina ekizibu ky’ettaka […]
Aba Paakayaadi balozezza ku mukka ogubalagala
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi ba Paakayaadi ababadde bavudde mu mbeera, olw’enteekateeka z’okubasengula. Abasuubuzi bano babadde bayitiddwa akiikirira pulezidenti mu Kampala Aisha Kabanda, wabula olukiiko lubadde terunatandika abasuubuzi nebava mu mbeera. Wabula oluvanyuma olukungaana luno lugenze mu maaso era nga Kabanda aweze eby’okusengula abasuubuzi […]
Abavubuka bagumbye kukitebe kya NRM
Ekibinja ky’abavubuka ba NRM okuva wano mu Buganda balumbye ekitebe ky’ekibiina kino wali e Kyadondo nga baagala okwogera n’omubaka w’abavubuka mu massekati g’eggwanga Patrick Nakabale. Bano bemulugunyizza nga Nakabaale ono bweyabasubiz okubasisisnkana bateese engeri gyebagenda okuganyulwa mu nteekateka ya NAADS wabula nga kati n’okutuusa kati […]
Abatakisi bakaaba
Wabaddewo akavuvungano nga poliisi etwalaganya abagoba ba taxi ababadde bakyesisigalizza okukolera wali ku siteegi y’e Nsambya kumpi n’ebitaala. Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bayambibwako poliisi basobodde okusinza aba taxi bano amaanyi nebabalagira okwamuka ekifo kino boolekera paaka ya USAFI. Taxi ezikoseddwa kwekuli ezikwata olw’eMunyonyo, Ggaba, […]
President Museveni Emyaka Gikyali -NRM
Bannakibiina kya NRM batabukidde ab’oludda oluvuganya gavumenti abemulugunya ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni nga tusemberera okulonda kwa 2016. Wiiki ewedde waliwo ekibinja ky’aboludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo abemulugunya nga omukulembeze w’eggwanga bwajja okuba nga asussa mu myaka 75 […]
Abakulira Ekidiinidiini Bakwatiddwa
Abakulembeze b’ekiidiinidiini 10 ababadde bawabya abantu baleme kwewandiisa kufuna ndaga Muntu bakwatiddwa mu bizinga by’ebuvuma . Ekibinja kino ekikozesa enamba 666 kibadde kisimbye amakanda ku mwalo gwe Mwiriri nga era bawakanya enteekateeka za gavumenti ezisinga. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savanah Lameck Kigozi ategezezza […]
E kasese Berwanako oluvanyuma Lw’amataba
Okugogola emigga ebiri egyabimbye amazzi negatta abantu abantu 3 mu district ye Kasese kutandise. Abakola ku bibamba mu district eno bewoze ekimotoka ki bunduzza okuva mu kampuni enkozi ya seminti eya Hima kyebakozesa okugogola emigga gino okwongera okugigayiza. Omugga gwa Nyamugasani ne Nyamwamba […]
E Makerere bekalakaasa lwa mmere
Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere bazzeemu okwekalakaasa lwa mmere. Bano nga bavudde mu kisulo kya Nsibirwa balumbye ewatuula abakulira ettendekero lino babanyonyole lwaki oluusi basula enjala nga ate basasula ssente nyingi. Bakoze effujjo bwebayiye ebijanjalo n’akawunga mu ofiisi y’akola ku mbeera z’abayizi bano nga […]
Amataba Gasse 2 e Kasese
Abantu 2 bebakafiira mu mataba agagoyezza District ye Kasese nga n’abasinga baabulidde amaka gaabwe. Omwogezi wa ministry y’ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba abalwadde 195 bagyiddwa mu ddwaliro ly’ekilembe oluvanyuma lw’amazzi okwanjala mu ddwaliro lyonna. Kino kiddiridde emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugasani okubooga nga era n’ebyentambula bigotanye […]
Mujib Alekulidde
Abadde akulira ebyekyekugu mu FufaMujib Kasule alekulidde. Mujib okulekulira kizze oluvanyuma lwa tiimu ye eya Proline okusalwako okuva mu league ya babinywera wiiki ewedde. Omwogezi wa Fufa Hussein Ahmed ategezezza nga bwebafunye ebbaluwa ya Mujib ey’okulekulira wabula nga bagenda kutunulira ensonga eno nga akakiiko […]